bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 7
Daniel 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
1
Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Berusazza kabaka w'e Babbulooni, Danyeri n'aloota ekirooto era n'ayolesebwa ng'agalamidde ku kitanda kye: n'awandiika ekirooto kye.
2
Danyeri n'agamba nti, “Mukwolesebwa kwange ekiro, nnalaba, empewo nga zikunta okuva ku njuyi zonna ennya, ne zisikuula ennyanja ennene.
3
N'ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja, buli emu nga tefaanana ginnaayo.
4
Eyasooka yali efaanana ng'empologoma, era ng'erina ebiwaawaatiro eby'empungu; bwe nali nkyatunula, ebiwaawaatiro byayo ne bigimaanyibwako, n'eyimusibwa okuva ku ttaka, n'eyimirira ku magulu abiri ng'omuntu, n'eweebwa omutima ogw'omuntu.
5
Ate ne wavaayo ensolo endala, eyokubiri, eno yaliŋŋanga ddubu, era yali egalamidde ku luuyi lumu ng'esitusemu katono ku magulu gaayo ag'emabega, nga n'embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti, ‘Situka, olye ennyama ennyingi.’
6
Oluvannyuma lw'ebyo nnendaba ensolo endala, nga eringa engo, yalina ebiwaawaatiro ebina eby'ekinnyonyi ku mabega gaayo. Era ensolo eyo yalina emitwe ena: n'eweebwa n'obuyinza okufuga.
7
Oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo ey'okuna, ey'entiisa era ey'obuyinza, era ey'amaanyi amangi ennyo: yalina amannyo manene ag'ekyuma: n'erya n'ebetenta, n'erinnyirira ebyasigalawo. Yali ya njawulo ku nsolo ziri azagisooka: yalina amayembe kkumi (10).
8
Bwe nali nkyatunuulidde amayembe ago, ate laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne likuuliramu ddala amayembe asatu ku gali agalisookawo. Lyalina amaaso nga ag'omuntu, n'akamwa akoogera eby'okwegulumiza.
9
Bwe nali nga nkyatunula, ne ndaba entebe ez'obwakabaka nga ziteekebwawo. Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, n'atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviiri ez'oku mutwe gwe nga njeru ng'ebyoya by'endiga ebirungi. Entebe ye ey'obwakabaka yali nnimi za muliro, ne nnamuziga zaayo muliro ogwaka.
10
Omugga gw'omuliro ne gukulukuta nga guva w'ali. Abantu enkumi n'enkumi baali awo okumuweereza, n'emitwalo n'emitwalo nga bayimirira mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kugulwawo, ebitabo ne bibikkulwa.
11
Bwe nali nga nkyatunula, ne mpulira ebigambo eby'okwegulumiza ejjembe bye lyayogera, okutuusa ensolo bwe yattibwa, n'esuulibwa mu muliro, n'ezikirizibwa.
12
Ensolo endala zo zagibwako obuyinza bwazo, kyokka obulamu bwazo ne bwongerwayo ekiseera ekigere.
13
Mu kwolesebwa kwe nnafuna ekiro, nnalaba eyafaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ajja n'ebire eby'omu ggulu, n'agenda eri Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, nayanjulibwa mu maaso ge.
14
N'aweebwa obuyinza, n'ekitiibwa, n'obwakabaka, abantu bonna, n'ab'amawanga gonna n'ab'ennimi zonna, bamuweerezenga: okufuga kwe kwa mirembe gyonna okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.”
15
“Nange Danyeri, omwoyo gwange ne gunakuwala n'enneeraliikirira olw'ebyo bye nnayolesebwa.
16
Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde okumpi, ne mmubuuza amakulu g'ebyo byonna. Awo n'antegeeza amakulu gaabyo.
17
Ensolo ezo ennene, ezaali ennya, be bakabaka abana, abaliva mu nsi.
18
Naye abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, ne buba bwabwe emirembe gyonna.
19
Awo ne njagala okumanya amazima agafa ku nsolo ey'okuna, etaafaanana ziri zonna, ey'entiisa ennene, amannyo gaayo nga ga kyuma, n'enjala zaayo nga za kikomo, era eyalya, n'emenyaamenya, n'erinnyirira ebyasigalawo n'ebigere byayo.
20
Era ne njagala okumanya ku by'amayembe ekkumi (10) agaali ku mutwe gwayo, n'eddala eryamera, ne likuuliramu ddala asatu (3), lyalina amaaso, n'akamwa akayogera eby'okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga gali gonna.
21
Awo bwe nnali nga nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n'abatukuvu ba Katonda, ne libawangula,
22
okutuusa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda lwe yajja, n'asala musango, abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo ne bagusinga, era ekiseera ne kituuka, abatukuvu ne baweebwa obwakabaka.
23
Awo nantegeeza nti, Ensolo ey'okuna eriba bwakabaka obw'okuna mu nsi, obutalifaanana ng'obwakabaka bwonna, era obufuga ensi zonna, era bulizisambirira, n'ebuzimenyamenya;
24
ate amayembe ago ekkumi, be bakabaka ekkumi (10) abaliva mu bwa kabaka obwo, naye walisitukawo omulala alibaddirira, aliba wa njawulo, era aliggyawo ba kabaka basatu.
25
Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo ali waggulu ennyo, era aliyigganya abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Era aligezaako okukyusa ennaku enkulu n'amateeka, abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera ne biseera n'ekitundu kye kiseera bwe biriggwaawo.
26
Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n'obuyinza bwe bulimuggyibwako ne busaanyizibwawo ddala.
27
Olwo obwakabaka n'okufuga n'ekitiibwa eky'obwakabaka bwonna ku nsi, biriweebwa abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Obwakabaka bw'Oyo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'amatwale gonna galimuweereza era galimugondera.
28
Ebigambo ebyo we bikoma wano. Era nze Danyeri, ebirowoozo byange byantiisa nnyo, ne nkyuka ne mu ntunula, naye ebigambo ebyo ne mbikuuma mu mutima gwange.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12