bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 1
Nehemiah 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
1
Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya. Awo olwatuuka mu mwezi Kisuleevu mu mwaka ogw'abiri (20), bwe nnali nga ndi mu lubiri oluli mu kibuga ekikulu Susani,
2
Kanani omu ku baganda bange n'ajja, ye n'abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebifa ku Bayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n'ebigambo by'e Yerusaalemi.
3
Ne baŋŋamba nti, “Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n'okuvumibwa; era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro.”
4
Awo olwatuuka bwe nnawulira ebigambo ebyo ne ntuula ne nkaaba amaziga ne nnakuwalira ennaku eziweerako; ne nsiiba ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu,
5
ne njogera nti, “Nkwegayiridde, ayi Mukama Katonda w'eggulu, Katonda omukulu ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye;
6
okutu kwo kuwulire nno, n'amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw'omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n'ekiro, olw'abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby'abaana ba Isiraeri bye twakwonoona; weewaawo, nze n'ennyumba ya kitange twayonoona.
7
Twakola eby'obukyamu ennyo gy'oli, so tetwakwata biragiro byo, newakubadde amateeka go, newakubadde emisango bye walagira omuddu wo Musa.
8
Nkwegayiridde, jjukira ekigambo kye walagira omuddu wo Musa ng'oyogera nti, ‘Bwe munaasobyanga, nnaabasaasaanyizanga ddala mu mawanga;
9
naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng'abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y'eggulu, naye naabakuŋŋanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange.’
10
Kale bano be baddu bo era be bantu bo be wanunula n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogw'amaanyi.
11
Ayi Mukama, nkwegayiridde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw'omuddu wo n'okusaba kw'abaddu bo abasanyukira okutya erinnya lyo; owe omuddu wo omukisa leero, omuwe okusaasirwa mu maaso g'omusajja ono.” Era nali musenero wa kabaka.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13