bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 3
Nehemiah 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
1
Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu n'asituka wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba omulyango ogw'endiga; ne bagutukuza, era ne basimba enzigi zaagwo; ne batukuza ekisenge okutuukira ddala ku munaala gwe kikumi (100), n'okutuukira ddala ku munaala ogwa Kananeri.
2
Era abasajja ab'e Yeriko be baamuddirira okuzimba, ate Zakkuli mutabani wa Imuli n'abaddirira okuzimba.
3
N'omulyango ogw'ebyennyanja batabani ba Kassena be baaguzimba; ne baguteekamu emyango gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
4
Era Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Mesullamu mutabani wa Berekiya muzzukulu wa Mesezaberi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Zadoki mutabani wa Baana ye yabaddirira okuddaabiriza.
5
Era Abatekowa be baabaddirira okuddaabiriza; naye abakungu baabwe tebassaawo nsingo ku mulimu gwa mukama waabwe.
6
N'omulyango ogw'edda Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya be baaguddaabiriza; baateekamu emyango gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo n'ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
7
Era Meratiya Omugibyoni ne Yadoni Omumeronoosi, abasajja ab'e Gibyoni, n'ab'e Mizupa, eky'omu ssaza ly'omukulu w'emitala w'omugga, be baabaddirira okuddaabiriza.
8
Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, abaweesi ba zaabu, be baamuddirira okuddaabiriza. Era Kananiya omukozi w'eby'obuwoowo ye yamuddirira okuddaabiriza, ne banyweza Yerusaalemi, okutuuka ku bbugwe omugazi.
9
Era Lefaya mutabani wa Kuuli omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi ye yabaddirira okuddaabiriza.
10
Era Yedaya mutabani wa Kalumafu ye yabaddirira okuddaabiriza, eyaddabiriza ekitundu ekitunudde mu ennyumba ye. Era Kattusi mutabani wa Kasabuneya ye yamuddirira okuddaabiriza.
11
Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza byombi, ekitundu ekyaddako, n'omunaala ogw'ebyoto
12
Era Sallumu mutabani wa Kallokesi omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi, ye ne bawala be, ye yamuddirira okuddaabiriza.
13
Kanuni n'abatuuze b'e Zanowa ne baddabiriza omulyango ogw'omu kiwonvu; ne baguzimba ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, era ne baddabiriza n'ekisenge eky'oku bbugwe eky'emikono olukumi (1,000) okutuuka ku mulyango ogw'obusa.
14
Malukiya mutabani wa Lekabu omukulu w'essaza ly'e Besukakkeremu n'addabiriza omulyango gw'obusa; n'aguzimba n'aguteekamu enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
15
Salluni mutabani wa Kolukoze omukulu w'essaza ly'e Mizupa n'addabiriza omulyango gw'Oluzzi. Naguzimba n'agubikkako n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, era n'azimba ne bbugwe ow'oku kidiba kya Sera ekiriraanye olusuku lwa kabaka okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi.
16
Nekkemiya mutabani wa Azubuki omufuzi w'ekitundu ky'essaza ly'e Besuzuli ye yamuddirira okuddaabiriza n'atuukira ddala ku kifo ekyolekera amalaalo ga Dawudi n'okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, ne ku nnyumba y'abasajja ab'amaanyi.
17
Abaleevi, Lekumu mutabani wa Baani, be baamuddirira okuddabiriza. Kasabiya omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira ye yamuddirira okuddabiriza ku lw'essaza lye.
18
Baganda baabwe, Bavvayi mutabani wa Kenadadi omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira, be baamuddirira okuddaabiriza.
19
Ne Ezeri mutabani wa Yesuwa omukulu w'e Mizupa ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera awalinnyirwa mu ggwanika ery'eby'okulwanyisa ku nsonda ya bbugwe.
20
Baluki mutabani wa Zabbayi ye yamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala, ng'anyiikira nnyo, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu.
21
Meremoosi mutabani wa Uliya era muzzukulu wa Kakkozi ye yamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala okuva ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba ya Eriyasibu.
22
Ne bakabona, abasajja ab'omu lusenyi, be baamuddirira okuddaabiriza.
23
Benyamini ne Kassubu be baabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe. Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya ye yabaddirira okuddaabiriza ku mabbali g'ennyumba ye.
24
Binnuyi mutabani wa Kenadadi ye yamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe.
25
Palali mutabani wa Uzayi ye yaddaabiriza okwolekera bbugwe w'awetera n'omunaala ogw'azimbibwa ku nnyumba ey'engulu eya kabaka eriraanye oluggya olw'abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi ye yamuddirira okuddaabiriza.
26
Era abaweereza b'omu Yeekaalu abaabeeranga mu Oferi ne baddabiriza okutuuka ku kifo ekyolekera omulyango ogw'amazzi ebuvanjuba, ne ku munaala omuwanvu ogwa kizimbibwako.
27
Abatekowa be baamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala ekyolekera omunaala omunene omuwanvu ogwa kizimbibwako n'okutuuka ku bbugwe w'e Oferi.
28
Engulu w'omulyango ogw'embalaasi bakabona we baddaabiriza, buli muntu okwolekera ennyumba ye.
29
Zadoki mutabani wa Immeri ye yabaddirira okuddaabiriza, okwolekera ennyumba ye. Ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba ye yamuddirira okuddaabiriza.
30
Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni omwana ow'omukaaga owa Zalafu be baamuddirira okuddaabiriza ekitundu ekirala. Mesullamu mutabani wa Berekiya ye yamuddirira okuddaabiriza okwolekera ekisenge kye.
31
Malukiya omu ku baweesi ba zaabu ye yamuddirira okuddaabiriza okutuusa ku nnyumba ey'Abaweereza b'omu Yeekaalu n'ey'abasuubuzi okwolekera omulyango gwa Kamifukaadi n'okutuusa awalinnyirwa ku nsonda ya bbugwe.
32
Era wakati w'awalinnyirwa ku nsonda n'omulyango ogw'endiga abaweesi ba zaabu n'abasuubuzi we baddaabiriza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13