bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 7
Nehemiah 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
1
Awo olwatuuka bbugwe bwe yaggwa okuzimba, era nga mmaze okusimba enzigi, era ng'abaggazi n'abayimbi n'Abaleevi balondeddwa,
2
awo muganda wange Kanani ne Kananiya omukulu w'ekigo ne mbakwasa Yerusaalemi, kubanga yali musajja mwesigwa, era yatyanga Katonda okusinga bangi.
3
Ne mbagamba nti, “Enzigi za Yerusaalemi teziggulwangawo ng'omusana tegunnakaalaama; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba, era mussengawo abakuumi okuva mu batuuze b'omu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, ng'ayolekera ennyumba ye.”
4
Era ekibuga kyali kigazi era kinene, naye abantu abaali omwo baali batono, nga n'ennyumba tennazimbibwa.
5
Katonda wange n'akiteeka mu mutima gwange okukuŋŋaanya abakungu n'abakulu n'abantu babalibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Ne nzuula ekitabo eky'okuzaalibwa kw'abo abaasooka okuva mu buwaŋŋanguse nga bawandiikiddwamu bwe bati:
6
Bano be bantu ab'essaza abaakomawo okuva mu bunyage bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, era ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;
7
abajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Azaliya, Laamiya, Nakamani, Moluddekaayi, Birusani, Misuperesi, Biguvayi, Nekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja ab'oku bantu ba Isiraeri:
8
abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri (2,172).
9
Abaana ba Sefatiya, bisatu mu nsanvu mu babiri (372).
10
Abaana ba Ala, lukaaga mu ataano mu babiri (652).
11
Abaana ba Pakasumowaabu, ow'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na munaana (2,818).
12
Abaana ba Eramu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254).
13
Abaana ba Zattu, lunaana mu ana mu bataano (845).
14
Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga (760).
15
Abaana ba Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana (648)
16
Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana (628).
17
Abaana ba Azugaadi, enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322).
18
Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667).
19
Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067).
20
Abaana ba Adini, lukaaga mu ataano mu bataano (655).
21
Abaana ba Ateri, owa Keezeekiya, kyenda mu munaana (98).
22
Abaana ba Kasumu, bisatu mu abiri mu munaana (328).
23
Abaana ba Bezayi, bisatu mu abiri mu bana (324).
24
Abaana ba Kalifu, kikumi mu kkumi na babiri (112).
25
Abaana ba Gibyoni, kyenda mu bataano (95).
26
Abasajja ab'e Besirekemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana (188).
27
Abasajja ab'e Anasosi, kikumi mu abiri mu munaana (128).
28
Abasajja ab'e Besuwazumavesi, ana mu babiri (42).
29
Abasajja ab'e Kiriyasuyalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu (743).
30
Abasajja ab'e Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu (621).
31
Abasajja ab'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri (122).
32
Abasajja ab'e Beseri ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu (123).
33
Abasajja ab'e Nebo eky'okubiri, ataano mu babiri (52).
34
Abaana ba Eramu ow'okubiri, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254).
35
Abaana ba Kalimu, bisatu mu abiri (320).
36
Abaana ba Yeriko, bisatu mu ana mu bataano (345).
37
Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu (721).
38
Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930).
39
Bakabona: abaana ba Yedaya, ow'oku nnyumba ya Yesuwa, lwenda mu nsanvu mu basatu (973).
40
Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri (1,052).
41
Abaana ba Pasukuli, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247).
42
Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi na musanvu (1,017).
43
Abaleevi: abaana ba Yesuva ow'e Kadumyeri, ow'oku baana ba Kodeva, nsanvu mu bana (74).
44
Abayimbi: abaana ba Asafu, kikumi mu ana mu munaana (148).
45
Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumooni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana (138).
46
Abaweereza b'omu Yeekaalu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi;
47
abaana ba Keriso, abaana ba Siya, abaana ba Padoni;
48
abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Salumayi;
49
abaana ba Kanani, abaana ba Gidderu, abaana ba Gekali;
50
abaana ba Leyaya, abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda;
51
abaana ba Gazzamu, abaana ba Uzza, abaana ba Paseya;
52
abaana ba Besayi, abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefusesimu;
53
abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli;
54
abaana ba Bazulisi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa;
55
abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema;
56
abaana ba Neziya, abaana ba Katifa.
57
Abaana b'abaddu ba Sulemaani; abaana ba Sotayi, abaana ba Soferesi, abaana ba Perida;
58
abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi;
59
abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Amoni.
60
Abaweereza b'omu Yeekaalu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali bisatu mu kyenda mu babiri (392).
61
Era bano be baava mu bibuga: Terumeera, Terukalusa, Kerubu, Yaddoni, ne Immeri, naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri:
62
abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ana mu babiri (642).
63
Ne ku bakabona waaliwo bano: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe.
64
Abo ne banoonya we baawandiikibwa mu nkalala z'obuzaale bwabwe, naye ne watalabika, kye baava bababoola ne babagoba mu bwakabona.
65
Omufuzi n'abagamba baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa kabona lw'aliyimirira alina Ulimu ne Sumimu.
66
Ekibiina kyonna wamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360),
67
nga tobaliddeeko baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe bonna baali kasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337) era baalina abasajja n'abakazi abayimbi bibiri mu ana mu bataano (245).
68
Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n'ennyumbu zaabwe bibiri mu ana mu ttaano (245),
69
eŋŋamira zaabwe zaali bina mu asatu mu ttaano (435), n'endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
70
Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo eby'okukola omulimu. Omufuzi n'awaayo mu ggwanika daliki eza zaabu lukumi (1,000), ebibya ataano (50), ebyambalo bya bakabona bitaano mu asatu (530).
71
Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo mu ggwanika ery'omulimu daliki eza zaabu emitwalo ebiri (20,000), ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri mu bibiri (2,200).
72
N'ebyo abantu abalala bye baawa byali daliki eza zaabu emitwalo ebiri (20,000) ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri (2,000), n'ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu (67).
73
Awo bakabona, n'Abaleevi, n'abaggazi, n'abayimbi, n'abamu ku bantu aba bulijjo, n'Abaweereza b'omu Yeekaalu ne Isiraeri yenna ne babeeranga mu bibuga byabwe. Awo omwezi ogw'omusanvu okutuuka, nga abaana ba Isiraeri bali mu bibuga byabwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13