bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 8
Nehemiah 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
1
Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu kifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi; ne bagamba Ezera omuwandiisi okuleeta ekitabo eky'amateeka ga Musa Mukama ge yalagira Isiraeri.
2
Ezera kabona n'aleeta amateeka mu maaso g'ekibiina, abasajja era n'abakazi ne bonna abaayinza okuwulira n'okutegeera, ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu.
3
Awo n'asoma okuva mu kyo mu maaso g'ekifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi, okuva enkya mu makya okutuusa ettuntu, abasajja n'abakazi nga weebali, n'abo abayinza okutegeera; abantu bonna ne batega amatu okuwulira ekitabo eky'amateeka.
4
Ezera omuwandiisi n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo; n'okumuliraana ne wayimirira Mattisiya, Sema, Anaya, Uliya, Kirukiya ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo; ne ku mukono gwe ogwa kkono ne wayimirira Pedaya, Misayeri, Malukiya, Kasumu, Kasubaddana, Zekkaliya ne Mesullamu.
5
Awo Ezera n'ayanjululiza ekitabo mu maaso g'abantu bonna; kubanga yali ayimiridde waggulu w'abantu bonna; kale bwe yakyanjuluza, abantu bonna ne bayimirira.
6
Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu. Abantu bonna ne baddamu nti Amiina, Amiina, nga bayimusa emikono gyabwe, ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama nga bavuunamye amaaso gaabwe.
7
Era Yesuwa, Baani, Serebiya, Yamini, Akkubu, Sabbesayi, Kodiya, Masseya, Kerita, Azaliya, Yozabadi, Kanani, Peraya n'Abaleevi ne bayamba abantu okutegeera amateeka, abantu ne bayimirira mu kifo kyabwe.
8
Ne basoma mu ddoboozi eriwulikika, ebiri mu kitabo ky'amateeka ga Katonda, nga bannyonnyola amakulu, abantu basobole okutegeera ebyasomebwa.
9
Awo Nekkemiya omufuzi ne Ezera kabona era omuwandiisi n'Abaleevi abaayigirizanga abantu ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba maziga.” Kubanga abantu bonna baakaaba amaziga bwe baawulira ebigambo eby'omu mateeka.
10
Awo n'abagamba nti, “Mweddireyo, mulye ebyassava, munywe ebiwoomerevu, mugabanyizeeko n'abo abatabirina, kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe, so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.”
11
Awo Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga boogera nti, “Musirike, kubanga olunaku luno lutukuvu; so temunakuwala.”
12
Awo abantu bonna ne beddirayo okulya n'okunywa n'okugabira ku bannaabwe emigabo n'okusanyuka essanyu lingi, kubanga bategedde ebigambo ebibabuuliddwa.
13
Awo ku lunaku olwokubiri abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza bantu bonna, bakabona n'Abaleevi ne bakuŋŋaanira awali Ezera omuwandiisi, okuyiga ebigambo eby'amateeka.
14
Ne balaba ebyawandiikibwa mu mateeka Mukama ge yawa nga ayita mu Musa, nti abaana ba Isiraeri basulenga mu nsiisira mu mbaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu,
15
bategeezenga era balangirirenga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi nti, “Mufulume ku lusozi, mukime amatabi g'emizeyituuni, n'amatabi ag'emizeyituuni egy'omu nsiko, n'amatabi g'emikadasi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, okukola ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.”
16
Awo abantu ne bafuluma ne bagaleeta ne beekolera ensiisira, buli muntu waggulu ku nnyumba ye ne mu mpya zaabwe ne mu mpya z'ennyumba ya Katonda ne mu kifo ekigazi eky'oku mulyango ogw'amazzi ne mu kifo ekigazi eky'okumulyango gwa Efulayimu.
17
Awo ekibiina kyonna eky'abo abaali bakomyewo okuva mu bunyage ne bakola ensiisira ne basula mu nsiisira; kubanga okuva mu nnaku za Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku luli abaana ba Isiraeri tebaakolanga bwe batyo. Ne wabaawo essanyu lingi nnyo.
18
Era buli lunaku ng'asookera ku lunaku olwolubereberye okutuuka ku lunaku olw'enkomerero olw'embaga n'asomanga mu kitabo eky'amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng'ekiragiro bwe kiri.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13