bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 6
Nehemiah 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
1
Awo olwatuuka bwe baabuulira Sanubalaati ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n'abalabe baffe abalala nga nzimbye bbugwe, era nga tewakyali bituli bisigaddemu; newakubadde nga mu biro ebyo nali nga sinnassa nzigi mu miryango
2
Awo Sanubalaati ne Gesemu ne bantumira nga boogera nti, “Jjangu tulabaganire mu kaalo akamu ak'omu lusenyi lwa Ono.” Naye nga baalowooza okunkola obubi.
3
Ne mbatumira ababaka nga njogera nti, “Nkola omulimu omunene n'okuyinza siyinza kujja gye muli, omulimu gwandirekeddwayo ki, nze nga nguvuddeko ne nzijja eyo gye muli?”
4
Ne bantumira bwe batyo emirundi ena; ne mbaddamu bwe ntyo.
5
Awo Sanubalaati n'antumira omuddu we bw'atyo omulundi ogw'okutaano ng'alina mu mukono gwe ebbaluwa eteri nsibe;
6
omwawandiikibwa nti, “Mu mawanga mulimu ebigambo era ne Gasimu atutegeezeza nga ggwe n'Abayudaaya mwagala okujeema; kyova ozimba bbugwe, era oyagala okuba kabaka waabwe, ebigambo ebyo bwe byogera bwe bityo.
7
Era otaddewo ne bannabbi abanaabuulira abantu ebigambo byo e Yerusaalemi nga boogera nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Kale nno kabaka taaleme kubuulirwa bigambo ebyo, kale nno jjangu tuteese ffembi.”
8
Awo ne mmutumira nga njogera nti, “Tewakolebwanga bigambo nga bw'oyogera naye obigunze mu mutima gwo ggwe.”
9
Kubanga bonna baali baagala kututiisa nga bagamba nti, “Emikono gyabwe girifuuka minafu bave ku mulimu guleme okukolebwa.” Naye kaakano, ayi Katonda, nyweza ggwe emikono gyange.
10
Awo ne nnyingira mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya muzzukulu wa Meketaberi eyasibibwa; n'ayogera nti, “Tulabaganire mu nnyumba ya Katonda munda mu Yeekaalu, era tuggalewo enzigi za Yeekaalu; kubanga bagenda kujja okukutta; weewaawo, mu kiro mwe banajjira okukutta.”
11
Ne njogera nti, “Omusajja eyenkana awo nga nze yandidduse? Era ani eyenkana nga nze eyandiyingidde mu Yeekaalu okuwonya obulamu bwe? Sijja kuyingiramu.”
12
Ne ntegeera, era, laba, nga Katonda teyamutuma, naye ye yandagulako obunnabbi buno, era Tobiya ne Sanubalaati baali bamuguliridde.
13
Kyeyava aguliririrwa ntye nkole bwe ntyo nnyonoone, babeeko kwe banaggya ensonga ey'ebigambo ebibi, banvume.
14
Ayi Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanubalaati ng'ebikolwa byabwe ebyo bwe byali, era ne nnabbi omukazi Nowadiya, ne bannabbi abalala abandintiisizza.
15
Bwe kityo bbugwe n'aggwa okukola ku lunaku olw'abiri mu ttaano olw'omwezi Eruli, era omulimu ogwo gwakolebwa mu nnaku ataano mu bbiri.
16
Awo olwatuuka abalabe baffe bonna bwe baawulira bwe batyo, bannamawanga bonna abatwetoolodde ne batya ne baggweeramu ddala omwoyo mu maaso gaabwe bo, kubanga baalaba ng'omulimu guno gwakolebwa Katonda waffe.
17
Era mu nnaku ezo abakungu ba Yuda ne baweereza Tobiya ebbaluwa nnyingi, era ne Tobiya ng'abaddamu.
18
Kubanga mu Yuda mwalimu bangi abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala; era ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya.
19
Era ne boogera ku bikolwa bye ebirungi mu maaso gange, ne bamubuuliranga ne bye njogedde. Tobiya n'aweereza ebbaluwa okuntiisa.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13