bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 10
Nehemiah 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
1
Era abo abassaako akabonero be bano: Nekkemiya omufuzi, mutabani wa Kakaliya, ne Zeddekiya;
2
Seraya, Azaliya ne Yeremiya;
3
Pasukuli, Amaliya ne Malukiya;
4
Kattusi, Sebaniya ne Malluki;
5
Kalimu, Meremoosi ne Obadiya;
6
Danyeri, Ginnesoni ne Baluki;
7
Messulamu, Abiya ne Miyamini;
8
Maaziya, Birugayi ne Semaaya; abo be baali bakabona.
9
n'Abaleevi abaatekako emikono be bano: Yesuwa mutabani wa Azaniya, Binnuyi ow'oku baana ba Kenadadi ne Kadumyeri;
10
ne baganda baabwe, Sebaniya, Kodiya, Kerita, Peraya ne Kanani;
11
Mikka, Lekobu ne Kasabiya;
12
Zakkuli, Serebiya ne Sebaniya;
13
Kodiya, Baani ne Beninu.
14
Abakulembeze b'abantu abaatekako emikono be bano: Palosi, Pakasumowaabu, Eramu, Zattu ne Baani;
15
Bunni, Azugaadi ne Babayi;
16
Adoniya, Biguvayi ne Adini;
17
Atera, Keezeekiya ne Azzuli;
18
Kodiya, Kasumu ne Bezayi;
19
Kalifu, Anasosi ne Nobayi;
20
Magupiyasi, Mesullamu ne Keziri;
21
Mesezaberi, Zadoki ne Yadduwa;
22
Peratiya, Kanani ne Anaya;
23
Koseya, Kananiya ne Kassubu;
24
Kallokesi, Piruka ne Sobeki;
25
Lekumu, Kasabuna ne Maaseya;
26
Akiya, Kanani ne Anani;
27
Malluki, Kallimu ne Baana.
28
Abantu abalala bonna, bakabona n'Abaggazi, n'abayimbi, n'abaweereza b'omu Yeekaalu, n'abo bonna abeeyawula okuva mu mawanga ag'omu nsi eyo ne bagoberera amateeka ga Katonda, nga bali wamu ne bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe, na buli muntu eyalina amagezi ag'okumanya n'okutegeera;
29
ne beegatta ne baganda baabwe, n'abakungu baabwe, ne beegwanyiza ekikolimo n'ekirayiro okutambuliranga mu mateeka ga Katonda ge yawa nga agayisa mu Musa omuddu we era n'okukwatanga n'okukolanga ebiragiro byonna ebya Mukama, Katonda waffe, n'emisango gye n'amateeka ge;
30
era tulemenga okuwa bawala baffe mu b'amawanga ag'omu nsi, newakubadde okutwaliranga batabani baffe bawala baabwe;
31
era amawanga ag'omu nsi bwe banaaleetanga ebintu oba eby'okulya byonna okutundira ku lunaku olwa Ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newakubadde ku lunaku olulala lwonna olutukuvu; era tetuulimenga misiri gyaffe mu mwaka ogw'omusanvu, n'okubanjizangamu ebbanja lyonna.
32
Era ne tweteekerawo amateeka, ne twesalira okuwangayo buli mwaka ekitundu eky'okusatu ekya sekeri olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda waffe;
33
Era tunaawangayo ebintu bino: emigaati egy'okulaga, n'ebiweebwayo buli lunnaku eby'obutta n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'oku Ssabbiiti n'eby'oku myezi egyakaboneka, n'olw'embaga ezaateekebwawo, n'ebintu ebirala ebitukuvu n'ebiweebwayo okutangirira ebibi bya Isiraeri, n'olw'emirimu gyonna egy'omu nnyumba ya Katonda waffe.
34
Ne tukuba obululu, bakabona n'Abaleevi, n'abantu abalala, olw'ekiweebwayo eky'enku, okuzireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe ng'ennyumba za bakitaffe bwe zaali; mu biseera ebyalagirwa buli mwaka, okwokeranga ku kyoto kya Mukama Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka.
35
Tweyamye n'okuleetanga ebibala ebibereberye eby'ettaka lyaffe, n'ebibereberye eby'ebibala byonna eby'oku miti egy'engeri zonna buli mwaka mu nnyumba ya Mukama;
36
era n'ababereberye ku batabani baffe ne ku bisibo byaffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, n'ebibereberye ku nte zaffe ne ku ndiga zaffe okubireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe eri bakabona abaaweererezanga mu nnyumba ya Katonda waffe.
37
Buli mwaka tunaaleetanga ebibereberye eby'omugoyo gwaffe n'ebiweebwayo byaffe ebisitulibwa, n'ebibala eby'oku miti egy'engeri zonna, omwenge n'amafuta, eri bakabona mu bisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe; n'ebitundu eby'ekkumi eby'amakungula gaffe eri Abaleevi; kubanga abo, Abaleevi, be baaweebwa ebitundu eby'ekkumi mu bibuga byonna gye tulimira.
38
Era kabona ava mu nnyumba ya Alooni anaabanga wamu n'Abaleevi, Abaleevi bwe banaaweebwanga ebitundu eby'ekkumi eky'oku bitundu eby'ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge mu nnyumba ey'okuterekamu eby'obugagga.
39
Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Leevi banaaleetanga ekiweebwayo ekisitulibwa eky'eŋŋaano n'eky'omwenge n'eky'amafuta mu bisenge omuli ebintu eby'omu kifo ekitukuvu, ne bakabona abaweereza n'abaggazi n'abayimbi; so tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13