bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 4
Nehemiah 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
1
Naye olwatuuka Sanubalaati bwe yawulira nga tuzimba bbugwe, n'asunguwala n'abaako ekiruyi kingi n'aduulira Abayudaaya.
2
N'ayogerera mu maaso ga baganda be n'eggye ly'e Samaliya n'agamba nti, “Abayudaaya bano abanafu bakola ki? Baagala okwekomera? Baagala okuwaayo ssaddaaka? Baagala okumalira ku lunaku lumu? Baagala okuzuukiza amayinja okugaggya mu bifunvu eby'ebisasiro, kubanga gookeddwa?”
3
Awo Tobiya Omwamoni yali naye n'ayogera nti, “N'ekyo kye bazimba ekibe bwe kinaalinnyayo kinaasuula bbugwe waabwe ow'amayinja.”
4
Wulira, ayi Katonda waffe; kubanga tunyoomeddwa nnyo, era zza ekivume kyabwe ku mutwe gwabwe bo, obagabule okunyagibwako ebintu byabwe, era batwalibwe mu nsi endala nga basibe
5
So tobikka ku butali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe kireme okusangulibwa mu maaso go; kubanga bakusunguwazizza mu maaso g'abazimbi.
6
Awo ne tuzimba bbugwe; bbugwe yenna n'agattibwa wamu okutuusa lwe yenkanankana obugulumivu, kubanga abantu bassaayo omwoyo eri omulimu.
7
Naye olwatuuka Sanubalaati ne Tobiya n'Abawalabu n'Abamoni n'Abasudodi bwe baawulira ng'omulimu ogw'okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda gweyongera mu maaso, era ng'ebituli bitandise okuzibibwa, kale ne basunguwala nnyo;
8
ne beekobaana bonna wamu okujja okulwana ne Yerusaalemi n'okukisasamaza.
9
Naye ne tusaba Katonda waffe, era ne tussaawo abakuumi okutukuuma emisana n'ekiro baleme okutukola akabi.
10
Naye Yuda n'ayogera nti, “Amaanyi g'abo abeetikka emigugu gakendedde so nga wakyaliwo ebisasiro bingi; n'okuyinza tetukyayinza kuzimba bbugwe.”
11
Abalabe baffe ne bateesa nga boogera nti, “Tebalimanya so tebaliraba, okutuusa lwe tuliyingira mu bo wakati, ne tubatta, ne tubalesaayo omulimu.”
12
Awo olwatuuka Abayudaaya abaabeeranga okumpi nabo, ne bajja, ne batugamba emirundi kkumi nti, “Okuva mu bifo byonna gye babeera bajja kutulumba.”
13
Kye nnava nzisaawo abantu mu njuyi eza wansi ez'omu bbanga eryali emabega wa bbugwe, buli awaali watannaggwa, kyennava nzisaawo abantu ng'enda zaabwe bwe zaali nga balina ebitala byabwe n'amafumu gaabwe n'emitego gyabwe.
14
Ne ntunula ne nsituka ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti, “Temubatya, mujjukire Mukama omukulu ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe.”
15
Awo olwatuuka abalabe baffe bwe baawulira ng'olukwe lwabwe tulutegedde, era nga Katonda asse okuteesa kwabwe, ne tulyoka tudda fenna ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.
16
Awo olwatuuka okuva mu biro ebyo n'okweyongerayo ekitundu ky'abaddu bange ne bakolanga omulimu ogw'okuzimba, n'ekitundu ne bakwatanga amafumu n'engabo n'emitego n'ebizibawo eby'ebyuma. Abakulu ne babanga emabega w'ennyumba yonna eya Yuda.
17
Abo abaazimbanga bbugwe n'abo abeetikkanga emigugu ne beebinikanga, naye nga buli muntu ng'akola omulimu n'omukono gwe gumu, n'ogwokubiri nga gukutte eky'okulwanyisa.
18
Era buli muzimbi, yazimbanga yeesibye ekitala kye mu kiwato. N'oyo eyafuuwanga, ekkondeere n'abeeranga nange.
19
Ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti, “Omulimu munene mugazi, naffe twesudde amabanga ku bbugwe, ng'omu ali wala ne munne.
20
Kale buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly'ekkondeere, mutudduukiririranga eyo; era Katonda waffe ye anaatulwaniriranga.”
21
Awo ne tukolanga omulimu, ekitundu kyabwe ekimu ne bakwatanga amafumu okuva obudde we bwakeereranga okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga.
22
Era mu biro ebyo ne ŋŋamba bwe ntyo abantu nti, “Buli muntu n'omuddu we asulenga mu Yerusaalemi babeerenga bakuumi baffe ekiro, era bakolenga omulimu emisana.”
23
Awo ne tutayambulangamu byambalo byaffe, nze newakubadde baganda bange, newakubadde abaddu bange, newakubadde abasajja abambowa abangobereranga; tetwayambulangamu byambalo byaffe, buli muntu yagendanga emugga ng'akutte eky'okulwanyisa kye.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13