bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 11
Nehemiah 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
1
Awo abakulu b'abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi; era n'abantu abalala ne bakuba obululu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okumuleeta okubeera mu Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, ne bali omwenda okubeera mu bibuga ebirala.
2
Awo abantu ne beebaza abasajja bonna abeeronda ku bwabwe okubeera mu Yerusaalemi.
3
Era bano be bakulu b'essaza abaabeeranga mu Yerusaalemi; naye mu bibuga bya Yuda ne mubeeramu buli muntu mu butaka bwe mu bibuga byabwe, Isiraeri, bakabona, n'Abaleevi, n'Abaweereza b'omu Yeekaalu, n'abaana b'abaddu ba Sulemaani.
4
Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu abamu ku baana ba Yuda, n'abamu ku baana ba Benyamini. Ku baana ba Yuda mwalimu: Ataya mutabani wa Uzziya mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Amaliya mutabani wa Sefatiya mutabani wa Makalaleri ow'oku baana ba Pereezi;
5
ne Maaseya mutabani wa Baluki, mutabani wa Kolukoze, mutabani wa Kazaya, mutabani wa Adaya, mutabani wa Yoyalibu, mutabani wa Zekkaliya omwana w'Omusiiro.
6
Batabani ba Pereezi bonna abaabeera mu Yerusaalemi baali bina mu nkaaga mu munaana (468) abasajja abazira.
7
Era bano be batabani ba Benyamini: Sallu mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Yowedi, mutabani wa Pedaya, mutabani wa Kolaya, mutabani wa Maaseya, mutabani wa Isieri, mutabani wa Yesaya.
8
Awo oluvannyuma lw'oyo Gabbayi ne Sallayi, olwenda mu abiri mu munaana (928).
9
Ne Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa ye yali ow'okubiri okufuga ekibuga.
10
Ku bakabona: Yedaya mutabani wa Yoyalibu ne Yakini,
11
ne Seraya mutabani wa Kirukiya, mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Zadoki, mutabani wa Merayoosi, mutabani wa Akitubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda,
12
ne baganda baabwe abaakolanga omulimu ogw'omu nnyumba, baali lunaana mu abiri mu babiri (822). Okwo kw'ossa ne Adaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Peraliya, mutabani wa Amuzi, mutabani wa Zekkaliya, mutabani wa Pasukuli, mutabani wa Malukiya,
13
ne baganda be, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, bibiri mu ana mu babiri (242) ne Amasusaayi mutabani wa Azaleeri, mutabani wa Azayi, mutabani wa Mesiremosi, mutabani wa Immeri,
14
ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, kikumi mu abiri mu munaana (128) ne Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu ye yali omulabirizi waabwe.
15
Ne ku Baleevi: Semaaya mutabani wa Kassubu, mutabani wa Azulikamu, mutabani wa Kasabiya, mutabani wa Bunni;
16
ne Sabbesayi ne Yozabadi, ku bakulu b'Abaleevi abaalabiriranga emirimu egy'ebweru egy'ennyumba ya Katonda;
17
ne Mattaniya mutabani wa Mikka, mutabani wa Zabudi, mutabani wa Asafu eyali omukulu era eyakulemberanga mu kusinza okw'okwebaza, ne Bakubukiya ow'okubiri mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedusuni.
18
Abaleevi bonna abaali mu kibuga ekitukuvu baali bibiri mu kinaana mu bana (284).
19
Era nate abaggazi, Akkubu ne Talumooni ne baganda baabwe abaakuumanga emiryango baali kikumi mu nsanvu mu babiri (172).
20
Abaisiraeri bonna abalala, ku bakabona, n'Abaleevi, baabanga mu bibuga byonna ebya Yuda, buli muntu mu busika bwe.
21
Naye Abaweereza b'omu Yeekaalu ne babeeranga mu Oferi; ne Zika ne Gisupa be baali abakulu b'Abaweerezanga mu Yeekaalu.
22
Ne Uzzi mutabani wa Baani, mutabani wa Kasabiya, mutabani wa Mattaniya, mutabani wa Mikka, ow'oku baana ba Asafu abayimbi, ye yali omulabirizi w'Abaleevi e Yerusaalemi okulongoosa emirimu egy'omu nnyumba ya Katonda.
23
Kubanga kabaka yali alagidde ebigambo byabwe, era yali akuutidde abayimbi eby'enkalakkalira bye banafunanga nga buli lunaku bwe lwetaaga.
24
Ne Pesakiya mutabani wa Mesezaberi ow'oku baana ba Zeera mutabani wa Yuda, ye yalinga omukono gwa kabaka w'e Buperusi mu bigambo byonna eby'abantu.
25
Abantu abamu baabeeranga mu bibuga ne mu byalo okumpi n'ennimiro zaabwe, abamu ku baana ba Yuda ne babeeranga mu Kirasualuba ne mu bibuga byako, ne mu Diboni n'ebibuga byako, ne mu Yekabuzeeri n'ebyalo byako,
26
ne mu Yesuwa ne mu Molada ne Besupereti;
27
ne mu Kazalusuali ne mu Beeruseba ne mu bibuga byako;
28
ne Zikulagi ne mu Mekona n'ebibuga byako;
29
ne mu Enulimmoni ne mu Zola ne mu Yalamusi;
30
Zanowa ne Adulamu n'ebyalo byako, Lakisi n'ennimiro zaako, Azeka n'ebibuga byako. Bwe batyo bwe baasiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu.
31
Abaana ba Benyamini nabo ne babeeranga okuva e Geba n'okweyongerayo e Mikumasi ne Ayiya, ne Beseri n'ebibuga byako;
32
Anasosi ne Nobu ne Ananiya;
33
Kazoli ne Laama ne Gittayimu;
34
ne Kadidi ne Zeboyimu ne Neballati;
35
ne Loodi ne Ono, ekiwonvu eky'abakozi.
36
Ebibinja by'Abaleevi ebimu eby'omu Yuda n'ebigattibwa ne Benyamini.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13