bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 13
Nehemiah 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
1
Ku lunaku olwo, ne basoma mu kitabo kya Musa abantu nga baawulira; ne basanga nga kyawandiikibwa omwo nti, Omwamoni n'Omumowaabu obutayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Katonda emirembe gyonna;
2
kubanga tebaasisinkana baana ba Isiraeri okubawa emmere wadde amazzi, naye ne bagulirira Balamu abakolimire, era naye Katonda waffe n'afuula ekikolimo okuba omukisa.
3
Awo olwatuuka abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne balyoka baawula okuva mu Isiraeri ekibiina kyonna eky'abannamawanga.
4
Era ebyo nga tebinnabaawo Eriyasibu kabona eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe, yali mukoddomi wa Tobiya,
5
era n'ategekera Tobiya oyo ekisenge ekinene, ekyakuumirwangamu edda ebiweebwayo eby'obutta, n'omugavu, n'ebintu, n'ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, Abaleevi bye baaweebwanga olw'ekiragiro n'abayimbi n'abaggazi; n'ebiweebwayo ebisitulibwa ebya bakabona.
6
Naye ebyo byonna okubaawo nze nga siri Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw'asatu mu ebiri (32) ogwa Alutagizerugizi kabaka w'e Babbulooni, nali ŋŋenze eri kabaka. Bwe waayitawo ekiseera, ne mmusaba n'anzikiriza, ne nzirayo e Yerusaalemi.
7
Ne njija e Yerusaalemi ne ntegeera obubi Eriyasibu bwe yali akoze olwa Tobiya, ng'amutegekera ekisenge mu mpya ez'ennyumba ya Katonda.
8
Ne kinnakuwaza nnyo, kyennava nkasuka ebweru ebintu byonna eby'omu nnyumba ebya Tobiya okubiggya mu kisenge.
9
Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge, ne nzizaayo eyo ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda n'ebiweebwayo eby'obutta n'omugavu.
10
Ne ntegeera nga Abaleevi baali tebannaweebwa migabo gyabwe; awo Abaleevi n'abayimbi abaakolanga omulimu nga baddukidde buli muntu mu kyalo kye.
11
Awo ne mpakanya abakulu ne njogera nti, “Kiki ekiresezza ennyumba ya Katonda?” Ne mbakuŋŋaanya ne mbateeka mu kifo kyabwe.
12
Awo aba Yuda bonna ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta mu mawanika.
13
Ne nzisaawo abawanika ku mawanika, Seremiya kabona ne Zadoki omuwandiisi, ne ku Baleevi, Pedaya, ne Kanani ye yabaddirira mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Mattaniya, kubanga baalowoozebwa okuba abeesigwa, n'omulimu gwabwe gwali kugabiranga baganda baabwe.
14
Onzijukiranga, ayi Katonda wange, olw'ekigambo ekyo, so tosangula bikolwa byange ebirungi bye nnakolera ennyumba ya Katonda wange n'olw'emirimu egikolerwamu.
15
Mu biro ebyo ne ndaba mu Yuda abantu nga basogola ku Ssabbiiti mu masogolero, era nga bayingiza ebinywa, era nga babiteeka ku ndogoyi zaabwe; era n'omwenge n'ezabbibu n'ettini n'emigugu egy'engeri zonna gye bayingizanga mu Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti; ne mbalabula ku lunaku olwo obutatundirako eby'okulya.
16
Era mwabeeramu abasajja ab'e Ttuulo abaayingizanga ebyennyanja n'ebintu eby'engeri zonna, ne baabiguzanga abaana ba Yuda ne mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.
17
Awo ne ndyoka mpakanya abakungu ba Yuda ne mbagamba nti, “Kibi ki kino kye mukola ne mwonoona olunaku olwa Ssabbiiti?”
18
Bajjajjammwe si bwe baakolanga bwe batyo, era Katonda waffe teyatuleetako bubi buno bwonna ne ku kibuga kino? Era naye mmwe mweyongera okuleeta obusungu bwa Katonda ku Isiraeri nga mwonoona Ssabbiiti.
19
Awo olwatuuka ekizikiza bwe kyasooka okukwata enzigi ez'e Yerusaalemi Ssabbiiti ng'eneebaako enkya, ne ndagira okuggalawo enzigi, ne ndagira obutaziggulawo okutuusa Ssabbiiti lw'eriggwaako, ne nteeka abamu ku baddu bange ku nzigi, baleme okuyingiza omugugu gwonna ku lunaku olwa Ssabbiiti.
20
Awo abasuubuzi n'abatunzi b'ebintu eby'engeri zonna ne basula ebweru wa Yerusaalemi omulundi gumu oba ebiri.
21
Ne ndyoka mbeera omujulirwa eri bo ne mbagamba nti, “Kiki ekibasuza okwetooloola bbugwe? Bwe mulikola bwe mutyo nate, ndibakwata.” Awo okuva ku lunaku olwo ne baatakomawo nate ku Ssabbiiti.
22
Awo ne ndagira Abaleevi okwetukuza, era n'okujja okukuuma enzigi, okutukuza olunaku olwa Ssabbiiti. Onjijukiriranga, ayi Katonda wange, na kino, onsonyiwe ng'okusaasira kwo bwe kwenkana obungi.
23
Mu biro ebyo era ne ndaba Abayudaaya abaali bawasizza abakazi ba Asudodi n'aba Amoni n'aba Mowaabu;
24
n'abaana baabwe baayogeranga lulimi lwa ba Asudodi, so nga tebaayinza kwogera lulimi lwa Bayudaaya, naye ng'olulimi olwa buli ggwanga lyabali bwe lwali.
25
Awo ne mbawakanya ne mbakolimira ne nkubako abamu ne nkuunyuula enviiri zaabwe ne mbalayiza Katonda nti, “Temuwanga batabani baabwe bawala bammwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, newakubadde mmwe bennyini temuubawasenga.
26
Sulemaani kabaka wa Isiraeri teyeyonoona olwa abakazi ng'abo? Naye mu mawanga mangi temwali kabaka amwenkana, era yayagalibwa Katonda we, era Katonda n'amufuula kabaka wa Isiraeri yenna, era nate n'oyo abakazi ab'amawanga ne bamwonoonyesa.
27
Kale tunaawuliriza mmwe, okukolanga obubi obwenkanidde awo okusobya Katonda waffe nga tuwasa abakazi ab'amawanga?”
28
Era omu ku batabani ba Yoyada, mutabani wa Eriyasibu kabona asinga obukulu, yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni; kyennava mmugoba okuva wendi.
29
Obajjukiranga, ayi Katonda wange, kubanga baayonoona obwakabona n'endagaano ey'obwakabona n'ey'Abaleevi.
30
Bwe ntyo bwe nnabalongoosa abantu okubaggyako byonna ebya bannamawanga bonna, ne nteekawo ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli muntu mu mulimu gwe;
31
era ne nkola entegeka olw'ekiweebwayo eky'enku mu biro ebyateekebwawo, n'olw'ebibala ebibereberye. Onjijukiranga, ayi Katonda wange, okunkola obulungi.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13