bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 12
Nehemiah 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
1
Era bano be bakabona n'Abaleevi abaakomawo e Yerusaalemi ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa, Seraya ne Yeremiya ne Ezera;
2
ne Amaliya, Malluki ne Kattusi;
3
ne Sekaniya, Lekumu ne Meremoosi;
4
ne Iddo, Ginnesoyi ne Abiya;
5
ne Miyamini, Maadiya ne Biruga;
6
ne Semaaya, Yoyalibu ne Yedaya;
7
ne Sallu, Amoki, Kirukiya ne Yedaya. Abo be baali abakulu ba bakabona n'aba baganda baabwe mu nnaku za Yesuwa.
8
Era nate Abaleevi; Yesuwa, Binnuyi, Kadumyeri, Serebiya, Yuda ne Mattaniya nga y'akulembera ennyimba ez'okwebaza, ye ne baganda be.
9
Ate Bakubukiya ne Unni baganda baabwe ne baayimiriranga okuboolekera mu kuweereza.
10
Yesuwa n'azaala Yoyakimu, Yoyakimu n'azaala Eriyasibu, Eriyasibu n'azaala Yoyaada,
11
Yoyaada n'azaala Yonasaani, Yonasaani n'azaala Yadduwa.
12
Mu nnaku za Yoyakimu ne wabaawo bakabona abakulu b'ennyumba za bakitaabwe; eyali akulira ennyumba ya Seraya ye Meraya; eya Yeremiya ye Kananiya;
13
eya Ezera ye Mesullamu; eya Amaliya, Yekokanani;
14
eya Malluki ye Yonasaani; eya Sebaniya ne Yusufu;
15
eya Kalimu ye Aduna; eya Merayoosi ye Kerukayi;
16
eya Iddo ye Zekkaliya; owa Ginnesoni ye Mesullamu;
17
eya Abiya ye Zikuli; owa Miniyamini n'owa Mowadiya ye Pirutayi;
18
eya Biruga ye Sammuwa; eya Semaaya ye Yekonasani;
19
n'eya Yoyalibu ye Mattenayi; eya Yedaya ye Uzzi;
20
eya Sallayi ye Kallayi; eya Amoki ye Eberi;
21
eya Kirukiya ye, Kasabiya; eya Yedaya ye Nesaneeri.
22
Abaleevi mu nnaku za Eriyasibu, Yoyada, Yokanani ne Yadduwa, ne bawandiikibwa nga be bakulu b'ennyumba za bakitaabwe; era ne bakabona ne bawandiikibwa okutuusa nga Daliyo Omuperusi ye kabaka.
23
Batabani ba Leevi, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ne bawandiikibwa mu Kitabo eky'Eby'omu mirembe okutuusa ku nnaku za Yokanani mutabani wa Eriyasibu.
24
N'abakulu b'Abaleevi: Kasabiya, Serebiya ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri ne baganda baabwe nga baboolekedde n'ebatenderezanga n'okwebazanga ng'ekiragiro bwe kyali ekya Dawudi omusajja wa Katonda, ekibinja nga kyolekedde ekibinja.
25
Mattaniya, Bakubukiya, Obadiya, Mesullamu, Talumooni ne Akkubu be baali abaggazi nga bakuuma amawanika ag'oku miryango.
26
Abo be baaliwo mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, n'ebya Ezera kabona omuwandiisi.
27
Awo bwe baatukuza bbugwe wa Yerusaalemi, ne banoonya Abaleevi mu bifo byabwe byonna, okubaleeta e Yerusaalemi, okukwata embaga ey'okutukuza n'essanyu, nga beebaza era nga bayimba, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga.
28
Abaana b'abayimbi ne bakuŋŋaana, okuva mu lusenyi olw'etoolodde Yerusaalemi ne mu byalo eby'Abanetofa;
29
era ne mu Besugirugaali ne mu nnimiro ez'oku Geba ne Azumavesi; kubanga abayimbi baali beezimbidde ensiisira okwetooloola Yerusaalemi.
30
Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza; ne batukuza abantu, n'emiryango ne bbugwe.
31
Awo ne nnyambusa abakulu ba Yuda ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene abeebaza ne batambula nga basimbye ennyiriri; ekimu nga kitambulira ku mukono ogwa ddyo ku bbugwe mu kkubo ery'omulyango ogw'obusa;
32
n'oluvannyuma lwabwe Kosaaya n'atambula n'ekitundu eky'abakulu ba Yuda,
33
ne Azaliya, Ezera ne Mesullamu
34
ne Yuda, Benyamini, Semaaya ne Yeremiya,
35
n'abamu ku baana ba bakabona nga balina amakkondeere, Zekkaliya mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Semaaya, mutabani wa Mattaniya, mutabani wa Mikaaya, mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Asafu;
36
ne baganda be, Semaaya, Azaleeri, Miralayi, Giralayi, Maayi, Nesaneeri, Yuda ne Kanani, nga balina ebivuga ebya Dawudi omusajja wa Katonda; ne Ezera omuwandiisi ng'abakulembedde.
37
Awo ne bayita mu mulyango ogw'oluzzi n'okusimba mu maaso gaabwe ne balinnya ku lutindo olw'ekibuga kya Dawudi, bbugwe w'ayambukira waggulu w'ennyumba ya Dawudi okutuusa ku mulyango ogw'amazzi ebuvanjuba.
38
N'ekibiina eky'okubiri eky'abo abeebaza ne bagenda okubasisinkana, nange nga mbavaako emabega, wamu n'ekitundu ky'abantu ku bbugwe engulu w'omunaala ogw'ebikoomi, okutuusa ku bbugwe omugazi;
39
ne tuyita engulu w'omulyango gwa Efulayimu, n'awali omulyango omukadde, n'awali omulyango ogw'ebyennyanja, n'eku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gwe Kikumi, okutuusa ku mulyango ogw'endiga; ne bayimirira buyimirizi mu mulyango ogw'abakuumi.
40
Awo ebibiina byombi eby'abo abeebaliza mu nnyumba ya Katonda ne biyimirira, nange nnenyimirira awamu n'ekitundu ky'abakulu abaali nange;
41
ne bakabona, Eriyakimu, Maaseya, Miniyamini, Mikaaya, Eriwenayi, Zekkaliya ne Kananiya nga balina amakkondeere;
42
ne Maaseya, Semaaya, Ereyazaali, Uzzi, Yekokanani, Malukiya, Eramu ne Ezera. Abayimbi ne bayimba n'eddoboozi ddene, Yezulakiya nga ye mukulu waabwe.
43
Ne bawaayo ssaddaaka nnyingi ku lunaku olwo ne basanyuka; kubanga Katonda yali abasanyusizza essanyu lingi; era n'abakazi n'abaana abato ne basanyuka. Awo essanyu ery'e Yerusaalemi n'okuwulirwa ne liwulirirwa wala.
44
Awo ku lunaku olwo abasajja ne balondebwa ab'okulabiriranga enju ez'amawanika olw'ebiweebwayo ebisitulibwa, olw'ebibala ebibereberye, n'olw'ebitundu eby'ekkumi, okuzikuŋŋaanyizaamu, ng'ennimiro ez'oku bibuga bwe zaali, emigabo egyalagirwa bakabona n'Abaleevi mu mateeka, kubanga Yuda yasanyuka olwa bakabona n'Abaleevi abaaweereza.
45
Era baakwata okuweereza Katonda waabwe, n'okuweereza okw'okwetukuza, era nga n'abayimbi n'abaggazi nabo bwe baakola ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Sulemaani mutabani we.
46
Kubanga mu mirembe gya Dawudi ne Asafu edda waabangawo omukulu w'abayimbi, n'ennyimba ez'okutenderezanga n'okwebazanga Katonda.
47
Era Isiraeri yenna mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya ne bawa emigabo gy'abayimbi n'abaggazi ng'ebyagwaniranga buli lunaku bwe byali; era ne bategeka n'egyo egy'Abaleevi, ate n'Abaleevi ne bategeka egyo egya batabani ba Alooni.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13