bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nehemiah 5
Nehemiah 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
1
Awo ne wabaawo olukaayano olunene olw'abantu ne bakazi baabwe eri baganda baabwe Abayudaaya.
2
Kubanga waaliwo abaayogera nti, “Ffe, batabani baffe ne bawala baffe, tuli bangi; tufune eŋŋaano tulyenga tube abalamu.”
3
Era ne wabaawo abalala abaayogera nti, “Tusingawo ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu n'ennyumba zaffe olw'enjala, tufunenga eŋŋaano.”
4
Era ne wabaawo abaayogera nti, “Twewola effeeza ey'omusolo gwa kabaka nga tusinzeewo ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu.”
5
Naye kaakano omubiri gwaffe guli ng'omubiri gwa baganda baffe, abaana baffe bali ng'abaana baabwe, era, laba, batabani baffe ne bawala baffe tubaleeta mu buddu okuba abaddu, era abamu ku bawala baffe bamaze okuleetebwa mu buddu; so tetuliiko kye tunaakola; kubanga abasajja abalala be balina ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu.
6
Awo ne nsunguwala nnyo bwe nnawulira olukaayano lwabwe n'ebigambo bino.
7
Awo ne ndyoka nteesa nzekka ne nnyomba n'abakungu n'abakulu ne mbagamba nti, “Muweesa buli muntu muganda we amagoba.” Ne mbakuŋŋaanya okukuŋŋaana okunene.
8
Ne mbagamba nti, “Ffe nga bwe twayinza twanunula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga. Kaakano nammwe mwagala n'okutunda baganda bammwe, ffe tulyoke tubagule!” Awo ne basirika busirisi ne batabaako kye boogera.
9
Era ne njogera nti, “Ekigambo kye mukola si kirungi. Temwanditambulidde mu kutya Katonda waffe, ne mutatuvumisa bannamawanga abalabe baffe?
10
Era nange bwe ntyo ne baganda bange n'abaddu bange tubadde tuwola effeeza n'eŋŋaano olw'amagoba. Mbeegayiridde, tuleke amagoba ago.
11
Mbeegayiridde, mubaddize leero ennimiro zaabwe n'ensuku zaabwe ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni n'ennyumba zaabwe, era n'ekitundu eky'ekikumi ekya ffeeza, n'eky'eŋŋaano, n'omwenge n'amafuta bye mubadde mubaweesa.”
12
Awo ne boogera nti, “Tunaabizza, so tetulibasalira kintu, bwe tutyo tunaakola nga bw'oyogera.” Awo ne mpita bakabona, ne mbalayiza nga banaakolanga bwe basuubizza.
13
Era ne nkunkumula olugoye olw'omu kifuba kyange ne njogera nti, “Katonda akunkumulire bw'atyo mu nnyumba ye ne mu mulimu gwe buli muntu atatuukiriza kusuubiza kuno; bw'atyo bw'aba akunkumulwa amalibwemu.” Ekibiina kyonna ne boogera nti, “Amiina,” ne batendereza Mukama. Abantu ne bakola nga bwe basuubiza.
14
Era okuva mu biro lwe nnateekebwawo okuba omukulu waabwe mu nsi ya Yuda, okuva ku mwaka ogw'abiri (20) okutuuka ku mwaka ogw'asatu mu ebiri (32) ogwa Alutagizerugizi kabaka, gye myaka ekkumi n'ebiri (12), nze ne baganda bange tetulyanga ku mmere ey'omukulu.
15
Naye abakulu ab'edda abansooka baasoloozanga ku bantu bye baalyanga ne babasaliranga emmere n'omwenge ne bongerako ne sekeri eza ffeeza ana (40) era n'abaddu baabwe baatulugunyanga abantu, naye nze si bwe nnakolanga olw'okutya Katonda.
16
Weewaawo, era nanyiikiranga okukola omulimu ogw'okuzimba bbugwe ono, ne tuteegulira ttaka, n'abaddu bange bonna ne baakuŋŋaanira eyo eri omulimu.
17
Era bulijjo ku mmeeza yange nnaliisanga Abayudaaya n'abakulu babwe, abasajja kikumi mu ataano (150), obutassaako abo abajja gyetuli nga bava mu bannamawanga abatwetoolodde.
18
Era ebyafumbibwanga eby'olunaku olumu byali: ente emu (1) n'endiga ensava mukaaga (6) era n'enkoko zanfumbirwanga, n'omulundi gumu buli nnaku kkumi (10) omwenge ogw'engeri zonna, era naye newakubadde nga byali bwe bityo ssaabasalira mmere gye banditekeddwa okuwa omukulu, kubanga obuddu bwabazitoowerera abantu bano.
19
Ayi Katonda wange, jjukira gye ndi olw'obulungi byonna bye nkoledde abantu.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13