bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 1
2 Corinthians 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, era n'owooluganda Timoteewo, tuwandiikira ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, ekiri mu Korinto, era n'abantu ba Katonda bonna ab'omu Akaya yonna.
2
Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo, babakwatirwe ekisa era babawe emirembe.
3
Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo era Kitaffe, ajjudde okusaasira, era Katonda asanyusa bonna, atenderezebwenga.
4
Ye oyo atusanyusa mu buzibu bwaffe bwonna, naffe tulyoke tusobole okusanyusanga abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri, nga tubasanyusa n'ebyo ffe ffennyini bye tufunye okuva eri Katonda.
5
Kuba nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo okungi, era bwe tutyo bwe tusanyukira mu Kristo.
6
Bwe tubonyaabonyezebwa, tubonaabona, mmwe mulyoke mufune essanyu, era mulokolebwe. Era bwe tusanyuka, nammwe musanyuka, ne mufuna amaanyi okuyita mu bizibu ng'ebyaffe bye tuyitamu, nga muli bagumiikiriza.
7
Tubalinamu nnyo essuubi, kubanga tumanyi nti nga bwe mubonaabonera awamu naffe, era muligabana ku ssanyu lyaffe.
8
Abooluganda, twagala mumanye okubonyaabonyezebwa okwatutuukako nga tuli mu Asiya. Twabonyaabonyezebwa nnyo ekiyitiridde, n'essuubi ery'okuba abalamu ne lituggwaamu.
9
Twalowooleza ddala nti tusaliddwa gwa kufa. Ekyo kyatutuukako, tuleme kwesiga maanyi gaffe, wabula twesige Katonda yekka azuukiza abafu.
10
Katonda oyo ye yatuwonya mu kabi akanene bwe katyo ak'okufa, era ye alituwonya, era gwe tulinamu essuubi ery'okutuwonyanga.
11
Nammwe mutuyambe nga mutusabira, bangi balyoke beebaze Katonda ku lwaffe, olw'emikisa egituweereddwa olw'okusaba kw'abangi.
12
Ekituleetera okwenyumiriza kye kino nti emmeeme etukakasa nti mu nsi muno, n'okusingira ddala mu mmwe, tubadde ba mpisa nnungi, si lwa magezi ga bantu, naye kubanga ekisa kya Katonda kye kitufuula ab'amazima era abatuukirivu.
13
Tubawandiikira ebyo byokka bye musobola okusoma era n'okutegeera. Era nsuubira nti mulitegeerera ddala
14
ekyo kaakano kye mutegeerako ekitundu, mulyoke mwenyumirize ku lwaffe, nga ffe bwe tulyenyumiriza ku lwammwe, ku lunaku lwa Mukama Yesu.
15
Olw'okwekakasa mu ekyo, nayagala nsooke kukyalira mmwe, mulyoke mufune omukisa gwa mirundi ebiri.
16
Nayagala mbakyalire nga ŋŋenda e Makedooniya, era nkomewo gye muli nga nva e Makedooniya, mulyoke munnyambe nga ŋŋenda e Buyudaaya.
17
Bwe nayagala okukola ekyo, mulowooza nti nali munnanfuusi? Bye nkola mbikola ng'omuntu ow'ensi, agamba nti: “Weewaawo,” ate mu kaseera ke kamu n'agamba nti: “Nedda”?
18
Nga Katonda bw'ali omwesigwa, tetubagambangako nti: “Weewaawo,” ate ne tukyusa nti: “Nedda.”
19
Yesu Kristo, Omwana wa Katonda eyabategeezebwa Siluvaano ne Timoteewo era nange, teyali nti: “Weewaawo,” ate nti “Nedda,” wabula mu ye bulijjo mulimu “Weewaawo,”
20
kubanga mu Kristo, byonna Katonda bye yasuubiza, mwe bituukiririra. Ku bwa Kristo, kyetuva tugamba nti: “Amiina,” nga tuwa Katonda ekitiibwa.
21
Ffe nammwe, Katonda yatukakasa nti mu Kristo mwe tufunira obulamu, era Katonda yennyini yatufukako omuzigo,
22
n'atuteekako akabonero ke, bwe yatuwa Mwoyo we mu mitima gyaffe, abe omusingo gw'ebyo by'atuterekedde.
23
Katonda ye mujulirwa wange nti olw'okubasaasira mmwe, kyennava sijja Korinto.
24
Tetubalagira bulagizi kye muteekwa okukkiriza, wabula tukolera wamu nammwe, mulyoke musanyuke, kubanga muli banywevu mu kukkiriza.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13