bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 3
2 Corinthians 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
1
Mulowooza nti tutandise ate okwetenda? Oba mulowooza nti twetaaga ebbaluwa ng'abalala, ezitusemba gye muli, oba mmwe ze muwandiise nga zitusemba?
2
Mmwe mwennyini, mmwe bbaluwa yaffe etusemba, ewandiikiddwa ku mitima gyaffe, emanyibwa era esomebwa abantu bonna.
3
Bonna babalaba nti muli bbaluwa eyava eri Kristo, gye twaleeta. Ebbaluwa eyo, teyawandiikibwa na bwino, wabula yawandiikibwa na Mwoyo wa Katonda Nnannyinibulamu. Era teyawandiikibwa ku bipande bya mayinja, wabula yawandiikibwa ku bipande eby'emitima gy'abantu.
4
Obwo bwe bwesige bwe tulina mu Katonda, nga tuyita mu Kristo.
5
Tetugamba nti twemalirira, oba nti tulina kye tukola ku bwaffe, wabula amaanyi gaffe gava eri Katonda.
6
Ye yatusaanyiza okuba abaweereza b'endagaano empya, eteri ya mateeka mawandiike, naye eya Mwoyo. Amateeka amawandiike galeeta kufa, naye Mwoyo aleeta bulamu.
7
Naye oba nga Amateeka agaleeta okufa, agaayolebwa mu nnukuta ku bipande eby'amayinja, gaaweebwa mu kitiibwa ekinene, Abayisirayeli ne batayinza na kutunuulira Musa mu maaso olw'okwakaayakana kwago, okwali okw'okuggwaawo,
8
kale Mwoyo Mutuukirivu taliweebwa mu kitiibwa kinene okusingawo?
9
Oba nga okuweebwa ekyo ekisingisa abantu omusango kwa kitiibwa, okuweebwa ekyo ekireetera abantu obutuukirivu kwa kitiibwa nnyo okusingawo.
10
N'olwekyo, ekyo ekyali kirina ekitiibwa luli, kaakano tekikyakirina, kubanga kyamalibwawo ekitiibwa ekisingirawo ddala.
11
Kuba oba nga ekyo ekiggwaawo kyalina ekitiibwa, ekyo eky'olubeerera kiteekwa okuba n'ekitiibwa ekisingawo.
12
N'olwekyo nga bwe tulina essuubi eryo eryenkana awo, tuli bagumu nnyo.
13
Tetuli nga Musa eyeebikkanga ekitambaala ku maaso, Abayisirayeli baleme kulaba kwakaayakana kw'amaaso ge bwe kuggwaawo.
14
Emitima gyabwe gyaguba n'okutuusiza ddala kaakano. Bwe basoma endagaano enkadde, ekibikka ekyo kyennyini tekibaggyibwangako. Ekibikka ekyo kiggyibwa ku abo abeegatta ne Kristo.
15
Ddala n'okutuusiza ddala kaakano, ebyawandiikibwa Musa buli lwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikkiddwako.
16
Naye omuntu bw'akyuka n'adda eri Mukama, ekibikka kiggwaawo.
17
Mukama ye Mwoyo, era Mwoyo wa Mukama w'abeera, we waba eddembe.
18
N'olwekyo ffe ffenna bwe tuggyibwako ekibikka ku maaso, ekitiibwa kya Mukama kirabikira mu ffe, nga bwe kyandirabikidde mu ndabirwamu. Ekitiibwa ekyo ekiva eri Mukama, ye Mwoyo, kitufuula ne tufaanana nga ye, mu kitiibwa ekigenda nga kyeyongera.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13