bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 7
2 Corinthians 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
1
Abaagalwa, nga bwe twasuubizibwa ebyo, twetukuze, mu ebyo byonna ebyonoona omubiri, n'ebyonoona omwoyo, tulyoke tubeerere ddala batukuvu abassaamu Katonda ekitiibwa.
2
Mutuwe ekifo mu mitima gyammwe. Tetuliiko gwe twakola kabi, tetuliiko gwe twazikiriza, era tetuliiko gwe twalyazaamaanya.
3
Ebyo sibyogedde lwa kubanenya. Nagambye dda nti muli baagalwa baffe, abali naffe bulijjo mu kufa, oba mu bulamu.
4
Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzaamu nnyo. Newaakubadde tubonyaabonyezebwa, naye nziramu amaanyi, ne nzijula essanyu.
5
Era ne bwe twatuuka mu Makedooniya, tetwawummula n'akatono. Twabonaabona eruuyi n'eruuyi: twali twetooloddwa ennyombo, era ng'emitima gyaffe gyeraliikirira.
6
Kyokka Katonda asanyusa abasobeddwa, yatusanyusa olw'okujja kwa Tito.
7
Si lwa kujja kwe kwokka, naye era n'okututegeeza nga bwe mwamusanyusa. Yatutegeeza nga bwe mwagala ennyo okundabako, nga bwe mulumwa olw'ebyo ebyagwawo, era nga bwe munnumirwa ennyo. Neeyongera okusanyuka olw'ebyo.
8
Newaakubadde nga nabanakuwaza mu bbaluwa yange, ssejjusa. Weewaawo nejjusa kubanga nalaba nti ebbaluwa eyo yabanakuwaza okumala akaseera.
9
Naye kaakano nsanyuka, si lwa kuba nga nabanakuwaza, naye kubanga okunakuwala kwammwe kwabaviiramu okwenenya. Okunakuwala okwo Katonda yakusiima, n'olwekyo tetulina kye twabafiiriza.
10
Okunakuwala okusiimibwa Katonda, kuleeta okwenenya okuvaamu okulokolebwa, era tekuleetera bantu kujulirira. Naye okunakuwala okw'abantu ab'ensi, kuvaamu okufa.
11
Kale mulabe okunakuwala okwo Katonda kw'asiima bye kwabaleetera: mwafuba nnyo, mwennyonnyolako, mwasunguwala, mwatya, mwegomba okundaba, mwewaayo eri Katonda, era mweteekateeka okubonereza buli akola ekibi. Mu byonna mweraga nga temuliiko kye munenyezebwa mu kino.
12
Kale newaakubadde nga nabawandiikira ebbaluwa eyo, saagiwandiika lw'oyo eyakola ekibi, oba olw'oyo eyakolwa ekibi, wabula nagiwandiika lwa kukakasa mu maaso ga Katonda nti mutulumirwa.
13
N'olwekyo twaddamu amaanyi. Ne mu kuddamu amaanyi, tweyongera okusanyuka ennyo olw'essanyu lya Tito, mmwe mwenna gwe mwawonya okweraliikirira.
14
Ne bwe mba nga nabatenda nnyo gy'ali, temwanswaza. Kuba nga byonna bye twabategeeza bwe biri eby'amazima, n'okubatenda eri Tito kweragira ddala nga kwa mazima.
15
Era naye olw'okujjukira nga bwe mwamussaamu ennyo ekitiibwa, yeeyongedde nnyo okubaagala.
16
Nsanyuse kubanga nnyinza okubeesigira ddala mu byonna.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13