bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 13
2 Corinthians 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
1
Guno gwe mulundi ogwokusatu gwe njija gye muli. Buli kigambo kirikakasibwa nga waliwo abajulirwa babiri oba basatu.
2
Bwe nali nammwe ku mulundi ogwokubiri nalabula abo abaayonoona edda, era nalabula n'abalala bonna. Ne kaakano, newaakubadde nga siri nammwe, nziramu okubalabula nti bwe ndijja, siribaako gwe nsaasira.
3
Bulijjo mmwe mwagala ekikakasa nti Kristo ayogerera mu nze. Kristo oyo tabafuza bunafu, wabula aba wa maanyi mu nze.
4
Kubanga newaakubadde yakomererwa ku musaalaba nga munafu, kyokka mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Naffe mu ye tuba banafu. Kyokka mu kukolagana nammwe, tujjanga kuba naye mu maanyi ga Katonda.
5
Mwekebere era mwegeze mulabe oba nga mukyanyweredde mu kukkiriza. Temumanyi nti Kristo ali mu mmwe? Mpozzi ng'ekigezo ekyo kibalemye!
6
Nsuubira nti mujja kumanya nti ffe tetulemeddwa.
7
Naye tusaba Katonda, muleme kukola kibi, si lwa kwagala kulabika nti twakola bulungi, wabula mmwe mukole ekituufu, ffe ne bwe tunaalabika ng'abalemeddwa.
8
Tetuyinza kukola kintu na kimu ekiwakanya amazima, wabula okugalwanirira.
9
Tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, naye mmwe ne muba ab'amaanyi. Era kye tubasabira mmwe eri Katonda, kwe kutuukirira.
10
Bino mbibawandiikidde nga sinnajja gye muli, bwe ndijja nneme okuba omukambwe mu kukozesa obuyinza Mukama bwe yampa okubazimba, sso si okubazikiriza.
11
Kale kaakano abooluganda, mweraba. Mufube okuba abatuukiridde, mugumyaŋŋanenga, mulowoozenga bumu, mube n'emirembe, ne Katonda nnannyini kwagala n'emirembe, anaabanga nammwe.
12
Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana.
13
Abantu ba Katonda bonna babalamusizza.
14
Ekisa Mukama waffe Yesu Kristo ky'atukwatirwa, n'okwagala kwa Katonda kw'atwagalamu, n'okussa ekimu Mwoyo Mutuukirivu kw'atuwa, bibeerenga nammwe mwenna.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13