bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 8
2 Corinthians 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
1
Abooluganda, twagala mumanye ekisa Katonda kye yakwatirwa ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Makedooniya.
2
Mu kugezebwa kwabwe, nga babonyaabonyezebwa ennyo, baafuna essanyu lingi, ne libaleetera okugaba nga tebeebalira, newaakubadde nga baavu nnyo.
3
Era nkakasa nti baagaba ng'okufuna kwabwe bwe kuli. Naye era baasinzaawo, ate nga beeyagalidde bokka.
4
Baatwegayirira nnyo bakkirizibwe okwegatta n'abo abayamba abantu ba Katonda.
5
Era baakola kye twali tutasuubira! Okusooka beewaayo eri Mukama, era olw'okwagala kwa Katonda, ne beewaayo eri ffe.
6
Kyetwava tusaba Tito eyatandika omulimu ogwo ogw'ekisa ajje agumalirize ne mu mmwe.
7
Kale nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza ne mu kwogera ne mu kumanya ne mu kunyiikirira byonna era ne mu kutwagala, twagala musukkirire ne mu mulimu guno ogw'ekisa.
8
Ekyo sikyogera nga mbalagira bulagizi, wabula mbalaga abalala nga bwe beetegese okuyamba, ndyoke ndabe nti okwagala kwammwe kwa mazima.
9
Mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo. Mumanyi nti newaakubadde nga yali mugagga, kyokka yafuuka mwavu ku lwammwe, mmwe mulyoke mugaggawale olw'obwavu bwe.
10
Amagezi ge mbawa ku kino, kwe kumaliriza ekyo kye mwatandika omwaka ogwayita. Mmwe mwasinga, si mu kukola kwokka, naye ne mu kusanyukira kye mukola.
11
Kale obumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, bulabikire mu kukimaliriza, nga mukozesa ebyo bye mulina.
12
Kuba oba nga mwegomba okubaako kye muwaayo, Katonda akkiriza ekyo kye mulina, sso si ekyo kye mutalina.
13
Saagala muyambe balala ate mmwe mwerumye.
14
Naye olw'obwenkanya, mmwe bye mulina ebingi mu kiseera kino, biyambe bo mu kwetaaga kwabwe. Ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi, biriyamba mmwe mu kwetaaga kwammwe, walyoke wabeewo okwenkanankana.
15
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Eyakuŋŋaanya ebingi, tebyamuyitirirako, n'eyakuŋŋaanya ebitono, yafuna ebimumala.”
16
Kyokka twebaze Katonda awadde Tito omwoyo ogubalumirwa ennyo nga ffe gwe tulina.
17
Teyakoma ku kukkiriza bukkiriza kye twamusaba, wabula naye yennyini yali mwetegefu, era ajja kujja gye muli nga yeeyagalidde.
18
Era awamu naye, tubatumidde owooluganda amanyiddwa ennyo ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo. Amanyiddwa kubanga ategeeza abantu Amawulire Amalungi.
19
Era ekirala, ebibiina by'abakkiriza Kristo bimulonze okutuwerekera n'okutuyamba mu mulimu guno ogw'ekisa, gwe tukola olw'okuweesa Katonda ekitiibwa n'okulaga bwe twagala okuyamba.
20
Twegendereza waleme kubaawo atwemulugunyiza olw'engeri gye tugabanyaamu ebirabo abantu bye bawa.
21
Kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka, wabula ne mu maaso g'abantu.
22
Era awamu nabo, tubatumidde owooluganda omulala, gwe tugezezza emirundi emingi, ne tusanga nga munyiikivu mu bintu bingi. Era kaakano yeeyongedde okuba omunyiikivu, kubanga abeesiga nnyo mmwe.
23
Tito ye, ye mukozi munnange bwe tukola mu kubaweereza mmwe. Era baganda baffe abo, be babaka b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, era abaweesa Kristo ekitiibwa.
24
Kale mu maaso g'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo, mubalage ekikakasa okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13