bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 9
2 Corinthians 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
1
Tekinneetaagisa kubawandiikira olw'ebirabo ebikuŋŋaanyizibwa okuyamba abantu ba Katonda ab'omu Buyudaaya.
2
Mmanyi nti muli beetegefu okuyamba, era kindeetera okwenyumiriza eri ab'omu Makedooniya, nga mbagamba bo nti: “Ab'omu Akaya beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita.” Era obumalirivu bwammwe bukubirizza bangi mu bo.
3
Naye mmwe mbatumidde, abooluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere, wabula mube beetegefu nga bwe nagamba.
4
Sikulwa ng'abamu ku b'omu Makedooniya bajja nange, ne tusanga nga temuli beetegefu, ffe, ne bwe siiyogere ku kuswala okwammwe, ne tufa ensonyi, olw'okubeesigira obwereere.
5
Kyenvudde ndowooza nti kituufu okubatumira abooluganda bansooke okujja gye muli, bateeketeeke ekirabo ekyo kye mwasuubiza, kisangibwe nga kitegekeddwa lwa kweyagalira, sso si lwa kuwalirizibwa.
6
Mujjukire nti oyo asiga ng'akekkereza ensigo, alikungula bitono; kyokka oyo asiga ennyingi, alikungula bingi.
7
Kale buli omu akole nga bw'amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya, wadde olw'okuwalirizibwa. Katonda ayagala oyo agaba nga musanyufu.
8
Era Katonda ayinza okubawa ebyo ebisinga ku bye mwetaaga, mulyoke mube na bingi bulijjo, era mugabe bingi olwa buli mulimu omulungi.
9
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Yagaba nnyo ng'agabira abaavu. Obutuukirivu bwe bwa mirembe gyonna.”
10
Era Katonda awa omusizi ensigo, n'amuwa n'emmere ey'okulya, anaayazanga ensigo zammwe ne mweyongera okugaba.
11
Anaabagaggawazanga mu byonna ne mugaba nnyo, abantu balyoke beebazenga Katonda olw'ebyo bye tukoze.
12
Okukola omulimu guno tekukoma ku kuyamba bantu ba Katonda kyokka, naye era kwongera okuleetera abantu okwebaza ennyo Katonda.
13
Ekyo kye mukola kikakasa okukkiriza kwammwe, era kireetera abantu okuwa Katonda ekitiibwa, si lwa kukkiriza Amawulire Amalungi kyokka, wabula era mugagondera, ne mubawa ku byammwe era ne muwa n'abalala bonna.
14
N'engeri gye babasabiramu eri Katonda, eraga nga bwe babaagala ennyo, kubanga Katonda yabakwatirwa mmwe ekisa ekitasangikasangika.
15
Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekyo ekitanyumizika.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13