bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 12
2 Corinthians 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
1
Ndi wa kwenyumiriza, newaakubadde okwenyumiriza tekugasa. Naye ka njogere ku kulagibwa n'okulabikirwa Mukama waffe.
2
Mmanyi omugoberezi wa Kristo eyatwalibwa mu ggulu erya waggulu ennyo, kati emyaka kkumi n'ena egiyiseewo. Simanyi oba nga ekyo kyabeererawo ddala, oba nga kwali kulabikirwa. Simanyi, Katonda ye amanyi.
3
Era mmanyi nti omuntu oyo, (oba nga ekyo kyabeererawo ddala, oba nga kwali kulabikirwa, simanyi, Katonda ye amanyi),
4
yatwalibwa mu kifo eky'okwesiima, n'awulira ebigambo ebitannyonnyolekeka, omuntu by'atasobola kwogera.
5
Kale nneenyumirizanga olw'omuntu oyo, naye sijja kwenyumiriza ku lwange, okuggyako olw'ebyo ebiraga bwe ndi omunafu.
6
Kyokka ne bwe nandyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru, kubanga nandyogedde mazima. Naye ka nkireke, kubanga saagala wabeewo muntu n'omu andowoozaako bisinga ku ebyo by'andabamu, ne by'awulira njogera.
7
Naye olw'okunziyiza okwekulumbaza olw'ebintu ebyewuunyisa bye nalaba emirundi emingi, naweebwa obulumi obungi mu mubiri gwange, nga ye mubaka wa Sitaani, ambonyeebonye, nneme kwekulumbaza.
8
Emirundi esatu neegayirira Mukama waffe amponye obulumi obwo,
9
kyokka yaŋŋamba nti: “Obuyambi bwe nkuwa bukumala, kubanga amaanyi gange galabikira mu bunafu bwo.” Kyennaavanga nsanyuka okwenyumiriza olw'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gabeere mu nze.
10
Kale olwa Kristo nsanyukira obunafu, okuvumibwa, ebizibu, okuyigganyizibwa era n'ebinkaluubirira, kubanga lwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.
11
Nfuuse ng'omusirusiru, naye mmwe mumpalirizza. Mmwe mwandibadde ab'okunsiima. Kuba newaakubadde nga siriiko bwe ndi, naye abo abatume abakulu ennyo, tebalina kye bansingamu n'akatono.
12
Ebyo ebiraga nti ddala ndi mutume, byakolerwa mu mmwe mu bugumiikiriza obungi. Mwalaba ebyewuunyo, ebyamagero, n'eby'amaanyi.
13
Kale ebibiina ebirala eby'abakkiriza Kristo, bibasinza ki? Okuggyako nti nze saabazitoowerera mmwe. Munsonyiwe olw'obutaba mwenkanya mu kino.
14
Kaakano neeteeseteese okujja gye muli omulundi ogwokusatu, naye sijja kubazitoowerera. Sibanoonyaako byammwe, wabula noonya mmwe. Abaana si be basaana okuterekeranga abazadde baabwe, wabula abazadde be basaana okuterekeranga abaana baabwe.
15
Nze njija kuwaayo ebyange, era nange nneeweereyo ddala ku lwammwe, nga ndi musanyufu nnyo. Kale bwe mbaagala ennyo, mmwe musaana kunjagala katono?
16
Mukkiriza nti nze saabazitoowerera, naye mugamba nti nali mukalabakalaba, ne mbatega mu lukwe, ne mbakwasa.
17
Mu abo be nabatumira, mulimu gwe nakozesa okubalyakula?
18
Neegayirira Tito okujja gye muli, era ne ntuma owooluganda omulala awamu naye. Tito oyo ye yabalyakula? Ye nange tetwakolera mu mutima gumu? Era tetwakwata kkubo limu?
19
Obw'edda mulowooza nti twewolereza mu maaso gammwe? Abaagalwa, ffe abagoberezi ba Kristo byonna bye twogera, tubyogerera mu maaso ga Katonda olw'okubagasa mmwe.
20
Kye ntya, kwe kujja mpozzi ne mbasanga nga muli nga bwe saagala, oba mmwe okundaba nga nninga bwe mutayagala, olwo mpozzi ne wabaawo okuyombagana, obuggya, obusungu, okwefaako, okugeyaŋŋana, olugambo, okwekulumbaza, era n'okutabukatabuka.
21
Era ntya nti bwe ndijja nate, Katonda wange alintoowaza mu maaso gammwe, ne nkungubagira bangi abaakola ebibi ne bateenenya bukaba, n'obwenzi, n'obugwagwa bye baakola.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13