bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 10
2 Corinthians 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
1
Nze nzennyini Pawulo, ayogerwako nti mba mutiitiizi nga ndi nammwe ne mba wa maanyi nga siri nammwe, mbeegayirira olw'obuwombeefu n'obukkakkamu bwa Kristo.
2
Mbasaba nti bwe ndiba nga ndi nammwe, muleme kundeetera kwogeza maanyi, ge nkozesa eri abalala abalowooza nti tugoberera bya nsi.
3
Kuba newaakubadde nga tuli mu nsi, naye tetulwana ng'ab'ensi.
4
Ebyokulwanyisa byaffe mu lutalo, tebiri ng'eby'ab'ensi, wabula birina amaanyi agava eri Katonda, okusaanyaawo ebigo.
5
Tumalirawo ddala empaka era na buli ekyekulumbaza okuziyiza Katonda okumanyibwa. Era tujeemulula buli kirowoozo, kiwulire Kristo.
6
Bwe mulimala okugondera ddala, tweteeseteese okubonereza obujeemu bwonna.
7
Mulabe ebintu nga bwe biri. Omuntu bwe yeerowooza nti wa Kristo, ajjukire nti naffe tuli ba Kristo nga ye.
8
Tekinkwasa nsonyi ne bwe mba nga nsukkirizza okwetenda olw'obuyinza bwa Mukama bwe yatuwa olw'okubazimba, sso si olw'okubazikiriza.
9
Sandyagadde kuba ng'abatiisa na bbaluwa zange.
10
Abantu bagamba nti: “Ebbaluwa za Pawulo nkambwe era za maanyi, kyokka bw'abeera naffe aba munafu, era ebigambo bye binyoomebwa.”
11
Alowooza bw'atyo, ategeere nti bye tugamba mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.
12
Ffe tetwagala kwebalira mu abo abeetendereza, wadde okwegeraageranya nabo. Bwe beegeraageranya, beegeraageranya ku bo bennyini. Tebalina magezi.
13
Naye ffe tetujja kwenyumiriza nga tetuliiko kkomo. Tujja kukoma ku mirimu Katonda gye yatugerera, nga mw'otwalidde n'ogwo gwe twakola mu mmwe.
14
Nga mmwe bwe muli mu kitundu Katonda kye yatugerera, tetwakibuuka bwe twajja gye muli nga tubategeeza Amawulire Amalungi agafa ku Kristo.
15
Tetwenyumiriza lwa mulimu abalala gwe baakola ebweru w'ekitundu Katonda kye yatugerera. Wabula tusuubira nti okukkiriza kwammwe nga bwe kugenda kweyongera, era n'omulimu gwaffe mu mmwe gweyongera okugaziwa.
16
Olwo tulisobola okutuusa Amawulire Amalungi ku bantu abali mu bitundu ebiri eyo okuyisa ewammwe, nga tetwenyumiriza lwa mulimu ogukoleddwa abalala mu kitundu kyabwe.
17
Kyokka ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, “Eyeenyumiriza, yeenyumirizenga mu Mukama waffe.”
18
Omuntu eyeetenda, si ye akkirizibwa, wabula oyo Mukama gw'asiima.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13