bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 11
2 Corinthians 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
1
Nandyagadde muŋŋumiikirize mu busirusiru bwange obutono. Ddala muŋŋumiikirize.
2
Mbalinako ebbuba nga Katonda ly'abalinako, kubanga nabaleeta eri Kristo aboogereze, nga muli ng'omuwala embeerera aweebwayo eri bba omu yekka.
3
Kyokka ntya nti ng'omusota bwe gwalimbalimba Haawa olw'obukujjukujju bwagwo, ebirowoozo byammwe bijja kubakyamya, muleme okweweerayo ddala eri Kristo mu mazima.
4
Omuntu bw'ajja n'abategeeza Yesu omulala, atali oyo gwe twabategeeza, oba bwe muweebwa Mwoyo omulala, atali oyo gwe mwaweebwa, oba Amawulire Amalungi amalala, agatali ago ge mwafuna, mwanguwa okubikkiriza.
5
Ndowooza nti abo abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza n'akatono.
6
Nnyinza okuba nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye amagezi nnina, era ekyo twakibalaga mu byonna ne mu buli ngeri.
7
Bwe nabategeeza Amawulire Amalungi agava eri Katonda, sirina kye nabasasuza. Neetoowaza, mmwe mulyoke mugulumizibwe. Ekyo nakola kibi?
8
Ebibiina ebirala eby'abakkiriza Kristo nabimalako kumpi buli kantu, okufuna ebinnyamba nga nkola omulimu mu mmwe.
9
Era bwe nabanga nammwe nga neetaaga, siriiko n'omu ku mmwe gwe nazitoowerera. Abooluganda abaava mu Makedooniya bandeetera byonna bye nali neetaaga. Nali mwegendereza, era njija kwegenderezanga nneme okubazitoowerera mmwe mu ngeri yonna.
10
Ng'amazima ga Kristo bwe gali mu nze, tewali alinzigyako kwenyumiriza okwo mu Akaya yonna.
11
Lwaki? Kubanga mmwe sibaagala? Katonda amanyi nti mbaagala.
12
Njija kweyongera okukola ekyo kye nkola kaakano, ndyoke nziyize abo abeenyumiririza mu butume bwabwe, nga bagamba nti bakola nga bwe tukola.
13
Abantu ng'abo beeyita batume, sso nga si bwe bali. Bakozi ab'obukuusa, abeefuula abatume ba Kristo.
14
Era ekyo tekyewuunyisa, kubanga ne Sitaani yefuula malayika ow'ekitangaala.
15
N'olwekyo kyangu n'abaweereza be okwefuula abaweereza b'eby'obutuukirivu. Ku nkomerero baliweebwa ekibasaanira olw'ebikolwa byabwe.
16
Nziramu okugamba nti waleme kubaawo n'omu alowooza nti ndi musirusiru. Naye ne bwe mundowoozaako bwe mutyo, waakiri munzikirize mu busiru bwange nange nneenyumirizeeko akatono.
17
Kye njogera Mukama si ye akinjogeza, wabula mu kwenyumiriza kuno, nkyogera ng'omusirusiru.
18
Naye nga bwe waliwo bangi abeenyumiriza olw'eby'ensi, nange ka neenyumirize.
19
Mmwe nga bwe muli bagezi, mugumiikiriza abasirusiru.
20
Omuntu bw'abafuula abaddu oba bw'abanyaga, oba bw'abawamba, oba bwe yeekulumbaza, oba bw'abakuba mu maaso, mugumiikiriza.
21
Ka njogere nga nswadde, nti ffe ekyo tetwasobola kukikola. Naye omuntu ky'aguma okwenyumiririzaamu, (njogera ng'omusirusiru), nange ŋŋuma okukyenyumiririzaamu.
22
Bo Beebureeyi? Nange bwe ndi. Bo Bayisirayeli? Nange bwe ndi. Bo bazzukulu ba Aburahamu? Nange bwe ndi.
23
Bo baweereza ba Kristo? (Njogera ng'omulalu), nze mbasinga. Mbasinga okukola ennyo. Nsibiddwa mu makomera emirundi mingi okusinga bo. Nkubiddwa nnyo okubasinga, era emirundi mingi nabulako katono okufa.
24
Abayudaaya bankuba emirundi etaano emiggo amakumi asatu mu mwenda.
25
Emirundi esatu nakubibwa enga, era olumu nakubibwa amayinja. Eryato lyatwonoonekako emirundi esatu, ne nsula era ne nsiiba mu buziba bw'ennyanja.
26
Mu ŋŋendo zange ennyingi natuukibwako akabi mu migga, akabi ak'abanyazi, akabi ke natuusibwako ab'eggwanga lyange, n'akabi ke natuusibwako ab'amawanga amalala. Natuukibwako akabi mu kibuga, akabi mu ddungu, akabi mu nnyanja, era n'akabi akantuusibwako abooluganda ab'obulimba.
27
Nakolanga nnyo ne nkoowa. Emirundi mingi seebakanga. Nalumwanga enjala n'ennyonta, era nasiibanga emirundi mingi. Nabeeranga mu mpewo, ng'ate sirina na kye neesuulako.
28
Era okwongera ku ebyo, buli lunaku mba nzitoowereddwa okweraliikirira olw'ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo.
29
Ani aggwaamu amaanyi, ne simulumirwa? Ani akemebwa n'agwa, ne sisaalirwa?
30
Oba nga ndi wa kwenyumiriza, nja kwenyumirizanga olw'ebyo ebiraga obunafu bwange.
31
Katonda aweebwa ekitiibwa ennaku zonna, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, amanyi nga sirimba.
32
Bwe nali mu Damasiko, omufuzi eyateekebwawo kabaka Arete, yakuuma ekibuga Damasiko ankwate,
33
kyokka ne bampisa mu ddirisa, nga bantadde mu kisero, ne banzisiza ku kisenge, ne mmuwona.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13