bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 2
2 Corinthians 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
1
N'olwekyo namalirira obutakomawo eyo, nneme kuddamu kubanakuwaza.
2
Nze bwe mbanakuwaza, ani anansanyusa? Si mmwe be nnakuwaza?
3
Kyennava mbawandiikira, bwe ndijja, nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza. Nkakasa nti bwe nsanyuka, era nammwe musanyuka.
4
Nabawandiikira nga ndi mu kubonaabona kungi, nga n'omutima gujjudde obulumi, era nga nkaaba amaziga mangi. Mu kubawandiikira, saagenderera kubanakuwaza, wabula nayagala kubalaga nga bwe mbaagala ennyo.
5
Bwe wabaawo eyaleetera munne okunakuwala, teyakuleetera nze, wabula ku ludda olumu, bwe mba siyitirizza, yakuleetera mmwe mwenna.
6
Omuntu ng'oyo, ekibonerezo ekyo ky'aweereddwa abangi, kimala.
7
N'olwekyo musaanidde okumusonyiwa, n'okumugumya, aleme okunakuwala ekiyitiridde, n'okuterebukira ddala.
8
Kyenva mbeegayirira, mumulage nti mumwagala.
9
Era kyennava mbawandiikira, ndabe nga muli bawulize mu byonna.
10
Buli gwe musonyiwa, nange mmusonyiwa. Nange kye nasonyiwa, oba nga weekiri, nakisonyiwa ku lwammwe, mu maaso ga Kristo,
11
Sitaani aleme kutuzingiza, kubanga tumanyi enkwe ze.
12
Bwe natuuka mu Turoowa okutegeeza abantu Amawulire Amalungi aga Kristo, newaakubadde nasanga nga Mukama anziguliddewo oluggi,
13
omutima gwange tegwatereera, kubanga saasangayo muganda wange Tito. Kyennava nsiibula abantu baayo, ne ŋŋenda e Makedooniya.
14
Kyokka Katonda yeebazibwe, atuwanguza bulijjo olwa Kristo. Katonda ye atukozesa okumanyisa Kristo mu bantu bonna, era Amawulire Amalungi gali ng'akawoowo akasaasaanira wonna.
15
Tuli kawoowo ka Kristo, k'aweereza eri Katonda, akatuuka ku abo abalokolebwa, ne ku abo abazikirira.
16
Mu abo abazikirira, tuli kivundu kya lumbe ekireeta okufa. Naye mu abo abalokolebwa, tuli kawoowo ka bulamu, akaleeta obulamu. Kale ebyo ani abisobola?
17
Tetuli ng'abangi abo abakozesa ekigambo kya Katonda olw'okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe, kubanga twatumibwa Katonda, twogera nga tetuliimu bukuusa mu maaso ga Katonda, nga tuli mu Kristo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13