bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 4
2 Corinthians 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
1
N'olwekyo Katonda nga bwe yatusaasira, n'atuwa omulimu ogwo ogw'obuweereza, tetuterebuka.
2
Twaleka ebyo ebikolebwa mu nkukutu eby'ensonyi, n'empisa ez'obukuusa, era tetukyamya kigambo kya Katonda, wabula tulaga amazima nga bwe gali, ne tuleka buli muntu ow'omutima omulungi atulowoozeeko nga bw'alaba mu maaso ga Katonda.
3
Era oba ng'Amawulire Amalungi ge tutegeeza abantu, makweke, abo ab'okuzikirira be gakwekeddwa.
4
Be bo abatakkiriza, Sitaani omufuzi w'ensi eno be yaziba emitima, n'abaziyiza okukkiriza era n'okulaba ekitangaala ky'Amawulire Amalungi ag'ekitiibwa kya Kristo, alabirwamu ekifaananyi kya Katonda.
5
Ffe tetweyogerako, wabula tutegeeza abantu nti Kristo Yesu ye Mukama, era nti tuli baweereza bammwe olwa Kristo.
6
Katonda eyalagira ekitangaala kyake awabadde ekizikiza, ye yayaka mu mitima gyaffe okuleetera abantu ekitangaala, bamanye ekitiibwa kya Katonda, ekirabikira mu Kristo.
7
Naye ffe abali ng'ebibya eby'ebbumba, ffe tulimu ekyo eky'omuwendo ennyo, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, sso si bwaffe.
8
Tubonaabona mu buli ngeri, naye tetubulwa bwekyusizo. Tusoberwa, naye tetuggwaamu ssuubi.
9
Tuyigganyizibwa, naye tetwabulirwa. Tumeggebwa, naye tetubetentebwa.
10
Bulijjo buli we tulaga, tugenda n'okufa kwa Yesu mu mibiri gyaffe, obulamu bwe bulyoke bulabikire mu mibiri gyaffe.
11
Newaakubadde nga tuli balamu, naye bulijjo tuba mu kabi ak'okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabikire mu mibiri gyaffe egy'okufa.
12
N'olwekyo okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.
13
Nga bwe tulina omutima ogw'okukkiriza ng'ogw'oyo eyawandiika nti: “Nakkiriza, kyennava njogera,” naffe tukkiriza, era kyetuva twogera
14
nga tumanyi nti oyo eyazuukiza Mukama Yesu, naffe alituzuukiza wamu ne Yesu, n'atuleeta wamu nammwe mu maaso ge.
15
Byonna biriwo ku lwammwe, ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere okubuna mu bantu, nabo beeyongere okwebaza Katonda, n'okumuweesa ekitiibwa.
16
Newaakubadde ng'obulamu bwaffe obw'omubiri bugenda buseebengerera, naye obulamu bwaffe obw'omwoyo bufuulibwa buggya buli lunaku, kyetuva tulema okuddirira.
17
Okubonaabona kuno okutono era okw'akaseera obuseera, kututeekerateekera ekitiibwa ekinene ekitaliggwaawo, era ekitageraageranyizika.
18
Amaaso gaffe tetugatadde ku ebyo ebirabika, wabula ku ebyo ebitalabika. Ebyo ebirabika bya kaseera buseera, naye ebyo ebitalabika, bya lubeerera.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13