bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 Corinthians 6
2 Corinthians 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
1
Kale nga bwe tukolera awamu ne Katonda, tubeegayirira muleme kugayaalirira kisa Katonda kye yabakwatirwa.
2
Katonda agamba nti: “Nakuwuliriza mu kiseera eky'okusaasirirwamu, ne nkuyamba ku lunaku olw'okulokolerwako.” Laba kaakano kye kiseera eky'okusaasirirwamu, era leero lwe lunaku olw'okulokolerwako.
3
Tetwagala kukola kyesittaza muntu n'omu, sikulwa ng'omulimu gwaffe gubaako kye gunenyezebwamu.
4
Naye mu byonna tulaga nga tuli baweereza ba Katonda, nga tugumiikiriza nnyo mu kubonyaabonyezebwa, mu bitukaluubirira, ne mu kunyolwa.
5
Tukubiddwa, tusibiddwa mu makomera, tuyise mu busasamalo, tukoze emirimu, era nga tetwebaka wadde okulya.
6
Era mu butukuvu, mu kumanya, mu kugumiikiriza, mu kuba ab'ekisa, mu kuba ne Mwoyo Mutuukirivu era n'okwagala okutaliimu bukuusa, tulaga nga tuli baweereza ba Katonda.
7
Twogera amazima, era tukolera ku maanyi ga Katonda. Era obutuukirivu bye byokulwanyisa bye tulina mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono.
8
Abamu batussaamu ekitiibwa, abalala batugaya. Abamu batwogerako bubi, abalala batwogerako bulungi. Tuyitibwa balimba, sso nga twogera mazima.
9
Tuli ng'abatamanyiddwa, sso nga bonna batumanyi. Tuli ng'abafudde, sso nga tuli balamu. Newaakubadde nga tubonerezebwa, naye tetuttibwa.
10
Newaakubadde nga tunakuwazibwa, naye tuli basanyufu bulijjo. Tuli ng'abaavu, naye tugaggawaza bangi. Tuli ng'abatalina kantu, naye ddala tulina byonna.
11
Mmwe ab'e Korinto, twogedde lwatu gye muli, tetubakisizza kiri mu mitima gyaffe.
12
Ffe tetubeekwekeredde, wabula mmwe mutwekwekeredde.
13
Njogera nammwe ng'abaana bange, nammwe mube nga ffe bwe tuli eri mmwe, temutwekwekerera.
14
Temwegattanga wamu na batakkiriza, kubanga tekibasaanira mmwe. Kale obutuukirivu butabagana butya n'obujeemu? Oba ekitangaala kitabagana kitya n'ekizikiza?
15
Era Kristo atabagana atya ne Sitaani? Oba, omugoberezi wa Kristo atabagana atya n'atali mugoberezi wa Kristo?
16
Era Essinzizo lya Katonda litabagana litya n'ebyo ebitali Katonda? Ffe tuli Ssinzizo lya Katonda Nnannyinibulamu. Nga ye bw'agamba nti: “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo. Ndiba Katonda waabwe, nabo ne baba bantu bange.”
17
Era Mukama agamba nti: “N'olwekyo mubaveemu, mwawukane nabo. Era temukwatanga ku kitali kirongoofu, olwo nange ndibaaniriza mmwe.
18
Ndiba kitammwe, nammwe ne muba batabani bange ne bawala bange. Bw'atyo Mukama Omuyinzawaabyonna bw'agamba.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13