bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 1
Daniel 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
1
Mu mwaka ogwokusatu nga Yehoyakiimu ye kabaka wa Buyudaaya, Nebukadunezzari kabaka w'e Babilooni, n'alumba Yerusaalemu, n'akizingiza.
2
Mukama n'amuleka okuwamba Yehoyakiimu kabaka wa Buyudaaya, awamu n'ebintu ebimu eby'omu Ssinzizo, n'abitwala mu nsi y'e Sinaari, mu ssabo lya lubaale we, n'abiteeka mu materekero g'essabo eryo.
3
Kabaka n'alagira Asupenazi, omukulu w'abaweereza be abalaawe, alonde mu Bayisirayeli abawambe, abamu ku balenzi ab'olulyo olulangira, n'abamu ku batabani b'abakungu.
4
Yalina okulonda abavubuka abataliiko kamogo ku mibiri gyabwe, era abalabika obulungi, abagezi, era abangu okuyigirizibwa, abagunjuddwa obulungi, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Asupenazi yalagirwa abayigirize okusoma, okuwandiika, n'okwogera olulimi lw'Abakaludaaya.
5
Kabaka n'alagira nti buli lunaku babawenga emmere n'omwenge eby'oku lujjuliro lwa kabaka, babaliisenga bwe batyo okumala emyaka esatu, bwe giriggwaako, balyoke babatwale babanjule mu maaso ga kabaka.
6
Mu baalondebwa mwe mwali Daniyeli, Hananiya, Misayeli ne Azariya, bonna nga ba mu Kika kya Yuda.
7
Omukulu w'abaweereza abalaawe n'atuuma abalenzi abo amannya gano: Daniyeli n'amutuuma Belutesazzari, Hananiya n'amutuuma Saduraki, Misayeli n'amutuuma Meesaki, Azariya n'amutuuma Abedinego.
8
Naye Daniyeli n'ateesa mu mutima gwe, obuteefuula atali mulongoofu ng'alya emmere, era ng'anywa omwenge ku lujjuliro lwa kabaka, kyeyava asaba Asupenazi amuyambe.
9
Ne Katonda n'awa Daniyeli okwagalibwa n'okusaasirwa Asupenazi, omukulu w'abaweereza ba kabaka.
10
Kyokka omukulu w'abaweereza oyo, n'agamba Daniyeli nti: “Mukama wange kabaka mmutya. Ye yennyini ye yalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga. Kale singa temulabika bulungi nga bavubuka bannammwe abalala, obulamu bwange kabaka ayinza okubukolako akabi.”
11
Daniyeli n'agamba omusigire, Asupenazi gwe yakwasa ogw'okulabirira Daniyeli, Hananiya, Misayeli, ne Azariya nti:
12
“Nkwegayiridde otugezese okumala ennaku kkumi, ffe abaweereza bo, batuwenga birime byokka bye tubanga tulya, era na mazzi ge tubanga tunywa.
13
Olwo olitugeraageranya n'abavubuka abalya emmere eva ku lujjuliro lwa kabaka, olyoke osalewo eky'okukola okusinziira ku ndabika gye tuliba tulabikamu.”
14
Omusigire n'akkiriza okubagezesa okumala ennaku kkumi, nga bwe baamusaba.
15
Ennaku ekkumi bwe zaggwaako, abavubuka abo ne balabika bulungi, era nga bagevvu okusinga abavubuka abalala bonna, abaalyanga emmere eva ku lujjuliro lwa kabaka.
16
Okuva olwo, omusigire n'abaggya ku mmere ne ku mwenge gwe bandibadde banywa, n'abawa birime byokka.
17
Katonda n'awa abavubuka abo abana amagezi n'okutegeera mu bisomebwa n'ebiyigibwa byonna, ate ye Daniyeli, n'ayongerwako okutegeeranga n'okuvvuunulanga okulabikirwa era n'ebirooto.
18
Ekiseera Kabaka Nebukadunezzari kye yalagira banjulibwe gy'ali bwe kyatuuka, omukulu w'abaweereza n'abatwala, n'abamwanjulira.
19
Kabaka n'ayogera nabo, era mu bonna, n'asinga kusiimamu Daniyeli, Hananiya, Misayeli, ne Azariya. Abo abana kyebaava bafuulibwa abaweereza ba kabaka.
20
Mu buli ky'amagezi n'ekyokutegeera kabaka kye yababuuza, yalaba nga basinga emirundi kkumi abafuusa n'abalaguzi bonna ab'omu bwakabaka bwe bwonna.
21
Daniyeli n'asigala mu lubiri lwa kabaka okutuusa mu mwaka ogusooka ogwa Kabaka Kuuro.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12