bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 2
Daniel 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 3 →
1
Nebukadunezzari n'aloota ekirooto mu mwaka ogwokubiri ogw'obwakabaka bwe, ne kimweraliikiriza nnyo, ne kimubuza otulo.
2
Awo n'atumya abalaguzi, n'abafuusa, n'emmandwa, era n'abeetegereza eby'emmunyeenye, bajje bamubuulire kye yaloose. Ne bajja ne beeyanjula mu maaso ge.
3
Kabaka n'abagamba nti: “Naloose ekirooto, ne neeraliikirira nga njagala okumanya kye naloose.”
4
Abeetegereza eby'emmunyeenye ne bagamba kabaka mu lulimi Olwaramayika nti: “Wangaala, ayi Ssaabasajja! Tukwegayiridde tubuulire kye waloose, ffe abaweereza bo, tukubuulire amakulu gaakyo.”
5
Kabaka n'abaddamu nti: “Mmaliridde nti bwe mutantegeeze kye naloose era n'amakulu gaakyo, mujja kutemebwatemebwa, n'ennyumba zammwe zifuulibwe matongo.
6
Naye bwe munambuulira kye naloose, era n'amakulu gaakyo, nja kubawa ebirabo n'empeera, era mbafuule baakitiibwa nnyo. Kale mumbuulire kye naloose, era n'amakulu gaakyo.”
7
Ne baddamu omulundi ogwokubiri nti: “Ayi kabaka, tubuulire kye waloose, ffe abaweereza bo, tukubuulire amakulu gaakyo.”
8
Kabaka n'addamu nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nga mwagala kumala biseera, kubanga mulabye nga mmaliridde
9
okubabonereza mwenna awamu, bwe mutambuulire kye naloose. Mwekobaanye okulimba n'okwogera ebitali bituufu mu maaso gange, nga musuubira nti ebintu bijja kukyuka ng'ekiseera kiyiseewo. Kale mumbuulire kye naloose, ndyoke ntegeere nga muyinza n'okuntegeeza amakulu gaakyo.”
10
Abeetegereza eby'emmunyeenye ne baddiramu mu maaso ga kabaka nti: “Tewali muntu n'omu ku nsi ayinza okukola ekyo ky'osaba, ayi kabaka. Tewali kabaka, wadde omufuzi omulala ow'obuyinza ennyo, eyali abuuzizza omulaguzi, wadde omufuusa, newaakubadde oyo eyeetegereza eby'emmunyeenye, ekintu ekifaanana ng'ekyo.
11
Ekyo ky'osaba, ayi Ssaabasajja, kizibu nnyo, era tewali ayinza kukikumanyisa, okuggyako balubaale, ate balubaale tebabeera mu ffe bantu.”
12
Awo kabaka n'asunguwala nnyo, ne yeekalamula, n'alagira okutta abawi b'amagezi bonna mu Babilooni.
13
Ekiragiro ne kiyisibwa nti abawi b'amagezi bonna battibwe. Ne banoonya Daniyeli ne banne nabo okubatta.
14
Awo Daniyeli n'atuukirira Ariyooki, omukulu w'abaserikale ba kabaka, eyajja okutta abawi b'amagezi ab'omu Babilooni, n'ayogera naye n'amagezi era n'obwegendereza.
15
N'abuuza Ariyooki omukungu wa kabaka nti: “Lwaki kabaka ayanguyirizza okuwa ekiragiro ekyo?” Ariyooki n'akinnyonnyola Daniyeli.
16
Daniyeli n'agenda ne yeegayirira kabaka amuwe obudde, asobole okumutegeeza amakulu g'ekirooto.
17
Daniyeli n'addayo ewuwe, n'ategeeza Hananiya, Misayeli, ne Azariya, ebibaddewo,
18
basabe Katonda ow'omu ggulu abakwatirwe ekisa ku by'ekyama ekyo, baleme kuttirwa wamu n'abawi b'amagezi abalala ab'omu Babilooni.
19
Ekiro ekyo Daniyeli n'abikkulirwa ekyama ekyo mu kulabikirwa, n'atendereza Katonda ow'omu ggulu,
20
ng'agamba nti: “Katonda atenderezebwe emirembe n'emirembe, kubanga mugezi era wa maanyi.
21
Ye akyusa ebiseera n'obudde, ye aggyawo era ye assaawo bakabaka. Ye awa abantu amagezi, era ye abagabira okutegeera.
22
Abikkula ebikusifu era eby'ekyama. Amanyi ebiri mu kizikiza, era yeetooloddwa ekitangaala.
23
Nkwebaza, nkutendereza, ayi Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye. Otumanyisizza ekyo, kabaka kye yeetaaga.”
24
Awo Daniyeli n'agenda eri Ariyooki, kabaka gwe yali alagidde okuzikiriza abawi b'amagezi ab'omu Babilooni, n'amugamba nti: “Tozikiriza bawi ba magezi ab'omu Babilooni. Ntwala eri kabaka, nze nja kumutegeeza amakulu g'ekirooto kye.”
25
Amangwago Ariyooki n'atwala Daniyeli mu maaso ga kabaka. Ariyooki n'agamba kabaka nti: “Nzudde omu ku Bayudaaya abaanyagibwa, ajja okukutegeeza amakulu g'ekirooto kyo.”
26
Mu kuddamu, kabaka n'agamba Daniyeli, erinnya lye eddala Belutesazzari, nti: “Oyinza ggwe okuntegeeza ekirooto kye naloota, era n'amakulu gaakyo?”
27
Daniyeli n'addamu nti: “Ayi Ssaabasajja, ekyama ky'osabye, teri bawi ba magezi bayinza kukikutegeeza, wadde abafuusa, n'abalaguzi, n'abeetegereza eby'emmunyeenye.
28
Naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama. Oyo akumanyisizza, ayi Ssaabasajja Nebukadunezzari, ebiribaawo mu biseera ebijja. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwalagibwa mu kitanda kyo, bye bino.
29
“Bwe wali mu kitanda kyo nga weebase, ayi Ssaabasajja, waloota ebiribaawo, era Katonda abikkula ebyama, yakulaga ebiribaawo.
30
Naye nze, ekyama kino kimbikkuliddwa, si lwa kuba nti ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna abalamu, wabula kimbikkuliddwa olyoke omanye, ayi Ssaabasajja, amakulu g'ekirooto kyo, era otegeere ebirowoozo ebyakujjira.
31
“Watunula, ayi Ssaabasajja, n'olaba ekifaananyi ekinene, nga kiyimiridde mu maaso go. Ekifaananyi ekyo kyali kimasamasa nnyo, era nga kya ntiisa.
32
Omutwe gwakyo, gwali gwa zaabu omulungi. Ekifuba kyakyo n'emikono gyakyo, byali bya ffeeza. Olubuto lwakyo n'ebisambi byakyo, byali bya kikomo.
33
Amagulu gaakyo, gaali ga kyuma. Ebigere byakyo, ekitundu nga kya kyuma, ate ekitundu nga kya bbumba.
34
Bwe wali okyakitunuulira, ejjinja eddene ne limogoka lyokka ku lwazi, nga tewali alikutteko, ne likuba ebigere by'ekifaananyi eby'ekyuma n'ebbumba, ne libimenyaamenya.
35
Olwo ekyuma, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu, ne bimementukira wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro mu budde obw'ekyeya. Empewo ne zibitwalira ddala obutalekaawo na kalabika. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ekyo, ne lifuuka olusozi olunene, ne libuna ensi yonna.
36
“Ekyo kye kyali ekirooto. Kaakano ka tukubuulire, ayi Ssaabasajja, amakulu gaakyo.
37
Ggwe, ayi Ssaabasajja, ggwe kabaka afuga bakabaka bonna. Katonda ow'omu ggulu yakuwa obwakabaka, n'obuyinza, n'amaanyi, n'ekitiibwa.
38
Yassa mu buyinza bwo abantu, n'ebisolo, n'ebinyonyi, n'akufuula omufuzi waabyo byonna, yonna gye bibeera. Ggwe mutwe ogwa zaabu.
39
Bw'olivaawo, waliddawo obwakabaka obulala obutenkana bubwo. Era obwo buliddirirwa obwakabaka obwokusatu obw'ekikomo, obulifuga ensi yonna.
40
Obwakabaka obwokuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma ekimenyaamenya ebintu byonna ne kibijeemulula. Era ng'ekyuma bwe kibetenta ebintu byonna, nabwo bwe bulimenyaamenya ne bubetenta obwakabaka obulala bwonna.
41
Era nga bwe walaba ebigere n'obugere, ng'ekitundu kya bbumba lya mubumbi, ate ekitundu nga kya kyuma, obwakabaka obwo buliba bwawulemu. Bulibaamu ku maanyi ag'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba.
42
Obugere, ng'ekitundu bwa kyuma, ate ekitundu nga bwa bbumba, butegeeza nti obwakabaka obwo nabwo bwe buliba bwe butyo: ng'ekitundu bwa maanyi, ate ekitundu nga bunafu.
43
Era walaba ekyuma nga kitabuddwa n'ebbumba. Bwe batyo n'abafuzi b'obwakabaka obwo, baligezaako okwegattira mu kufumbiriganwa, naye tebalisobola, ng'ekyuma bwe kitasobola kwetabula na bbumba.
44
Mu mirembe gy'abafuzi abo, Katonda ow'omu ggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa emirembe gyonna. Tebuliwangulwa bantu balala, naye bulimenyaamenya, ne buzikiriza obwakabaka obulala bwonna, bwo ne bubeerawo ennaku zonna.
45
Walaba ejjinja nga bwe lyamogoka lyokka ku lusozi nga tewali alikutteko, era nga bwe lyamenyaamenya ekyuma n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu. Katonda akumanyisizza ebiribaawo gye bujja. Ekirooto kye kyo kikakafu, n'amakulu gaakyo geego, tegabuusibwabuusibwa.”
46
Awo Kabaka Nebukadunezzari n'avuunama ku ttaka, n'assaamu Daniyeli ekitiibwa. N'alagira okuwa Daniyeli oyo ekitambiro n'okumunyookeza obubaane.
47
Kabaka n'agamba Daniyeli nti: “Lubaale wammwe ye Lubaale akulira balubaale, era ye mukama wa bakabaka, era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga osobodde okubikkula ekyama ekyo.”
48
Kabaka n'alyoka afuula Daniyeli omukulu, n'amuwa ebirabo bingi nnyo, n'amuwa n'okufuga ekitundu kyonna eky'e Babilooni.
49
Daniyeli n'asaba kabaka, bw'atyo kabaka n'awa Saduraki, Mesaki, ne Abedinego obukulu mu bufuzi bw'ekitundu ky'e Babilooni. Wabula ye Daniyeli n'asigala mu lubiri lwa kabaka.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12