bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 9
Daniel 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
1
Gwali mwaka ogusooka nga Dariyo, mutabani wa Ahaswero, ye kabaka w'Abakaludaaya.
2
Mu mwaka ogwo ogusooka nga Dariyo ye kabaka, nze Daniyeli nali neetegereza ebitabo, ne ndaba ng'emyaka giriba nsanvu, ekibuga Yerusaalemu gye kirimala nga matongo, nga Mukama bwe yamanyisa Yeremiya Omulanzi.
3
Awo ne nkyukira eri Mukama Katonda, ne mmusaba nga mmwegayirira, nga nsiiba, nga nnyambala ebikutiya, era nga ntuula mu vvu.
4
Ne neegayirira Mukama Katonda wange, ne njatula nti: “Ayi Mukama Katonda, Ggwe Omukulu era ow'entiisa, Ggwe akuuma endagaano gy'oba okoze, era n'okwatirwa ekisa abo abakwagala ne bakola by'olagira,
5
twasobya, twayonoona, era twakola ebibi, twajeema, era twava ku by'otulagira, ne ku by'otukuutira.
6
Tetwawuliriza baweereza bo abalanzi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, abakulembeze baffe, ne bajjajjaffe, n'eri eggwanga lyonna.
7
Ggwe, ayi Mukama, bulijjo okola bituufu, naye ffe bulijjo twereetera okuswala, nga kwe tulimu kaakano. Ekyo bwe kiri ku ffe ffenna: abantu abali mu Buyudaaya, n'abatuuze b'omu Yerusaalemu, n'Abayisirayeli bonna abali okumpi, n'abo abali ewala mu nsi zonna gye wabasaasaanya olw'obutaba beesigwa gy'oli.
8
Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n'abakulembeze baffe abalala, ne bajjajjaffe, tuswadde, kubanga twakola ebibi ne tukunyiiza.
9
Ayi Mukama Katonda waffe, Ggwe oli wa kisa era osonyiwa, wadde nga ffe twakujeemera.
10
Tetwawuliriza by'otugamba, ayi Mukama Katonda waffe, bwe watugamba okukwatanga amateeka go ge watuwa ng'oyita mu baweereza bo abalanzi.
11
Eggwanga lyonna erya Yisirayeli lyamenya amateeka go, ne liwaba, ne ligaana okuwuliriza by'ogamba. Twayonoona ne tukunyiiza, kyewava otutuusaako, ebikolimo bye weerayirira okututuusaako, ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuweereza wo, ayi Katonda,
12
n'otuukiriza bye wagamba okukola ku ffe, ne ku bafuzi baffe. N'obonereza Yerusaalemu, okusinga ebibuga ebirala byonna ku nsi,
13
ne tuweebwa ebibonerezo byonna ebyogerwako mu mateeka ga Musa. Naye ne kaakano, ayi Mukama Katonda waffe, tetunnafaayo kukusanyusa nga tuva mu bibi byaffe, ne tussaayo omwoyo ku mazima go.
14
Kyewava otunuulira ebibi byaffe n'otubonereza, ayi Mukama Katonda waffe, kubanga bulijjo okola bituufu, naye ffe tetwawuliriza ky'otugamba.
15
“Ayi Mukama Katonda waffe, Ggwe eyalaga obuyinza bwo, bwe waggya abantu bo mu nsi y'e Misiri, era nga ne leero obuyinza bwo bukyajjukirwa, twayonoona, twakola ebitasaana.
16
Nga bw'oli ow'ekisa ekingi, nkwegayiridde, oleme kwongera kusunguwalira na kukambuwalira Yerusaalemu, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw'okwonoona kwaffe, n'olw'ebibi bya bajjajjaffe, abantu bonna mu nsi ezitwetoolodde, banyooma Yerusaalemu wamu n'abantu bo.
17
Kale kaakano, ayi Katonda waffe, wulira okusaba kwange, n'okwegayirira kwange nze omuweereza wo, kwatirwa ekisa Essinzizo lyo erirekeddwa awo ettayo, olage ekitiibwa kyo.
18
Ayi Katonda wange, tega okutu kwo owulire, zibula amaaso go olabe ebyaffe, ebyalekebwa awo ettayo, n'ekibuga ekyo ekiyitibwa ekikyo. Tukwegayiridde si lwa kuba nga twakola ebituufu, naye kubanga Ggwe oli wa kisa.
19
Ayi Mukama, wulira! Ayi Mukama, sonyiwa! Ayi Mukama, ssaayo omwoyo, okolerewo! Tolwa, olage ekitiibwa kyo. Ekibuga kino kikyo, era n'abantu bano babo.”
20
Ne nnyongera okwatula ebibi byange, n'eby'abantu bange Abayisirayeli, n'okusaba era n'okwegayirira Mukama, Katonda wange, nga mmusaba azzeewo ekitiibwa ky'Olusozi lwe Olutukuvu.
21
Bwe nali nga nkyasaba, Gabulyeli gwe nalaba mu kulabikirwa okwasooka, n'abuusibwa mangu n'antuukako, mu kiseera eky'okuweerayo ekitambiro eky'akawungeezi.
22
N'ayogera nange, n'annyinyonnyola bw'ati nti: “Ggwe Daniyeli, kaakano nzize okukutangaaza, otegeere.
23
Bwe wali waakatandika okwegayirira, n'oyanukulwa. Kaakano nzize okukumanyisa kye wayanukulwa, kubanga oli mwagalwa nnyo. Kale ssaayo omwoyo nga nkunnyonnyola, otegeere amakulu g'ebyo bye walaba mu kulabikirwa.
24
“Wiiki nsanvu, lye bbanga eriteereddwawo abantu bo n'ekibuga kyo ekitukuvu, okukomya okwonoona, n'okumalawo okukola ebibi, okusaba ekisonyiwo, n'okuteekawo obwenkanya obw'olubeerera. Olwo ebyalagibwa mu kulabikirwa, n'ebyalangibwa, biryoke bituukirire, n'Ekifo Ekitukuvu ennyo kiwongebwe, nga kifukibwako omuzigo.
25
Kale manya era otegeere ng'okuva ku kiseera ekiragiro lwe kiriweebwa okuzimba Yerusaalemu obuggya, okutuuka ku kujja kw'oyo omulangira alifukibwako omuzigo, waliyitawo wiiki musanvu, ne wiiki nkaaga mu bbiri. Yerusaalemu kirizimbibwa buggya, n'enguudo zaakyo era n'ebigo byakyo ebigumu, naye ekyo kiriba kiseera kya kubonaabona.
26
Wiiki enkaaga mu ebbiri bwe ziriggwaako, Eyafukibwako Omuzigo n'alyoka attibwa nga talina musango. Ekibuga n'Ekifo Ekitukuvu, birizikirizibwa eggye ly'omufuzi ow'amaanyi, eririjja ne lirumba. Enkomerero y'omufuzi oyo, erijja ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gujja, era walibaawo okulwanagana, okutuusiza ddala ku nkomerero. Okuzikiriza kwalagirwa.
27
Omufuzi oyo alikola n'abantu bangi endagaano ennywevu okumala wiiki emu. Mu makkati ga wiiki eyo, aliwera ebitambiro n'ebiweebwayo. Ne ku ntikko y'Ekifo Ekitukuvu, omuzikiriza alissaako ebyenyinyalwa, okutuusa enkomerero eyamutegekerwa lw'erituuka.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12