bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 11
Daniel 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 12 →
1
“Kale nze, mu mwaka ogusooka nga Dariyo Omumeedi ye kabaka, nayimirira okumugumya n'okumuzzaamu amaanyi.
2
Era kaakano ka nkutegeeze amazima: walisitukawo bakabaka abalala basatu mu Perusiya, ate owookuna alibaddirira, aliba mugagga okusinga abo bonna, era bw'alimala okufuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alipikiriza bonna okulwanyisa obwakabaka bwa Buyonaani.
3
“Olwo walisitukawo kabaka ow'amaanyi alifuga n'obuyinza obungi, era alikola nga bw'ayagala.
4
Kyokka bw'alimala okwenyweza mu buyinza, obwakabaka bwe bulimenyekawo, ne bugabanyizibwamu ebitundu bina, eky'ebuvanjuba n'eky'ebugwanjuba, eky'ebukiikakkono n'eky'ebukiikaddyo. Naye tebuliweebwa ba zzadde lye, wadde okufugibwa n'obuyinza nga ye bwe yalina, kubanga obwakabaka bwe bulisalwasalwamu, ne butwalibwa abalala abatali abo ab'ezzadde lye.
5
“Kabaka ow'ebukiikaddyo aliba wa maanyi, wabula omu ku bakungu be alifuuka wa maanyi okumusinga, n'afuga obwakabaka obugaziyiziddwa okusinga obubwe.
6
Bwe waliyitawo emyaka, balissaawo enkolagana eyaawamu. Olw'okwagala okunyweza enkolagana eyo, muwala wa kabaka w'ebukiikaddyo aligenda n'afumbirwa kabaka w'ebukiikakkono, kyokka obufumbo bwabwe tebuliwangaala. Omumbejja oyo, alittibwa, awamu n'abaweereza be bonna abaliba bagenze naye, ne bba, era ne mutabani waabwe. Mu nnaku ezo,
7
omu ku b'oluganda lw'omumbejja oyo, alifuuka kabaka ng'asikira kitaawe. Alirumba eggye lya kabaka w'ebukiikakkono, n'ayingira ekigo kya kabaka oyo ekigumu, era alibalwanyisa n'abawangula.
8
Alinyaga balubaale baabwe abakoleddwa mu bintu ebisaanuuse, era alinyaga n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, n'addayo nabyo e Misiri. Alimala emyaka nga tazzeemu kulumba kabaka w'ebukiikakkono.
9
Nga wayiseewo emyaka egyo, kabaka w'ebukiikakkono alirumba amatwale ga kabaka ow'ebukiikaddyo, wabula aliwalirizibwa okuddayo mu nsi ye.
10
Batabani be balyeteekerateekera olutalo, ne bakuŋŋaanya eggye eddene ennyo, eririjja ne lyanjaala, ne likuba abalabe, ne libayitamu, ne lituukira ddala ku kigo kyabwe ekigumu.
11
Awo kabaka w'ebukiikaddyo alisunguwala nnyo, n'avaayo n'alwanyisa kabaka w'ebukiikakkono, n'awangula eggye lya kabaka oyo eryali eddene ennyo.
12
Alyegulumiza olw'okuwangula, era alitta abantu bangi nnyo, wabula obuwanguzi bwe tebulirwawo.
13
“Kabaka w'ebukiikakkono aliddayo ewuwe, n'akuŋŋaanya eggye eddene okusinga eryasooka. Ekiseera kirituuka, nga wayiseewo emyaka, n'akomawo ng'amaliridde, ng'alina eggye ddene n'ebyokulwanyisa bingi.
14
Era mu biseera ebyo, walibaawo bangi abalisituka okulwanyisa kabaka w'ebukiikaddyo. Era abantu abamu abakambwe ab'omu ggwanga lyo, ggwe Daniyeli, balijeema okutuukiriza ebyalabibwa mu kulabikirwa, naye baliremwa.
15
Awo kabaka w'ebukiikakkono alijja n'azingiza ekibuga ekiriko ebigo ebigumu, n'akiwamba. Amagye g'ebukiikaddyo tegalisobola kumulwanyisa, newaakubadde abaserikale abasingira ddala obuzira mu go, tebaliba na maanyi gamala okumusobola.
16
Kabaka alumbye, alikola nga bw'ayagala. Tewaliba ayinza kumuziyiza. Era aliyimirira mu Nsi Eyeekitiibwa, yonna n'ebeera mu buyinza bwe, ng'ayinza n'okugizikiriza.
17
“Kabaka w'ebukiikakkono, alitegeka okweyambisa amaanyi gonna ag'obwakabaka bwe okujja okulumba. Alikola endagaano ey'emirembe ne kabaka oyo ow'ebukiikaddyo, era olw'okwagala okumusekeeterera, alimuwa n'omwana ow'obuwala okumuwasa. Kyokka n'ekyo tekirikola, era tekirimuyamba.
18
Ebyo bwe biriggwa, alikyuka n'alumba ebizinga, era aliwangula bingi. Kyokka omuduumizi w'amagye amagwira alikomya ejjoogo lye. Ddala alimujooga nga naye bwe yajooganga abalala.
19
Kabaka oyo aliddayo mu bigo ebigumu eby'omu nsi ye, kyokka aliwangulwa n'ataddayo kulabikako.
20
“Alisikirwa kabaka omulala. Kabaka oyo omulala, aliteekawo omusolooza w'omusolo alitulugunya abantu mu kubaggyako omusolo, okukuŋŋaanya obugagga mu bwakabaka bwe. Kyokka mu bbanga ttono, kabaka oyo alittibwa awatali luyombo wadde olutalo.”
21
Oyo afaanana ng'omuntu, n'ayongera okuŋŋamba nti: “Mu kifo kya kabaka oyo, waliddawo omuntu atasaanidde kuba kabaka. Oyo alijja nga tebategedde, n'afuuka kabaka, ng'ayita mu nkwe.
22
Bonna abamuwakanya, wadde Ssaabakabona akulira endagaano ya Mukama, balyerebwawo, ne bazikirizibwa.
23
Alirimbalimba ab'amawanga amalala ng'akola nabo endagaano, n'afuuka wa maanyi, wadde ng'abantu b'alina batono.
24
Ebitundu ebisinga obugagga, alibirumba nga tebitegedde, era alikola ebyo bajjajjaabe bonna bye bataakola. Aligabira abawagizi be omunyago ogw'abantu n'ogw'ebintu gw'anyaze mu lutalo. Alikola entegeka okulumba ebigo ebigumu, naye ekyo kirimala akaseera katono.
25
“Alimalirira n'obuvumu, n'akuŋŋaanya eggye ddene, okulumba kabaka w'ebukiikaddyo. Ne kabaka w'ebukiikaddyo, alitegeka eggye eddene era ery'amaanyi okulwana olutalo, kyokka taliwangula, kubanga balimusalira enkwe.
26
Era abo bennyini abalya ku mmere ye, be balimuzikiriza. Abaserikale be bangi balittibwa, eggye lye ne lisaasaana.
27
Emitima gya bakabaka abo bombi girirowooza kukolaganako bya bulabe, era buli omu alirimba munne nga batudde ku mmeeza emu. Naye kye baagala tekirituukirira, kubanga ekiseera ekyateekebwawo okuba eky'enkomerero, kiriba tekinnatuuka.
28
Kabaka w'ebukiikakkono, aliddayo mu nsi ye n'ebyobugagga bingi by'anyaze. Omutima gwe guliba gukyaye eddiini y'abantu ba Katonda. Bw'alimala okukola eby'okugiyigganya, n'alyoka addayo mu nsi ye.
29
“Aliddayo mu kiseera Katonda kye yategeka, n'azinda ensi y'ebukiikaddyo. Naye ku mulundi guno, tekiriba nga bwe kyali mu kusooka,
30
kubanga emmeeri za Kittimu zirijja okumulumba, n'atya, n'addayo emabega, n'amalira obusungu bwe ku ddiini y'abantu ba Katonda, n'agiyigganya, n'adda ku kussanga omwoyo ku abo abaleseeyo eddiini eyo.
31
Aliweereza ab'amagye, ne bajaajaamya Essinzizo, n'ekigo kyalyo ekigumu. Baliggyawo okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne bateekawo eky'omuzizo ekyenyinyalwa.
32
Alikozesa ebigambo ebiwaanawaana, okukyamiza ddala abo abaleseeyo eddiini yaabwe, naye abo abamanyi Katonda waabwe, baliguma ne beerwanako.
33
Abantu abategeevu abali mu ggwanga, baliyigiriza bangi newaakubadde balimala ekiseera nga battibwa mu ntalo, oba nga bafiira mu kwokebwa omuliro, n'abalala nga banyagibwa ne basibibwa.
34
Ng'okuttibwa kukyagenda mu maaso, abantu ba Katonda abeesigwa balifunayo ku buyambi obutonotono, wadde ng'abalibeegattako bangi baliba ba nkwe.
35
Abamu ku bantu abo abategeevu, balittibwa, naye ekirivaamu, abantu balirongoosebwa, ne batukuzibwa, ne baggyibwako buli bbala, okutuusa ekiseera eky'enkomerero, Katonda kye yategeka, lwe kirituuka.
36
“Kabaka oyo ow'ebukiikakkono, alikola nga bw'ayagala, era alyegulumiza. Alyekulumbaza nti asinga balubaale bonna, era alyogera ebitayogerekeka, ebinyooma Katonda afuga balubaale bonna. Alisobola okwongera okukola bw'atyo, okutuusa ekiseera eky'okumubonereza lwe kirituuka, kubanga ekyo Katonda kye yategeka kijja kutuukirira.
37
Kabaka oyo talissa kitiibwa mu balubaale ba bajjajjaabe, wadde mu oyo, abakazi gwe baagala. Talibaako lubaale n'omu gw'assaamu kitiibwa, kubanga alirowooza nti ye ye abasinga bonna.
38
Mu kifo ky'okussa ekitiibwa mu balubaale abo, alikissa mu lubaale w'ebigo ebigumu, bajjajjaabe gwe bataamanyaako. Alimutonera zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, era n'ebintu ebirala ebisanyusa.
39
Alikozesa abantu abasinza lubaale oyo omugwira, okukuuma ebigo bye ebigumu. Bonna abakkiriza lubaale oyo, alibongerako ekitiibwa, n'abafuula bafuzi ba bangi, era alibagabanyiza ensi okubaweera.
40
“Ekiseera eky'oluvannyuma ekya kabaka w'ebukiikakkono, bwe kiriba kinaatera okutuuka, kabaka w'ebukiikaddyo alimulumba. Ne kabaka oyo ow'ebukiikakkono, alivaayo n'amulwanyisa n'amaanyi ge gonna, ng'akozesa amagaali, n'abeebagadde embalaasi, era n'emmeeri ennyingi. Alirumba ensi nnyingi, n'ayanjaala mu zo, n'aziyitamu ng'amazzi ag'omujjuzo, n'agenda.
41
Alirumba n'Ensi Eyeekitiibwa, era alitta bangi. Naye ensi zino zirimuwona: Edomu, ne Mowaabu, n'ekitundu ekisinga obunene ekya Ammoni.
42
Bw'alirumba ensi ezo zonna, ne Misiri teritalizibwa.
43
Aliba n'obuyinza ku zaabu ne ffeeza omutereke, ne ku byobugagga ebirala ebya Misiri. Aliwangula Abalibiya, n'Abatiyopiya.
44
Naye amawulire agaliva ebuvanjuba n'ebukiikakkono galimutiisa, era alivaayo n'obusungu bungi, okuzikiriza n'okusaanyizaawo ddala abantu bangi.
45
Alisimba weema z'olubiri lwe wakati w'ennyanja zombi, ku Lusozi Olwekitiibwa olutukuvu. Kyokka alituuka ku nkomerero ye, era tewaliba amuyamba.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12