bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 7
Daniel 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
1
Mu mwaka ogw'olubereberye nga Belusazzari ye kabaka w'e Babilooni, Daniyeli n'aloota ekirooto. Ng'ali mu kirooto ekyo, n'abaako kye yalabikirwa mu mutwe gwe, nga yeebase mu kitanda kye. N'awandiika ekirooto ekyo, ng'anyumya bye yalaba.
2
Yanyumya nti: Mu kulabikirwa kwange ekiro, nalaba embuyaga eyali ekunta okuva ku njuyi zonna ennya, ng'esiikuula ennyanja ennene.
3
Ebisolo bina ebinene ne bibbulukuka nga biva mu nnyanja eyo ennene, buli kimu nga tekifaanana kinnewaakyo.
4
Ekisooka kyali kifaanana ng'empologoma, naye nga kirina ebiwaawaatiro ng'empungu. Bwe nali nkyatunula, ebiwaawaatiro byakyo ne bimaanyibwako.
5
Ne wavaayo ekisolo ekyokubiri ekyali kifaanana ng'eddubu, ng'oluuyi lwakyo olumu lusituseemu. Kyali kikutte embiriizi ssatu mu kamwa kaakyo, nga kizirumizza mannyo. Ne bakigamba nti: “Situka olye ennyama nnyingi.”
6
Bwe nali nga nkyatunula, ne wavaayo ekisolo ekirala. Kyali kifaanana ng'engo, naye nga ku mabega gaakyo, kyalina ebiwaawaatiro bina, ebyali bifaanana ng'ebiwaawaatiro by'ekinyonyi. Era kyalina emitwe ena. Ekisolo ekyo ne kiweebwa obuyinza okufuga.
7
Ebyo bwe byaggwa, era mu kulabikirwa okw'ekiro, ne ndaba ekisolo ekyokuna eky'entiisa n'ekikangabwa, era eky'amaanyi amayitirivu. Kyalina amannyo manene ate nga ga kyuma, ge kyaliisanga ne kibwebwena bye kisangirizza. Ne kirinnyirira n'ebigere byakyo buli ekiba kifisseewo. Era obutafaanana bisolo birala byonna ebyakisooka, kyalina amayembe kkumi.
8
Bwe nali nkyatunuulidde amayembe ago, ne ndaba ejjembe eddala ettono eryamera mu go, ne likuuliramu ddala amayembe amalala asatu, ku gali agaalisookawo. Ejjembe lino lyalina amaaso ng'ag'omuntu, n'akamwa akoogera eby'okwewaana.
9
Bwe nali nga nkyatunula, ne ndaba entebe ez'obwakabaka nga ziteekebwawo. Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, n'atuula. Ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviiri ze nga njeru ng'ebyoya by'endiga. Entebe ye ey'obwakabaka yali nnimi za muliro, ne nnamuziga z'entebe eyo zaali muliro ogwaka.
10
Omugga ogw'omuliro ne gukulukuta nga guva w'ali. Abantu enkumi n'enkumi baali awo okumuweereza, n'emitwalo n'emitwalo baayimirira mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa.
11
Bwe nali nga nkyatunula, ne mpulira era ebigambo eby'okwewaana, ejjembe ettono bye lyayogera. Bwe nali nkyatunula, ekisolo ekyokuna ne kittibwa, omulambo gwakyo ne gusuulibwa mu muliro, ne gwokebwa, ne guzikirizibwa.
12
N'obuyinza bw'ebisolo ebirala ne bubiggyibwako, wabula ne bikkirizibwa okusigala nga biramu okumala ekiseera ekigere.
13
Mu kulabikirwa kwe nafuna ekiro, nalaba eyafaanana ng'Omuntu, n'ajja n'ebire, n'agenda eri Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, ne bamwanjula mu maaso ge. 1:7,13; 14:14
14
Eyafaanana ng'Omuntu, n'aweebwa obuyinza, n'ekitiibwa, n'obwakabaka, abantu ab'ebika byonna n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna bamuweerezenga. Obuyinza bwe bwa mirembe gyonna, n'obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.
15
Nze Daniyeli ne nnakuwala mu mutima gwange, era ebyo bye nalaba mu kulabikirwa, ne bintiisa.
16
Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde awo, ne mmubuuza ekituufu ekifa ku ebyo byonna. Awo n'antegeeza amakulu gaabyo.
17
N'antegeeza amakulu g'ebyo byonna bye nalabikirwa nti: “Ebisolo ebyo ebinene ebina, be bakabaka bana abalibeerawo mu nsi.
18
Kyokka abantu abatukuvu b'Oyo Atenkanika, baliweebwa obwakabaka, ne buba bwabwe emirembe gyonna.”
19
Awo ne njagala okumanya ekituufu ekifa ku kisolo ekyo ekyokuna, ekyali ekyawufu ku ebyo ebirala byonna, eky'entiisa ennyo, amannyo gaakyo nga ga kyuma, n'enjala zaakyo nga za kikomo, era ekyalya ne kibwebwena bye kyasangiriza, ne kirinnyirira n'ebigere byakyo buli ekyafikkawo.
20
Era ne njagala okumanya ekituufu, ekifa ku mayembe ekkumi, agaali ku mutwe gwakyo, n'ejjembe eddala eryamera, ne likuuliramu ddala asatu. Eryo lye jjembe eryalina amaaso n'akamwa akaayogera eby'okwewaana, era eryalabika okuba eggumu okusinga gannewaalyo.
21
“Bwe nali nga nkyatunuulidde ejjembe eryo, ne lirwana n'abatukuvu ba Katonda, ne libawangula,
22
okutuusa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda lwe yajja, n'asala omusango, abantu ba Atenkanika ne bagusinga, era ekiseera ne kituuka, abatukuvu be abo ne baweebwa obwakabaka.”
23
Awo n'aŋŋamba nti: “Ekisolo ekyokuna, buliba bwakabaka obwokuna ku nsi, obutafaanana bulala bwonna, era obulifuga ensi zonna, obulizisambirira, ne buzimenyaamenya.
24
Ate amayembe ago ekkumi agaava mu bwakabaka buno, be bakabaka ekkumi abalisitukawo ne bafuga obwakabaka obwo. Walisitukawo omulala alibaddirira. Ye aliba wa njawulo ku abo, era aliggyawo bakabaka basatu.
25
Alyogera bubi ku Oyo Atenkanika, era aliyigganya abatukuvu ba Atenkanika. Aligezaako okukyusa ennaku enkulu n'amateeka, era alifugira abatukuvu ba Katonda okutuusa ekiseera, n'ebiseera, n'ekitundu ky'ekiseera lwe biriggwaako.
26
Naye walibaawo okutuula mu mbuga okusala omusango, obufuzi bwe ne bumuggyibwako, ne busaanyizibwawo.
27
Olwo obwakabaka, n'obufuzi, n'ekitiibwa eky'obwakabaka bwonna ku nsi, biriweebwa abatukuvu ba Atenkanika. Obwakabaka bw'Atenkanika buliba bwa lubeerera, n'amatwale gonna galimuweereza, era galimugondera.”
28
Ebigambo ebyo, awo we byakoma. Era nze Daniyeli, ebirowoozo byange byantiisa nnyo, ne nkyuka ne mu ndabika. Naye ebigambo ebyo ne mbikuuma mu mutima gwange.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12