bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 8
Daniel 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 9 →
1
Mu mwaka ogwokusatu nga Belusazzari ye kabaka, nze Daniyeli ne nfuna okulabikirwa, nga kuddirira kuli okwasooka.
2
Mu kulabikirwa okwo, nagenda okulaba nga ndi mu Susani, ekibuga ekiriko ekigo ekigumu, era ekiri mu kitundu ky'e Elamu. Nali nnyimiridde ku Mugga Wulaayi.
3
Bwe nayimusa amaaso, ne ndaba endiga ennume, ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga. Yalina amayembe abiri, nga mawanvu, naye erimu nga lisinga ku linnaalyo obuwanvu, era eryo erisingako obuwanvu, lye lyamera oluvannyuma.
4
Ne ndaba endiga eyo ennume, ng'etomera ebugwanjuba, n'ebukiikakkono, n'ebukiikaddyo. Ne wataba nsolo eyinza kugirwanyisa, era ne wataba ayinza kuwonya ky'eyagala kutta. N'ekolanga nga bwe yayagalanga, ne yeeraga eryanyi.
5
Bwe nali nga nkyafumiitiriza ku ekyo, embuzi ennume n'efubutuka ebuvanjuba, n'ejja misinde, nga n'ebigere byayo tebituuka ku ttaka, n'ebuna ensi yonna. Yalina ejjembe eritutunuseeyo wakati w'amaaso gaayo.
6
N'erumba endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nalaba ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga, n'egifubutukira n'amaanyi mu busungu.
7
Ne ngiraba ng'erumba endiga ennume. N'egisunguwalira nnyo, n'egitomera, n'emenya amayembe gaayo gombi. Embuzi n'ekuba endiga eyo wansi, n'egirinnyirira, ne wataba ayinza kutaasa ndiga.
8
Olwo embuzi ennume ne yeeyongera nnyo okweraga eryanyi, naye eryanyi bwe lyali likyagiwaga, ejjembe lyayo eddene ne likutukako. Mu kifo kyalyo, ne wamerawo amayembe ana agatutunuseeyo, nga gatunuulira enjuyi ennya ez'ensi.
9
Mu limu ku mayembe ago, ne muvaamu ejjembe ettono, eryafuuka ery'obuyinza ennyo, ne likakaatika obuyinza bwalyo ebukiikaddyo, n'ebuvanjuba, ne ku Nsi Eyeekitiibwa.
10
Ne lifuuka lya maanyi, ne lituuka n'okulumba eggye ery'omu ggulu. N'eby'omu ggye eryo ebimu, era n'emmunyeenye ezimu, ne libisuula wansi, ne libirinnyirira.
11
Ne lyetumbula lyenkanenkane n'Omukulu w'Eggye, ne liggyawo ekitambiro ekya buli lunaku ekyaweebwanga Omukulu w'Eggye, ne lyonoona Ekifo Ekitukuvu.
12
Ne wateekebwawo engeri y'okusinza ewakanya okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. Ejjembe ne liggyawo eddiini ey'amazima, ne lituukiriza bye lyayagala okukola.
13
Awo ne mpulira omutuukirivu omu ng'ayogera. Omutuukirivu omulala n'agamba oli eyayogera, n'amubuuza nti: “Ebyo ebirabiddwa mu kulabikirwa, biribaawo kutuusa ddi? Ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, kirimala kiseera ki nga tekinnazzibwawo? Ekibi ekyenyinyalwa kiribeerawo kutuusa ddi? Ensinza entuufu, n'Ekifo Ekitukuvu, biririnnyirirwa kutuusa ddi?”
14
N'amuddamu nti: “Birimala ebiseera akawungeezi n'enkya, enkumi bbiri mu ebikumi bisatu, Ekifo Ekitukuvu ne kiryoka kirongoosebwa.”
15
Awo nze Daniyeli, bwe namala okulaba ebyandagibwa mu kulabikirwa, ne njagala mbitegeere. Nagenda okukebuka bwe nti, nga ndaba ekyandabikira ng'omuntu.
16
Ne mpulira eddoboozi ly'omuntu, nga liva wakati w'Omugga Wulaayi, nga likoowoola nti: “Gabulyeli, tegeeza omusajja oyo amakulu g'ebyo by'alabye.”
17
N'ajja okumpi ne we nali nnyimiridde. Bwe yajja, ne ntya, ne ngwa wansi nga nneevuunise. Ye n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tegeera nga by'olabye bifa ku kiseera kya nkomerero.”
18
Awo bwe yali ayogera nange, ne ngwa nga nneevuunise, nga sikyamanyi biri na ku nsi. Kyokka n'ankwatako, n'annyimusa.
19
N'agamba nti: “Kale, nja kukutegeeza ebiribaawo ng'obusungu bwa Katonda bugenda okuggwaako. By'olabye, bifa ku kiseera ekyategekebwa okuba eky'enkomerero.
20
“Endiga ennume ebadde n'amayembe abiri, gy'olabye, bwe bwakabaka bwa Mediya ne Perusiya.
21
Embuzi ennume ey'ekikuzzi, bwe bwakabaka bwa Buyonaani, ejjembe eddene eriri wakati w'amaaso gaayo, ye kabaka omubereberye owa Buyonaani.
22
Amayembe ana agaameze mu kifo ky'eryo eryamenyese, bwe bwakabaka buna obuligabanyizibwa mu bwakabaka bwe, naye bwo tebuliba bwa maanyi ng'ag'obwakabaka obubwe.
23
“Enkomerero y'obwakabaka obwo obuna bw'eriba eneetera okutuuka, era ng'abantu bayitirizza okukola ebibi, walisibukawo kabaka atunuza obukambwe, era omukujjukujju mu kukola eby'enkwe.
24
Aliba n'obuyinza, naye tebuliba bwa maanyi ng'obwa kabaka eyasooka bali abana. Alireeta okuzikiriza okw'entiisa, alituukiriza by'ayagala okukola, era alizikiriza ab'amaanyi, n'abantu Katonda be yeerondera okuba ababe.
25
Olw'obukujjukujju bwe, alikozesa enkwe n'atuukiriza by'ayagala okukola. Alyekulumbaza, era alizikiriza bangi, nga balowooza nti bali mirembe. Era alisituka okulwanyisa Kabaka afuga bakabaka bonna. Wabula alizikirizibwa nga tewali amukutteko.
26
Era okulabikirwa okwogeddwa ku kawungeezi n'enkya, kwa mazima. Naye ggwe, ebiri mu kulabikirwa okwo, bikuume nga bya kyama, kubanga waliyitawo ekiseera kiwanvu, ne biryoka bituukirira.”
27
Olwo nze Daniyeli ne nzigwamu amaanyi, ne ndwala okumala ennaku ntonotono, n'oluvannyuma ne nva ku ndiri, ne nkola emirimu gya kabaka. Kyokka neewuunya bye nalaba mu kulabikirwa, era ne sibitegeera.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12