bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 3
Daniel 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 4 →
1
Kabaka Nebukadunezzari n'aweesa ekifaananyi ekya zaabu, mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu, ne mita kumpi ssatu obugazi, n'akiteeka mu lusenyi lw'e Duura, mu kitundu ky'e Babilooni.
2
Awo Nebukadunezzari kabaka n'alagira okukuŋŋaanya abakungu be bonna: ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi b'amagezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna aba buli kitundu, babeerewo mu kuwonga ekifaananyi ekyo, Kabaka Nebukadunezzari kye yateekawo.
3
Olwo ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi b'amagezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna aba buli kitundu, ne bakuŋŋaana olw'okuwonga ekifaananyi ekyo, Nebukadunezzari kabaka kye yateekawo, ne bayimirira mu maaso gaakyo.
4
Awo omulangirizi n'alangirira mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Mmwe, abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, mulagirwa nti
5
bwe munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, munaavuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu, Nebukadunezzari kabaka ky'ataddewo.
6
Era buli anaagaana okuvuunama n'okusinza mu kiseera ekyo, ajja kusuulibwa mangwago mu kabiga k'omuliro ogubugujja.”
7
Awo abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna bwe baawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu, Nebukadunezzari kabaka kye yateekawo.
8
Mu kiseera ekyo, Abakaludaaya abamu ne bajja ne baloopa Abayudaaya.
9
Ne bagamba Kabaka Nebukadunezzari nti: “Ayi Ssaabasajja, wangaala!
10
Ggwe wateeka etteeka, ayi Ssaabasajja, nti buli anaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, anaavuunama n'asinza ekifaananyi ekya zaabu;
11
era nti buli anaagaana okuvuunama n'okusinza, anaasuulibwa mu kabiga k'omuliro ogubugujja.
12
Waliwo Abayudaaya abamu be wateekawo okulabirira ekitundu ky'e Babilooni, amannya gaabwe Saduraki, Mesaki, ne Abedinego. Abasajja abo, ayi Ssaabasajja, bakunyooma. Tebasinza balubaale bo, wadde okuvuunamira ekifaananyi ekya zaabu kye wateekawo.”
13
Awo Nebukadunezzari n'akwatibwa obusungu n'ekiruyi, n'alagira baleete Saduraki, Mesaki, ne Abedinego. Ne babaleeta mu maaso ge.
14
N'ababuuza nti: “Mmwe, Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, ddala kituufu mugaanye okusinza lubaale wange, n'okuvuunamira ekifaananyi ekya zaabu kye nateekawo?
15
Kale kaakano, bwe munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne muvuunama ne musinza ekifaananyi kye nakola, kinaaba kirungi. Naye bwe munaagaana okusinza, amangwago mujja kusuulibwa mu kabiga k'omuliro ogubugujja. Era Lubaale ki oyo anaabawonya, n'abaggya mu buyinza bwange?”
16
Saduraki, Mesaki, ne Abedinego ne baddamu kabaka nti: “Ayi Ssaabasajja, tekitwetaagisa na kwewozaako ku nsonga eno.
17
Bwe kunaaba kusuulibwa mu muliro, Katonda waffe gwe tusinza, asobola bulungi okutuggya mu kabiga k'omuliro ogubugujja, n'okutuwonya n'atuggya mu buyinza bwo.
18
Kyokka ne bw'anaaba tatuwonyezza, manya, ayi Ssaabasajja, nga tetujja kusinza balubaale bo, wadde okuvuunamira ekifaananyi ekya zaabu kye wateekawo.”
19
Awo Nebukadunezzari n'ajjula obusungu, n'atunuuliza Saduraki, Mesaki, ne Abedinego amaaso ag'obukambwe, n'alagira bakume akabiga k'omuliro, kabugujje emirundi musanvu okusinga bwe kaali kabuguzze.
20
Era n'alagira abamu ku basinga amaanyi mu ggye lye, basibe Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, babasuule mu kabiga k'omuliro ogubugujja.
21
Abasajja abo ne basibibwa nga bali mu ngoye zaabwe: eminagiro gyabwe, n'ekkanzu zaabwe, n'eby'oku mitwe byabwe, na buli kimu kye baali bambadde, ne basuulibwa wakati mu kabiga k'omuliro ogubugujja.
22
Era kubanga kabaka yali alagidde okukuma akabiga k'omuliro kabugujje nnyo, ennimi z'omuliro ne zitta abasajja abo abaasuula Saduraki, Mesaki, ne Abedinego mu kabiga ako.
23
Abasajja abo bonsatule, Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, nga basibiddwa, ne bagwa wakati mu kabiga k'omuliro ogubugujja.
24
Awo Nebukadunezzari n'asamaalirira, n'asituka mangu, n'abuuza abakungu be nti: “Tetwasibye abasajja basatu ne tubasuula wakati mu kabiga k'omuliro?” Ne bamuddamu nti: “Bwe kiri, ayi Ssaabasajja.”
25
N'agamba nti: “Ate nga ndaba abasajja bana, nga basumuluddwa, batambulira mu muliro wakati, nga tebaliiko kabi! N'owookuna afaanana ng'omu ku balubaale.”
26
Awo Nebukadunezzari n'asembera kumpi n'omulyango gw'akabiga k'omuliro ogubugujja. N'akoowoola nti: “Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, mmwe abaweereza ba Lubaale Atenkanika, mufulume, mujje wano.” Saduraki, Mesaki, ne Abedinego ne bavaayo mu muliro.
27
Ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abakungu ba kabaka abalala bonna, ne bakuŋŋaana, ne balaba abasajja abo, omuliro be gutaakolako kabi. Enviiri zaabwe tezaayokebwako, engoye zaabwe tezaggya, era nga tebawunya bbabe lya muliro.
28
Nebukadunezzari n'agamba nti: “Lubaale wa Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, atenderezebwe. Atumye malayika we n'awonya abaweereza be bano abamwesize, ne bawakanya ekiragiro kyange nze kabaka, ne bateeka obulamu bwabwe mu kabi, baleme okusinza wadde okuvuunamira lubaale omulala yenna okuggyako Lubaale owaabwe.
29
Kale kaakano nteeka etteeka nti abantu aba buli kika, n'aba buli ggwanga, n'aba buli lulimi, abanaayogeranga obubi ku Lubaale wa Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, ba kutemebwatemebwa, n'ennyumba zaabwe zifuulibwe matongo, kubanga tewali lubaale mulala ayinza kuwonya mu ngeri eyo.”
30
Awo kabaka n'alyoka akuza Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, mu kitundu ky'e Babilooni.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12