bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 5
Daniel 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 6 →
1
Belusazzari kabaka, yagabula abakungu be lukumi ekijjulo makeke, n'anywa nabo omwenge.
2
Belusazzari bwe yanywa ku mwenge n'awoomerwa, n'alagira baleete ebikopo ebya zaabu n'ebya ffeeza, Nebukadunezzari kitaawe bye yaggya mu Ssinzizo e Yerusaalemu, ye kabaka, n'abakungu be, n'abakyala be, era ne baganzi be, babinyweremu.
3
Awo ne baleeta ebikopo ebya zaabu bye baggya mu Ssinzizo, ye nnyumba ya Katonda ey'omu Yerusaalemu. Kabaka, n'abakungu be, n'abakyala be, era ne baganzi be, ne babinyweramu.
4
Ne banywa omwenge, ne batendereza balubaale aba zaabu n'aba ffeeza, ab'ekikomo, n'ab'ekyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja.
5
Baalabira awo ng'engalo z'omukono gw'omuntu ziwandiika ku kisenge ky'olubiri lwa kabaka, mu maaso g'ekikondo ky'ettaala. Kabaka n'alaba ekitundu ky'omukono nga kiwandiika.
6
Endabika ya kabaka n'ekyuka, kabaka ne yeeraliikirira nnyo, n'akankana, n'amaviivi ge ne gakubagana.
7
N'aleekaana baleete abafuusa, n'abeetegereza eby'emmunyeenye, n'abalogo. Abagezi ab'omu Babilooni abo bwe bajja, kabaka n'abagamba nti: “Oyo anaasoma ekiwandiiko ekyo, n'antegeeza amakulu gaakyo, ajja kwambazibwa ekyambalo eky'abakungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago, ogwambalwa abakungu, era anaaweebwa ekifo ekyokusatu eky'obufuzi mu bwakabaka.”
8
Awo abawi b'amagezi bonna aba kabaka ne bayingira, naye ne batayinza kusoma kiwandiiko ekyo, wadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo.
9
Kabaka Belusazzari ne yeeyongera okutya ennyo, endabika ye n'ekyuka, abakungu be ne basoberwa.
10
Nnamasole bwe yawulira akacankalano akaali mu kisenge kabaka n'abakungu be mwe baali ku kijjulo, n'ayingira mu kisenge ekyo. N'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, wangaala! Leka kweraliikirira, na kukyuka mu ndabika yo.
11
Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo, alimu mwoyo wa balubaale abatukuvu. Ne mu mulembe gwa kitaawo, okulengera ewala, n'okutegeera, n'amagezi ng'aga balubaale, byalabikira mu musajja oyo. Ssekabaka Nebukadunezzari kitaawo, n'amufuula omukulu w'abalaguzi, n'abafuusa, n'abeetegereza eby'emmunyeenye, n'abalogo,
12
kubanga alina omutima omulungi, muntu mugezi, era mumanyirivu mu kuvvuunula ebirooto, ne mu kunnyonnyola ebikisiddwa, era n'ebintu ebizibu okumanya. Kale bayite Daniyeli oyo, ssekabaka gwe yatuuma erinnya Belutesazzari, ye anaakutegeeza amakulu g'ekiwandiiko ekyo.”
13
Awo Daniyeli n'aleetebwa mu maaso ga kabaka. Kabaka n'amubuuza nti: “Ggwe Daniyeli oyo, omu ku Bayudaaya abaanyagibwa, ssekabaka kitange be yaggya mu Buyudaaya?
14
Mpulidde bye bakwogerako, nti mwoyo wa balubaale akulimu, era ng'olina okulengera ewala, n'okutegeera, n'amagezi agatasangikasangika.
15
Abawi b'amagezi n'abalaguzi baleeteddwa wano mu maaso gange, basome ebyo ebiwandiikiddwa, era bantegeeze amakulu gaabyo, naye ne balemwa okulaga amakulu g'ebigambo ebyo.
16
Naye ggwe mpulidde bakwogerako, nti oyinza okuvvuunula amakulu agakisiddwa, n'okunnyonnyola ebizibu okumanya. Kale bw'onooyinza okusoma ebyo ebiwandiikiddwa, n'okuntegeeza amakulu gaabyo, ojja kwambazibwa ekyambalo ekya kakobe eky'abakungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwo, ogwambalwa abakungu, era obe omukulu owookusatu mu bwakabaka.”
17
Awo Daniyeli n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti: “Ebirabo byo n'empeera yo byesigalize, oba biwe mulala. Naye nze, ayi Ssaabasajja, nja kukusomera ebyo ebiwandiikiddwa, era nkutegeeze amakulu gaabyo.
18
“Ayi Ssaabasajja, Katonda Atenkanika yawa Nebukadunezzari kitaawo obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, n'obukulu.
19
Era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna baatyanga ne bakankana mu maaso ge. Yattanga gwe yayagalanga okutta, n'ataliza gwe yayagalanga okutaliza. Era yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, n'atoowaza gwe yayagalanga okutoowaza.
20
Kyokka bwe yeekuza n'akakanyaza omutima gwe, n'akola eby'okwekulumbaza, olwo n'alyoka agobebwa ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'aggyibwako ekitiibwa kye.
21
N'agobebwa n'ava mu bantu, amagezi ge ne gafuulibwa ng'ag'ensolo, n'abeeranga wamu n'entulege, n'alya omuddo ng'ente. N'asulanga ebweru, n'atoba omusulo ogumugwako, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Atenkanika ye alina obuyinza ku bwakabaka bw'abantu, era nga buli gw'aba ayagadde okubuwa gw'abuwa.
22
“Naye naawe Belusazzari, mutabani we, teweetoowazizza, newaakubadde ng'ebyo byonna wabimanya.
23
Weepankidde ku Mukama w'Eggulu, ne baleeta mu maaso go ebikopo eby'omu Ssinzizo lye, ggwe, n'abakungu bo, abakyala bo, ne baganzi bo, ne mubinyweramu omwenge, n'otendereza balubaale aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ekikomo, ab'ekyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, abatawulira, era abatategeera. Naye Katonda oyo alina obuyinza ku bulamu bwo, era abulabirira mu byonna tomusizzaamu kitiibwa,
24
kyavudde atuma ekitundu ky'omukono ne kiwandiika ebigambo ebyo.
25
“Era ebiwandiikiddwa bye bino: MENE, MENE, TEKEL, UPARSIN. ”
26
Amakulu g'ebigambo ebyo ge gano: MENE: “Katonda abaze ennaku z'obufuzi bwo, n'alaba nga ziweddeko.”
27
TEKEL: “Opimiddwa ku minzaani, n'osangibwa ng'obulako.”
28
PERES: “Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n'Abaperusi.”
29
Awo Belusazzari n'alagira ne bambaza Daniyeli ekyambalo ekya kakobe eky'abakungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, ogwambalwa abakungu, era ne bamulangirira nti ye anaabanga omukulu owookusatu mu bwakabaka.
30
Mu kiro ekyo kyennyini, Belusazzari kabaka Omukaludaaya, n'attibwa.
31
Dariyo Omumeedi, eyali ow'emyaka enkaaga mu ebiri, n'afuuka kabaka.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12