bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 12
Daniel 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
1
Malayika n'ayongera okugamba nti: “Mu nnaku ezo, Mikayeli malayika omukulu omukuumi w'abantu bo, alirabika. Era walibaawo ekiseera eky'okubonaabona okutabangawo okuva amawanga lwe gaabaawo. Mu nnaku ezo, abantu bo bonna abaliba bawandiikiddwa mu kitabo, balitalizibwa.
2
Era bangi ku abo abaafa balizuukira, abamu okwesiima mu bulamu obutaggwaawo, n'abamu okubonaabona mu nsonyi n'okunyoomebwa okw'olubeerera.
3
Abo abagezi balitangalijja ng'okutangalijja okw'omu bbanga, era abo abayigiriza abangi okukola ebituufu, balyakaayakana ng'emmunyeenye emirembe gyonna.
4
Naye ggwe Daniyeli, kuuma obubaka buno nga bwa kyama, era ekitabo okisibeko envumbo, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero. Bangi balidduka nga badda eno n'eri, era okumanya kulyeyongera.”
5
Awo nze Daniyeli, ne ntunula, ne ndaba abantu abalala babiri, nga bayimiridde ku lubalama lw'omugga, omu emitala w'eno, n'omulala emitala w'eri.
6
Omu ku bo, n'abuuza omusajja eyali ayambadde engoye enjeru, era ng'ayimiridde ku mazzi g'omugga nti: “Ebyewuunyisa ebyo, birimala bbanga ki nga tebinnaggwaawo?”
7
Awo omusajja oyo ayambadde ebyeru, era ayimiridde ku mazzi g'omugga, n'agolola waggulu emikono gye gyombi, n'alayira Oyo Omulamu emirembe gyonna. Ne mpulira ng'agamba nti: “Giriba emyaka esatu n'ekitundu. Bwe balimala okumalamu abantu ba Katonda amaanyi, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo.”
8
Ne mpulira by'ayogedde, naye ne sibitegeera. Ne ndyoka mmubuuza nti: “Ayi mukama wange, kiki ekiriva mu ebyo byonna?”
9
Ye n'aŋŋamba nti: “Daniyeli, kwata makubo go ogende, kubanga ebigambo ebyo, bya kukuumibwa nga bya kyama, era nga bisirikiddwa, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero.
10
Abantu bangi balinaazibwa, ne batukuzibwa, ne bazzibwa buggya, naye bo ababi balyeyongera kukola bibi, era ku bo tekuliba ategeera. Naye abalina amagezi, balitegeera.
11
Okuva ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku lwe kiriggyibwawo, ne wateekebwawo eky'omuzizo ekyenyinyalwa, walibaawo ennaku lukumi mu ebikumi bibiri mu kyenda.
12
Wa mukisa oyo alindirira, okutuusa ennaku olukumi mu ebikumi ebisatu mu asatu mu ettaano, lwe ziriggwaako.
13
“Naye ggwe beera mwesigwa, okutuusa ku nkomerero. Okufa olifa, naye olizuukira, n'ofuna empeera yo, mu kiseera eky'oluvannyuma.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12