bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 10
Daniel 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
1
Mu mwaka ogwokusatu nga Kuuro ye kabaka wa Perusiya, obubaka ne bubikkulirwa Daniyeli, eyatuumibwa erinnya Belutesazzari. Obubaka obwo bwali bwa mazima, era nga bufa ku lutalo olw'amaanyi. N'abutegeera, nga bumunnyonnyolerwa mu kulabikirwa.
2
Mu nnaku ezo, nze Daniyeli namala wiiki ssatu nga nkungubaga.
3
Saalyanga mmere nnungi, wadde ennyama. Saanywanga mwenge, era seesiiganga ku kazigo, okumalira ddala wiiki ezo essatu ennamba.
4
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya olw'omwezi ogusooka mu mwaka, nali nnyimiridde ku mabbali g'omugga omunene Tigiriisi.
5
Bwe nayimusa amaaso, ne ndaba omusajja ayambadde engoye enjeru, nga yeesibye mu kiwato omusipi ogwa zaabu omulungi ennyo.
6
Omubiri gwe gwali gutemagana ng'ejjinja ery'omuwendo, obwenyi bwe bwali ng'okumyansa kw'eggulu, n'amaaso ge nga gaaka ng'omuliro. Emikono gye n'amagulu ge, byali ng'ekikomo ekizigule. Nga bw'ayogera, eddoboozi lye liri ng'ery'abantu abangi.
7
Nze Daniyeli nzekka, nze nalaba omuntu oyo mu kulabikirwa okwo. Abantu abaali nange, tebaliiko kye baalaba, wabula baatya nnyo ne badduka, ne beekweka.
8
Ne nsigalawo bwomu, ne ntunuulira bino ebyewuunyisa bye nalaba mu kulabikirwa. Mu nze ne mutasigalamu maanyi n'akatono. Entunula yange n'ebijjira ddala, ng'omuntu andaba tayinza kuntegeera. Ne nnafuyira ddala.
9
Kyokka nawulira eddoboozi lye ng'ayogera. Bwe nawulira eddoboozi lye ng'ayogera, ne nzigweramu ddala akategeera, ne ngalamira ku ttaka nga nneevuunise.
10
Awo omukono ne gunkwatako, nga nzenna nkankana, ne gunfukamiza wansi, nga nsimbye ebibatu byange ku ttaka.
11
N'aŋŋamba nti: “Daniyeli, ggwe omuntu ayagalwa ennyo, ssaayo omwoyo ku bye nkugamba, era situka oyimirire. Ntumiddwa gy'oli.” Bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nnyimirira nga nkankana.
12
Awo n'aŋŋamba nti: “Daniyeli, leka kutya, kubanga okuva ku lunaku lwe watandikirako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, ne weetoowaza mu maaso g'Omutonzi wo, ensonga zo zaawulirwa, era ze zindeese.
13
Kyokka omulangira ow'obwakabaka bwa Perusiya, amaze ennaku amakumi abiri mu lumu ng'anziyizza. Wabula Mikayeli, omu ku balangira abakulu, n'ajja n'annyamba. Ne mmulekayo ng'ali wamu ne bakabaka ab'e Perusiya.
14
Kaakano nzize okukutegeeza ebiriba ku bantu bo mu nnaku ez'enkomerero, kubanga bye walaba mu kulabikirwa bya kiseera ekikyali ewala.”
15
Bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne ntunula ku ttaka, ne nnemwa okwogera.
16
Oyo afaanana ng'omuntu n'akoona ku mimwa gyange, ne ntandika okwogera. Ne ŋŋamba oyo annyimiridde mu maaso nti: “Mukama wange, okulabikirwa kuno kundeetedde okunakuwala kungi. Sisigazizzaamu twanyi n'akamu.
17
Kale nze omuddu wo, nnaayogera ntya naawe mukama wange? Sikyalimu maanyi, era n'omukka gwe nzisa, gumpweddemu.”
18
Eyali afaanana ng'omuntu, n'addamu okunkoonako, n'anzizaamu ku maanyi.
19
N'agamba nti: “Ggwe, omuntu ayagalwa ennyo, totya. Emirembe gibe naawe. Ddamu amaanyi, ogume.” Bwe yayogera nange bw'atyo, ne neeyongera okuddamu amaanyi, ne ŋŋamba nti: “Mukama wange, yogera, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”
20
N'agamba nti: “Omanyi kyenvudde nzija gy'oli? Kaakano, ŋŋenda kuddayo okulwanyisa omulangira owa Perusiya. Bwe nnaavawo, olwo omulangira wa Buyonaani anajja.
21
Naye nja kukubuulira ebyawandiikibwa mu kitabo ky'eby'amazima. Tewali mulala ankwatirako okulwanyisa abo, wabula Mikayeli omulangira wammwe.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12