bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 6
Daniel 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
1
Dariyo n'asalawo okuteekawo abafuzi b'amasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwe bwonna,
2
nga balabirirwa abakulu basatu, omu ku basatu abo nga ye Daniyeli. Kabaka Dariyo n'alagira abafuzi b'amasaza abo, banjulirenga abakulu abasatu omusolo, kabaka aleme kufiirwa.
3
Daniyeli n'asukkuluma ku bakulu banne ababiri, ne ku b'amasaza, olw'omutima omulungi gwe yalina, era kabaka yali alowooza okumuwa obwa Katikkiro mu bwakabaka bwonna.
4
Bakulu banne, n'ab'amasaza, ne bafuba okunoonya ekikyamu, mu ngeri Daniyeli gye yali alabiriramu obwakabaka, naye ne batakizuula, kubanga Daniyeli yali mwesigwa, nga talina kikyamu na kimu wadde eky'obukumpanya kyonna ky'akola.
5
Awo abasajja abo ne bagamba nti: “Tetujja kuzuula kikyamu kya kuwawaabira Daniyeli, okuggyako nga tumuwawaabira bifa ku mateeka ga Lubaale we.”
6
Awo abakulu abo n'ab'amasaza ne bajja eri kabaka nga bali wamu, ne bamugamba nti: “Kabaka Dariyo, wangaala!
7
Abakulu bonsatule mu bwakabaka, n'abamyuka baabwe, n'ab'amasaza, n'abakungu, n'ab'amagombolola, bateesezza ne bassa kimu nti ggwe, ayi Ssaabasajja, oteekewo etteeka n'ekiragiro ekinywevu nti okumala ennaku amakumi asatu, omuntu anaabaako ky'asaba lubaale, oba ky'asaba omuntu omulala yenna atali ggwe, ayi Ssaabasajja, asuulibwe mu bunnya omuli empologoma.
8
Kale kaakano, ayi Ssaabasajja, teekawo ekiragiro ekyo, oteeke omukono gwo ku kiwandiiko kyakyo kibe ekitayinza kukyusibwa, nga bwe kiri mu mateeka g'Abameedi n'Abaperusi agatajjulukuka.”
9
Awo Kabaka Dariyo n'ateeka omukono gwe ku kiwandiiko ky'ekiragiro ekyo.
10
Daniyeli bwe yamanya ng'ekiragiro kiteekeddwako omukono, n'addayo mu nnyumba ye. Amadirisa gaayo, mu kisenge kye ekya waggulu, gaggulanga nga goolekedde Yerusaalemu. N'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, era n'atendereza Katonda we, nga bwe yakolanga edda.
11
Awo abasajja abo ne bajja nga bali wamu, ne basanga Daniyeli ng'asinza, era nga yeegayirira Katonda we, nga bwe yakolanga edda.
12
Ne balyoka bagenda eri kabaka, ne boogera ku kiragiro kye yakola. Ne bagamba nti: “Tewateeka omukono gwo ku kiragiro ekigamba nti okumala ennaku amakumi asatu, buli anaabaako ky'asaba lubaale, oba omuntu omulala yenna atali ggwe, ayi Ssaabasajja, alisuulibwa mu bunnya omuli empologoma?” Kabaka n'addamu nti: “Ddala bwe kiri era ekiragiro ekyo kyakakasibwa ng'amateeka g'Abameedi n'Abaperusi bwe gali, agatajjulukuka.”
13
Awo ne bagamba kabaka nti: “Daniyeli, omu ku baanyagibwa mu Buyudaaya, akunyooma ggwe, ayi Ssaabasajja, wamu n'ekiragiro kye wassaako omukono gwo, era aliko by'asaba Lubaale we emirundi esatu buli lunaku.”
14
Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo, n'anakuwala nnyo, n'alumirwa Daniyeli, n'ayagala okumuwonya. N'amala olunaku lwonna ng'asala amagezi okumuwonya.
15
Abasajja abo, era ne baddayo eri kabaka, ne bamugamba nti: “Ayi Ssaabasajja, kimanye nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewaabenga kiragiro wadde etteeka erimala okukakasibwa kabaka, eriyinza okukyusibwa.”
16
Awo kabaka n'alagira ne baleeta Daniyeli, ne bamusuula mu bunnya omuli empologoma. Kabaka n'agamba Daniyeli nti: “Lubaale wo gw'osinza bulijjo, akuwonye.”
17
Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'obunnya, kabaka n'aliteekako akabonero ke ak'envumbo, wamu n'akabonero k'abakungu be, waleme kubaawo kikyusibwa ku kibonerezo kya Daniyeli.
18
Kabaka n'addayo mu lubiri lwe. Ekiro ekyo n'atalya ku mmere era n'atakkiriza kumuleetera bivuga eby'okumusanyusa, era n'ateebaka ku tulo.
19
Kabaka yazuukuka ku makya nnyo, era obudde bwe bwali busaasaana, n'ayanguwako, n'agenda ku bunnya omuli empologoma.
20
Bwe yatuuka ku bunnya, n'akoowoola Daniyeli mu ddoboozi ery'ennaku nti: “Ggwe Daniyeli, omuweereza wa Lubaale Nnannyinibulamu, Lubaale wo gw'osinza bulijjo yasobodde okukuwonya empologoma?”
21
Daniyeli n'addamu nti: “Ayi Ssaabasajja, wangaala!
22
Katonda wange yatumye malayika, we n'aziba emimwa gy'empologoma, ne zitankolako kabi, kubanga mu maaso ge siriiko kye nasobya, era ne mu maaso go, ayi Ssaabasajja, siriiko kabi ke nakola.”
23
Kabaka n'asanyuka nnyo nnyini, n'alagira baggye Daniyeli mu bunnya. Ne bamuggyayo, ne balaba nga taliiko kabi n'akatono, kubanga yali yeesize Katonda we.
24
Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja bali abaaloopa Daniyeli, ne babasuula mu bunnya omuli empologoma, bo, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe. Empologoma ne zibavumbagira nga tebannaba na kutuukira ddala wansi mu bunnya, ne zibabwebwena amagumba.
25
Awo Kabaka Dariyo n'awandiikira abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna ab'omu nsi yonna nti: “Emirembe gyeyongere okuba nammwe.
26
Nteeka etteeka nti mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange, abantu bonna batyenga, era bassengamu ekitiibwa Lubaale wa Daniyeli: kubanga Oyo ye Lubaale Nnannyinibulamu, anaafuganga, omunywevu emirembe gyonna. Obwakabaka bwe, bwe butalizikirizibwa, n'obuyinza bwe tebuliggwaawo.
27
Awonya era n'alokola, akola ebyewuunyo n'ebyamagero mu ggulu era ne mu nsi. Awonyezza Daniyeli okuttibwa empologoma.”
28
Bw'atyo Daniyeli oyo n'aba bulungi mu mulembe gwa Dariyo, n'ogwa Kuuro Omuperusi.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12