bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Daniel 4
Daniel 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 5 →
1
Buno bwe bubaka Nebukadunezzari kabaka bwe yaweereza abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, abali mu nsi yonna nti: “Emirembe gyeyongere okwala mu mmwe.
2
Ndowoozezza nga kirungi okubalaga ebyewuunyo n'ebyamagero, Lubaale Atenkanika bye yankolera.
3
Ebyewuunyo bye nga bikulu! Ebyamagero bye nga bya maanyi! Obwakabaka bwe bwa lubeerera, n'obufuzi bwe si bwa kuggwaawo.
4
“Nze Nebukadunezzari, nali neewummulidde mu nnyumba yange, nga ndi mirembe mu lubiri lwange,
5
ne ndoota ekirooto ekyantiisa. N'ebyo bye nalowoolereza, n'ebyanzijira mu mutwe gwange nga ngalamidde ku kitanda kyange, byanneeraliikiriza,
6
kyennava ndagira okundeetera abawi b'amagezi bonna mu Babilooni, bantegeeze amakulu g'ekirooto ekyo.
7
Awo abalaguzi, n'abafuusa, n'abeetegereza eby'emmunyeenye, n'abalogo, ne bajja ne mbalootololera ekirooto kyange, naye ne batantegeeza makulu gaakyo.
8
Naye oluvannyuma Daniyeli n'ajja gyendi. Daniyeli oyo, erinnya lye eddala ye Belutesazzari, nga lubaale wange bw'ayitibwa, era mwoyo wa balubaale abatukuvu amulimu. Kale ne mmulootololera ekirooto nti:
9
‘Ggwe Belutesazzari, omukulu w'abalaguzi, mmanyi nga mwoyo wa balubaale abatukuvu akulimu, era nga tewali kyama kikulema. Kale mbuulira bye nalaba mu kirooto kyange, era ontegeeze n'amakulu g'ekirooto ekyo.’
10
“Ebyanzijira mu mutwe gwange nga ndi ku kitanda kyange, byali bwe biti: natunula, ne ndaba omuti mu makkati g'ensi, nga mugulumivu nnyo.
11
Ne gukula ne guba gwa maanyi, ne guwanvuwa okutuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi.
12
Gwalina ebikoola birungi, n'ebibala bingi, ebimala okuliisa ensi yonna. Ebisolo byeggamanga mu kisiikirize kyagwo, n'ebinyonyi ne bisula mu matabi gaagwo. Era ebiramu byonna ebirina omubiri, ne biryanga ku muti ogwo.
13
“Mu byanzijira mu mutwe gwange nga ndi mu kitanda kyange, mwe nalabira omubaka omutukuvu akka, ng'ava mu ggulu.
14
N'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Temawo omuti ogwo, ogusonjoleko amatabi, okunkumule ebikoola byagwo, osaasaanye ebibala byagwo. Goba ebisolo bive wansi waagwo, n'ebinyonyi bive mu matabi gaagwo.
15
Naye leka ekikolo n'emirandira gyakyo mu ttaka, nga kisibiddwako olujegere olw'ekyuma n'ekikomo, mu muddo omuto. Era leka omusulo gugwe ku muntu oyo, era abeerenga wamu n'ebisolo mu ttale.
16
Omuntu oyo aggyibweko amagezi ag'omuntu, aweebwe amagezi ag'ensolo, okumala emyaka musanvu.
17
Eryo lye tteeka abakuumi abatukuvu lye bataddewo, era ekyo kye basazeewo, abantu bonna balyoke bategeere ng'Oyo Atenkanika ye afuga obwakabaka bw'abantu, era nga ye abuwa gw'ayagala, era ng'ayinza n'okubuwa oyo asingayo okuba omunafu.’
18
“Ekyo kye kirooto, nze Kabaka Nebukadunezzari kye naloota. Kale, ggwe, Belutesazzari, mbuulira amakulu gaakyo, kubanga abawi b'amagezi bange bonna ab'omu bwakabaka bwange, baalemeddwa okuntegeeza amakulu gaakyo, naye ggwe osobola, kubanga mwoyo wa balubaale abatukuvu, akulimu.”
19
Awo Daniyeli era ayitibwa Belutesazzari, n'amala akabanga ng'asobeddwa, nga yeeraliikirira olw'ebyo by'alowooza. Kabaka n'amugamba nti: “Belutesazzari, ekirooto n'amakulu gaakyo bireme kukweraliikiriza.” Belutesazzari n'addamu nti: “Mukama wange kyandibadde kirungi, ekirooto ekyo kibe ku bakukyawa, n'amakulu gaakyo gabe ku balabe bo.
20
Omuti gwe walabye, ogwakuze ne guba ogw'amaanyi, nga mugulumivu okutuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi,
21
ebikoola byagwo nga birungi, n'ebibala byagwo nga bingi, ebisobola okuliisa ensi yonna, ebisolo ne bibeera wansi waagwo, n'ebinyonyi ne bisula mu matabi gaagwo,
22
omuti ogwo ye ggwe, ayi Ssaabasajja, akuze n'oba wa maanyi, ekitiibwa kyo ne kyeyongera ne kituuka ku ggulu, n'obuyinza bwo ne bubuna mu nsi yonna.
23
“Era bwe watunudde, walabye omukuumi omutukuvu ng'akka, ng'ava mu ggulu, n'agamba nti: ‘Temawo omuti oguzikirize, naye oleke ekikolo n'emirandira gyakyo mu ttaka, nga kisibiddwako olujegere olw'ekyuma n'ekikomo, mu muddo omuto. Era leka omusulo gugwe ku muntu oyo, era abeerenga wamu n'ebisolo mu ttale, okumala emyaka musanvu.’
24
“Amakulu geego, ayi Ssaabasajja, era ekyo Oyo Atenkanika ky'alagidde kikutuukeko, mukama wange kabaka.
25
Ojja kugobebwa ove mu bantu, obeerenga wamu n'ebisolo eby'omu ttale. Ojja kumala emyaka musanvu ng'olya muddo ng'ente, era onoosulanga bweru ogwibwengako omusulo, okutuusa lw'olitegeera nga Oyo Atenkanika ye alina obuyinza ku bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa gw'aba ayagadde okubuwa.
26
Era nga bwe baalagidde okulekawo ekikolo n'emirandira gy'omuti, obwakabaka bwo bulikuddizibwa, bw'olimala okutegeera ng'Eggulu lye lifuga.
27
Kale, ayi Ssaabasajja, kkiriza amagezi ge nkuwa: mu kifo ky'ebibi by'obadde okola, kola birungi; era mu kifo ky'okwonoona, kolera abali mu bwetaavu eby'ekisa, olwo mpozzi lw'oneeyongera okuba obulungi.”
28
Ebyo byonna byatuuka ku Kabaka Nebukadunezzari.
29
Bwe waayitawo emyezi kkumi n'ebiri, yali atambula mu lubiri lw'e Babilooni,
30
n'agamba nti: “Kino si ye Babilooni kye nazimba n'amaanyi gange, era n'ekitiibwa ky'obukulu bwange, okuba olubiri lw'obwakabaka?”
31
Kabaka yali akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Obubaka buno bubwo, ggwe Kabaka Nebukadunezzari: obwakabaka bukuggyiddwako.
32
Ojja kugobebwa ove mu bantu, obeerenga wamu n'ebisolo eby'omu ttale. Ojja kumala emyaka musanvu ng'olya muddo ng'ente, okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Atenkanika ye alina obuyinza ku bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa gw'aba ayagadde.”
33
Mu kaseera ako kennyini, ebigambo ebyo ne bituukirira ku Nebukadunezzari. N'agobebwa n'ava mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, omusulo ne gugwa ku mubiri gwe, enviiri ze ne zikula okwenkana ebyoya by'empungu, n'enjala ze ne ziwanvuwa ng'ez'ebinyonyi.
34
“Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako, nze Nebukadunezzari ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, ne nziramu okutegeera, ne neebaza Oyo Atenkanika, ne mmutendereza, ne mmuwa ekitiibwa, Oyo Omulamu emirembe gyonna: kubanga obufuzi bwe bwa lubeerera, n'obwakabaka bwe bwa mirembe gyonna.
35
Abatuuze b'oku nsi bonna, ababala ng'abataliiwo. Era akola nga bw'ayagala mu ggye ery'omu ggulu, ne mu batuuze b'oku nsi. Tewali ayinza kuziyiza ky'ayagala okukola, wadde okumubuuza nti: ‘Okola ki?’
36
“Mu kiseera ekyo ne nziramu okutegeera, n'ekitiibwa kyange eky'obwakabaka, n'obukulu bwange, n'ettutumu, ne binzirira. Abakungu bange n'abaami, ne bannoonya, ne bankomyawo ku bwakabaka bwange, n'obukulu bwange ne bweyongerako n'okusinga bwe bwali edda.
37
“Kaakano nze Nebukadunezzari ntendereza, ngulumiza, era nzisaamu ekitiibwa Katonda w'Eggulu, kubanga buli ky'akola kituufu, na buli ky'asalawo kya bwenkanya.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12