bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 1
Ecclesiastes 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
1
Bino bye bigambo by'Omubuulizi eyali mutabani wa Dawudi, era nga kabaka mu Yerusaalemu.
2
Omubuulizi oyo agamba nti tewali kirimu makulu, ddala byonna temuli makulu.
3
Magoba ki omuntu g'afuna mu kutegana kwe kwonna kw'ateganira ku nsi?
4
Omulembe gugenda, omulembe omulala ne gujja, kyokka yo ensi ebeerawo ennaku zonna.
5
Enjuba evaayo, era n'egwa, ne yeeyuna okudda mu kifo kyayo gy'eva.
6
Empewo ekunta ng'edda ebukiikaddyo, n'ekyuka n'edda ebukiikakkono, ne yeetooloola ng'ekunta, n'edda gye yavudde.
7
Emigga gyonna gikulukuta giyiwa mu nnyanja, kyokka ennyanja tejjula. Emigga gye giyiwa amazzi gaagyo, era eyo gye gyongera okuyiwa.
8
Ebintu byonna bikooya, bireetera omuntu okwetamwa mu ngeri eteyogerekeka. Amaaso tegakkuta kulaba, n'amatu tegakkuta kuwulira.
9
Ebyali bibaddewo bye binaddangamu okubaawo, era ebyali bikoleddwa bye binaddangamu okukolebwa. Tewali kintu kipya ku nsi.
10
Waliwo ekintu kye bayinza okwogerako nti: “Laba kino kipya?” Tekiba kipya, kiba kyabaawo dda mu mirembe egy'edda, ffe nga tetunnabaawo.
11
Eby'edda tebijjukirwa, era n'ebyo ebirijja tebirijjukirwa abo abalibaawo nga byo bimaze okubaawo.
12
Nze Omubuulizi nali kabaka wa Yisirayeli mu Yerusaalemu.
13
Nassaayo nnyo omwoyo, ne nkozesa amagezi gange okunoonyereza n'okwetegereza byonna ebikolebwa ku nsi, ne nzuula nga byonna gwe mulimu omuzibu era omukalubo, Katonda gwe yateerawo abantu.
14
Natunuulira emirimu gyonna egikolebwa ku nsi, ne ndaba nga gyonna gikooyeza bwereere, era okugikola, kuba nga kugoba mpewo ogikwate.
15
Ekikyamye tekiyinza kugololwa, n'ebitaliiwo tebiyinza kubalibwa.
16
Nalowooza mu mutima gwange nti: “Nfuuse muntu waakitiibwa nnyo, era omugezi okusinga bonna abansooka okufuga mu Yerusaalemu. Ddala nfunye amagezi mangi era n'okutegeera.”
17
Nassaayo nnyo omwoyo okumanya ebifa ku magezi, n'okumanya ebifa ku ddalu n'obusiru, ne ndaba nga nabyo kuba nga kugoba mpewo ogikwate.
18
Kubanga gy'okoma okuba n'amagezi amangi, gy'okoma n'okusoberwa, era gy'okoma okumanya ebingi gy'okoma n'okunyolwa.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12