bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 4
Ecclesiastes 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 5 →
1
Bwe nava ku ebyo, ne ndowooza ku butali bwenkanya obuli mu nsi. Abanyigirizibwa bakaaba amaziga, ne batafuna abayamba. Tebafuna abayamba, kubanga abo ababanyigiriza be bali mu buyinza.
2
Ekyo kyandeetera okulowooza nti abafu abaafa edda, beesiimye okusinga abo abakyali abalamu.
3
Naye eyeesiimye okusinga abo ab'emirundi egyo gyombi, ye oyo atabangawo, atalabanga bibi ebikolebwa ku nsi.
4
Era nalowooza ku kikozesa abantu emirimu: bakola nnyo kubanga beegomba okufuna ebirungi ebiri ng'ebya bannaabwe, oba n'ebisingawo. Naye n'ekyo temuli makulu, era kiri nga kugoba mpewo ogikwate.
5
Omusiru azinga emikono, ne yessa enjala.
6
Okufuna ebijjuza olubatu olumu ng'olina emirembe, kisinga okufuna ebijjuza embatu ebbiri ng'otegana, ng'oli ng'agoba empewo ogikwate.
7
Awo ne nziramu okulowooza ku birala ebitaliimu mugaso ku nsi.
8
Wabaawo omuntu abeera yekka nga talina mwana wadde owooluganda, sso ng'akola obutaweera, era nga tamatira na bugagga bw'alina. Kale mba nteganira ani okwenkana awo, ne nemma okusanyukako? Kino nakyo tekiriimu makulu, era kwerumya bwerumya!
9
Abantu ababiri basinga omuntu omu, kubanga bwe bakolera awamu, bayambagana.
10
Bwe bagwa, omu ayamba munne okuyimuka. Naye omuntu bw'aba yekka, n'agwa, ziba zimusanze, kubanga tewaba amuyamba kuyimuka.
11
Mu budde obw'empewo, ababiri bwe beebaka awamu mu buliri, babuguma; naye omu yekka ayinza atya okubuguma!
12
Abantu ababiri basobola okulwanyisa omulabe eyandiwangudde omuntu omu ng'alwana yekka, n'omuguwa ogw'emiyondo esatu si mwangu kukutula.
13
Omuvubuka omwavu naye nga mugezi, asinga kabaka omukadde atalina magezi era atakyayagala kubuulirirwa.
14
Omuntu ayinza okuzaalibwa mu nsi ye nga mwavu oba okuva mu kkomera, n'afuuka kabaka.
15
Nalaba abantu bonna ku nsi nga bali wamu n'omuvubuka omulala eyadda mu bigere bya kabaka.
16
Kabaka ayinza okuba n'abantu abangi b'afuga, naye bw'akisa omukono, tewali ajjukira birungi bye yakola. Kino nakyo tekiriimu makulu, era kiri nga kugoba mpewo ogikwate.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12