bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 9
Ecclesiastes 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
1
Ebyo byonna nabirowooza ne mbyetegereza, ne ndaba nga Katonda ye afuga abantu abalungi n'abagezi era ne bye bakola, kyokka nga tebayinza kusinziira ku bibatuukako kumanya ng'abaagala, oba nga tabaagala.
2
Ebituuka ku bantu bonna bye bimu awatali kusosolamu: bituuka ku beegendereza ne ku boonoonyi, ku balungi, ku abo abafaayo okwenenya ebibi byabwe, ne ku abo abatafaayo kubyenenya, ku bawaayo ebitambiro ne ku batawaayo bitambiro. Omuntu omulungi n'atali mulungi, oyo alayira n'oyo atya okulayira, bonna baba kye kimu.
3
Ekibi ekiri mu byonna ebikolebwa ku nsi, kwe kuba nti ekintu kye kimu ekituuka ku bonna kyenkanyi. Era emitima gy'abantu bonna abalamu gijjudde ebibi n'eddalu, n'ekiddirira kufa.
4
Naye buli akyali omulamu, aba n'essuubi, kubanga n'embwa ennamu esinga empologoma enfu.
5
Weewaawo abalamu bamanyi nga balifa, naye bo abafu tebaliiko na kye bamanyi. Baba tebakyalinayo na mpeera, kubanga baba tebakyajjukirwa.
6
Okwagala kwabwe, n'okukyawa kwabwe, n'okwegomba kwabwe, biba olwo tebikyaliwo, era baba tebakyaddayo kwetaba mu kintu na kimu ekikolebwa ku nsi.
7
Genda olye emmere yo ng'osanyuka, onywe omwenge gwo ng'ojaguza, kubanga Katonda amaze okusiima by'okola.
8
Ebyambalo byo bibenga biyonjo bulijjo, era tolemanga kwesiiga kazigo mu maaso n'onyirira.
9
Omukazi gw'oyagala sanyukanga naye ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu makulu, Katonda bw'akuwadde ku nsi, kubanga ogwo gwe mugabo mu bulamu bwo, ne mu kutegana kwo kwoteganamu ku nsi.
10
Buli mulimu gw'okola, gukole n'amaanyi go gonna, kubanga emagombe gy'ogenda, tewaliba kukola, wadde okulowooza, tewaliba kumanya, wadde amagezi.
11
Era neetegereza ne ndaba nga ku nsi kuno, abawenyuka ennyo emisinde, si be bawangula empaka z'okudduka; ab'amaanyi, si be bawangula olutalo; n'abagezi si be bafuna ebibayimirizaawo; n'abategeevu, si be bafuna obugagga; era n'abalina obumanyirivu, si be bafuna emirimu egya waggulu. Naye omukisa n'ebiseera ebigwawo, bonna bibagwako bugwi,
12
kubanga omuntu tamanya kiseera kye we kituukira. Ng'ebyennyanja bwe bikwatibwa mu katimba, era ng'ebinyonyi bwe bikwatibwa mu mutego, n'abantu bwe bakwatibwa bwe batyo mu kiseera ekibi nga tebakirindiridde.
13
Era n'ekyokulabirako kino kye nafuna ku nsi, ekyogera ku magezi, nalaba nga kikulu.
14
Waaliwo ekibuga ekitono, era n'abatuuze baamu nga si bangi, kabaka ow'amaanyi n'akirumba. N'akizingiza, n'ategekawo ebinaamenya ebisenge byakyo.
15
Mu kibuga ekyo, mwalimu omusajja omwavu, naye nga mugezi. N'akozesa amagezi ge n'awonya ekibuga ekyo, kyokka ne wataba ajjukira musajja oyo omwavu.
16
Kale ne ŋŋamba nti weewaawo amagezi gagasa okusinga amaanyi, naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, n'ebigambo bye tewaba abiwuliriza.
17
Ebigambo abagezi bye boogera ekimpoowooze, biwulirizibwa okusinga eby'omufuzi w'abasiru aleekaana.
18
Mu lutalo, amagezi gagasa okusinga ebyokulwanyisa, naye n'omuntu omu bw'ati bw'akola ensobi, azikiriza ebirungi bingi.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12