bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 7
Ecclesiastes 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
1
Erinnya eddungi lisinga omuzigo ogw'akawoowo, n'olunaku omuntu lw'afiirako, lulungi okusinga lw'azaalibwa.
2
Okuyingira mu nnyumba mwe bakungubagira afudde, kisinga okuyingira mu nnyumba mwe bagabulira obugenyi, kubanga okufa ye nkomerero ya bonna, era kirungi abalamu okugirowoozangako.
3
Okulaba ennaku kugasa okusinga okusanyuka, kubanga ennaku ebangula omutima gw'omuntu.
4
Omuntu omugezi afuna ekiseera okulowooza ku nnaku ye, naye omusiru yeemalira mu binyumu.
5
Okunenyezebwa abagezi kusinga okutendebwa abasiru,
6
kubanga enku ez'amaggwa nga bwe zitulikira mu kyoto wansi w'entamu, n'okuseka kw'omusiru bwe kutyo bwe kuba: tekubaamu makulu.
7
Okunyigiriza abantu, omugezi kumufuula musiru, n'enguzi emalamu omuntu okutegeera.
8
Ekintu ekiwedde obulungi, kisinga ekitandika obutandisi, n'omugumiikiriza asinga omwekuza.
9
Toyanguwanga kusunguwala, kubanga omusiru ye abeera n'obusungu.
10
Tobuuzanga nti: “Lwaki ebiseera ebyayita byali birungi okusinga bino ebiriwo kati?” Ekyo si kibuuzo kya magezi.
11
Amagezi malungi ng'okusikira ebintu, era abalamu bonna gabagasa,
12
kubanga amagezi kigo ekikuuma omuntu ng'ensimbi bwe zimukuuma. Naye okumanya kyekuva kusinga omugaso, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.
13
Lowooza ku ebyo Katonda bye yakola. Ani ayinza okugolola ekyo ye kye yaweta?
14
Ebintu lwe bigenze obulungi, sanyuka; ate lwe bigenze obubi, manya nga Katonda ye ataddewo ebyo byombi, abantu baleme kutegeera bigenda kubaawo.
15
Bino byombi mbirabidde mu bulamu bwange obutaliimu makulu: abantu abalungi bafa mangu, ate ababi ne bawangaala.
16
N'olwekyo toyitirizanga kuba mulungi, wadde omugezi. Kale oba wettira ki?
17
Wabula era toyitirizanga kuba mubi wadde omusiru, oleme kufa ng'ekiseera kyo tekinnatuuka.
18
Kirungi weefugenga mu ebyo byombi, kubanga oyo atya Katonda, talema kubyewala.
19
Alina amagezi, gamufuula wa maanyi okusinga abafuzi kkumi abali mu kibuga.
20
Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere, n'atayonoona.
21
Tossangayo mwoyo ku buli kimu abantu kye boogera, sikulwa ng'owulira n'omuddu wo ng'akwekokkola,
22
kubanga omanyi bulungi nga naawe emirundi mingi weekokkola abalala.
23
Ebyo byonna nabigezesa nga nkozesa amagezi gange, ne ŋŋamba nti: “Mmaliridde okuba omugezi.” Naye amagezi ne sigatuukako.
24
Buli ekiriwo, kisukkiridde amagezi gaffe. Tetuyinza kukitegeerera ddala kukimalayo. Ani ayinza okukinoonyerezaako, n'akikomekkereza?
25
Nneemalira ku kunoonya, n'okwekkaanya, n'okumanya amagezi, n'okutegeera ebintu nga bwe biri, era n'okumanya ng'okuba omubi kya busiru, era ng'obusiru ddalu.
26
Era nalaba ekikakali okusinga olumbe kattira: ye mukazi. Okwagala kw'akulaga, kukukwata ng'omutego oba ng'ekitimba. Emikono gye gy'akuwambaatiza, gikusiba ng'enjegere. Oyo akola ebyo Katonda by'asiima, ye aliwona omukazi, kyokka oyo atali mwegendereza, aliwambibwa.
27
Omubuulizi agamba nti: “Ekyo nakituukako nga nkubaganya nzekka ebirowoozo, okuzuula ekituufu.”
28
Kye nayagala okumanya, naye nga sinnakizuula kye kino: mu bantu olukumi, nalabamu omusajja omu asaanira, naye mu abo bonna, omukazi simulabangamu.
29
Wabula kino kyokka kye nalaba: Katonda yatonda abantu nga batereevu, naye bo ne beegunjirawo obukyamu obwa buli ngeri.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12