bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 11
Ecclesiastes 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 12 →
1
Beeranga mugabi, osuulenga emmere yo ku mazzi, nga wayise ekiseera, erikuddizibwa.
2
Ku bintu byo gabirangako abantu bangi, nga musanvu oba munaana, kubanga tomanyi kabi kayinza kukutuukako ku nsi.
3
Ebire bwe bikwata ne bifuuka amatondo g'amazzi, ng'olwo enkuba etonnya ku nsi. N'omuti bwe gugwa okwolekera ebukiikaddyo oba ebukiikakkono, mu kifo we gugwa, mwe gubeera.
4
Alinda embuyaga n'embeera y'obudde bimale kutereera, talisiga, era talibaako ky'akungula.
5
Nga bw'otoyinza kumanya kkubo mpewo ly'eyitamu, wadde okumanya amagumba bwe gakulira mu nda y'omukazi ali olubuto, era bw'otyo bw'otoyinza kumanya ebyo byonna Katonda by'akola.
6
Siganga ensigo zo ku makya, era nga n'olweggulo toddirira, kubanga tomanyi oba z'osize ku makya, oba z'osize olweggulo ze ziriba n'omukisa, oba ng'ez'emirundi gyombi ziryenkana okuba ennungi.
7
Ekitangaala kirungi, era omuntu okulaba enjuba asanyuka.
8
Omuntu bw'awangaala emyaka emingi, asaanye agisanyukirengamu gyonna, wabula ajjukire nti ennaku ez'ekizikiza ky'alibeeramu ng'afudde, ziriba nnyingi. Byonna ebijja temuli makulu.
9
Kale omuvubuka, sanyukiranga mu buvubuka bwo, weeyagalenga ng'okyali muvubuka. Kolanga byonna by'oyagala okukola, era weetuusengako ebyo byonna omutima gwo bye gwegomba. Kyokka tegeera nga Katonda alikusalira omusango olw'ebyo byonna.
10
Kale weggyengako ebikweraliikiriza mu mwoyo, n'ebikuleetera obulumi mu mubiri, kubanga obuto n'obuvubuka buyita luwunguko.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12