bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 12
Ecclesiastes 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
1
Kale jjukiranga Omutonzi wo ng'okyali muvubuka, ennaku enzibu nga tezinnatuuka, n'emyaka nga teginnatuuka mw'oligambira nti: “Sikyanyumirwa bulamu.”
2
Ekiseera ekyo bwe kirimala okutuuka, olwo oliraba enjuba, n'ekitangaala, n'omwezi, n'emmunyeenye, nga bizimedde, ebire ne bikomawo enkuba ng'ekedde.
3
Emikono gyo egibadde gikutaasa, girikankana. Amagulu go kati ag'amaanyi, galinafuwa. Amannyo olisigazaamu matono, nga tokyasobola na kugaaya mmere, n'amaaso go galiba tegakyasobola kulaba bulungi.
4
Amatu go, galiba tegakyasobola kuwulira abaleekaanira mu nguudo, wadde okuwulira okusa kw'olubengo era n'amaloboozi g'abantu abayimba, wabula n'akanyonyi akayimba, kalikuzuukusa mu tulo.
5
Olitandika okutya okulinnya obusozi, era onookaluubirirwanga okutambula. Ng'omutwe gwo gumaze okutukula envi, onoowuliranga nga n'amagulu gakuzitoowerera okusitula, owalula mawalule, era oliba tokyaliko kye weegomba kulya. Olwo omuntu ng'agenda mu kiwummulo kye eky'olubeerera, era n'amakubo nga galeeta abakungubazi!
6
Omuguwa ogwa ffeeza guliba gukutuse, n'ettaala eya zaabu eriba egudde n'eyatika. Era n'omuguwa ogusibwako ensuwa esena mu luzzi guliba gukutuse, n'ensuwa ng'eyatiseyatise.
7
Olwo omubiri gulidda mu ttaka mwe gwava, n'omwoyo ne gudda ewa Katonda eyagugaba.
8
Omubuulizi agamba nti: “Tewali kirimu makulu, ddala byonna temuli makulu!”
9
Kyokka omubuulizi nga bwe yali mugezi, yeeyongera okuyigirizanga abantu ebyo bye yali amanyi. Yawulirizanga nnyo nga boogera engero, n'azeetegereza, n'atereeza nnyingi.
10
Yagezaako okuwandiika ebigambo ebinyuma, kyokka nga bituufu era nga bya mazima.
11
Ebigambo by'abagezi, biri ng'omuggo omusongovu omusumba gw'agobesa ensolo ze. Ebigambo ebyo, omusumba abigaba ali omu, era bwe bikuŋŋaanyizibwa awamu, biba ng'emisumaali egikomereddwa obulungi.
12
Mwana wange waliwo n'ekirala ky'osaanidde okulabukamu: okuwandiika ebitabo tekukoma, naye okusoma okusukkiridde kukooya omubiri.
13
Ebigambo byange bikomye awo, era byonna obiwulidde. Ossangamu Katonda ekitiibwa, era ogonderanga ebiragiro bye. Ekyo buli muntu ky'ateekwa okukola,
14
kubanga Katonda alisala omusango ogwa buli kintu kye tukola, omuli na buli ekikolebwa mu nkiso, ka kibe kirungi oba kibi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12