bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 8
Ecclesiastes 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 9 →
1
Ani yenkana omugezi? Oba ani amanyi okunnyonnyola amakulu g'ebintu? Amagezi ganyiriza entunula y'omuntu, n'obunyiikaavu bwe bwonna ne buggwaawo.
2
Nze ŋŋamba nti gonderanga ekiragiro kya kabaka, kubanga bw'otyo bwe walayirira Katonda.
3
Toyanguyirizanga kweggya ku kabaka, era tobeeranga ku ludda lwa bamuwakanya, kubanga kabaka ayinza okukola buli ky'ayagala.
4
Kabaka ky'alagira, tekiddibwamu, era tewali ayinza kumubuuza nti: “Lwaki olagidde bw'otyo?”
5
Abagondera ekiragiro kye, tebatuukibwako kabi, era omuntu omugezi, amanya obudde obutuufu, n'engeri esaanira okukituukiririzaamu.
6
Kubanga buli kintu kiba n'ekiseera kyakyo ekituufu okukikoleramu, newaakubadde ng'omuntu aba n'obuzibu bungi,
7
kubanga tamanya bigenda kubaawo, era tewali ayinza kumutegeeza we biribeererawo.
8
Tewali muntu alina buyinza kwesigaliza bulamu bwe, era tewali alina buyinza kusalawo lunaku lw'alifiirako. Ng'olutalo bwe lutaganya muntu kuluvaamu, n'ekibi bwe kityo tekita oyo akyewadde.
9
Ebyo byonna nabiraba nga ndowoolereza ku byonna abantu bye bakola ku nsi, nga ndaba abantu bwe bafugisa bannaabwe obukambwe ne babalumya.
10
N'ekirala, abantu ababi, kyokka abaagendanga emirundi emingi mu Kifo Ekitukuvu, nalaba nga baziikibwa mu kitiibwa era nga tebajjukirwa nti baali babi mu kibuga kyennyini mwe baakoleranga eby'effujjo. Kale n'ekyo tekiriimu makulu.
11
Ekibonerezo ekisalirwa akoze ekikolwa ekibi bwe kitaweebwa mangu, abantu beeyongerera ddala okukola ebibi.
12
Omwonoonyi newaakubadde akola ebibi emirundi kikumi n'awangaala nnyo, kyokka era mazima mmanyi ng'abatya Katonda, abamussaamu ekitiibwa, be banaabeeranga obulungi.
13
Naye omubi taabenga bulungi, era obulamu bwe, bunaayitanga mangu nga kisiikirize.
14
Waliwo era ekirala ekitaliimu makulu ekibaawo ku nsi: abantu abalungi okuweebwa ekibonerezo ekyandiweereddwa abakoze ebibi, n'abantu ababi okuweebwa empeera eyandiweereddwa abakoze ebirungi. Ekyo nakyo ŋŋamba nti tekiriimu makulu.
15
N'olwekyo nsemba okwesanyusa, kubanga omuntu talina kirungi kirala ku nsi, okuggyako okulya, n'okunywa, n'okusanyuka, kubanga eryo, lye ssanyu ly'alibeera nalyo mu kutegana kwe, ekiseera kyonna eky'obulamu bwe, Katonda bw'amuwa ku nsi.
16
Bwe nafuba ennyo okufuna amagezi, n'okumanya emirimu gyonna egikolebwa ku nsi, nalaba ng'omuntu ayinza okumalako olunaku n'ekiro kyonna nga teyeebase,
17
n'atasobola kutegeera ebyo byonna Katonda by'akola. Ne bw'ategana atya okunoonyereza, tayinza kubizuula. Abantu abagezi bayinza okugamba nti babimanyi, naye mu mazima tebabimanyi.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12