bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 3
Ecclesiastes 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 4 →
1
Buli kintu ekibeerawo ku nsi, kiba n'obudde bwakyo, na buli ekikolebwa, kiba n'ekiseera kyakyo ekituufu.
2
Ekiseera eky'okuzaalirwamu, n'ekiseera eky'okufiiramu; ekiseera eky'okusimbiramu n'ekiseera eky'okusimbuliramu
3
ekiseera eky'okuttiramu n'ekiseera eky'okuwonyezaamu; ekiseera eky'okumenyeramu, n'ekiseera eky'okuzimbiramu;
4
ekiseera eky'okukaabiramu amaziga, n'ekiseera eky'okusekeramu; ekiseera eky'okukungubagiramu, n'ekiseera eky'okuziniramu;
5
ekiseera eky'okusaasaanyizaamu amayinja, n'ekiseera eky'okukuŋŋaanyizaamu amayinja; ekiseera eky'okugwiramu mu kifuba, n'ekiseera eky'obutagwiramu mu kifuba;
6
ekiseera eky'okuzuuliramu, n'ekiseera eky'okubulirwamu, ekiseera eky'okukuumiramu ekintu, n'ekiseera eky'okusuuliramu ekintu;
7
ekiseera eky'okuyulizaamu, n'ekiseera eky'okutungiramu; ekiseera eky'okusirikiramu, n'ekiseera eky'okwogereramu;
8
ekiseera eky'okwagaliramu, n'ekiseera eky'okukyayiramu; ekiseera eky'olutalo, n'ekiseera eky'emirembe.
9
Magoba ki omuntu g'afuna mu by'ateganira?
10
Nalaba okutegana Katonda kwe yateerawo abantu okuteganangamu.
11
Yakola buli kintu, nga kigya bulungi mu kiseera kyakyo. Abantu yabateekamu omutima ogwagala okumanya ebyaliwo, n'ebiriwo, n'ebiribaawo, kyokka n'atabawa kumanya ye Katonda by'akola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero.
12
Mmamyi nga tewali kigasa muntu okusinga okusanyuka n'okukola ebirungi ennaku zonna ez'obulamu bwe.
13
Era omuntu okulya n'okunywa n'okusanyukira mu birungi by'ateganidde, kiba kirabo kya Katonda.
14
Mmanyi nga buli kintu Katonda ky'akola, kibeerawo ennaku zonna, era tewali kiyinza kukyongerwako, wadde okukikendeezebwako. Katonda yakola bw'atyo, abantu balyoke bamussengamu ekitiibwa.
15
Ebiriwo byali bibaddewo, era n'ebiribaawo byali bibaddewo edda. Katonda alagira ebyali bibaddewo ne biddamu okubaawo.
16
Era nalaba nga ku nsi awandibadde amazima n'obwenkanya, wabeerawo bikolwa bibi.
17
Ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Katonda alisalira abalungi n'ababi omusango, kubanga buli kintu na buli kikolwa kiba n'ekiseera kyakyo.
18
Ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Katonda ageza abantu, alyoke abalage nti nabo bennyini bali ng'ebisolo,
19
kubanga ekituuka ku bantu kye kimu ekyo era ekituuka ku bisolo. Ng'ensolo bw'efa, n'omuntu bw'atyo bw'afa, era omukka omuntu gw'assa, n'ensolo gw'essa, ne kiraga nti omuntu talina nkizo ku nsolo, era obulamu bw'omuntu n'obw'ensolo tebuliimu makulu.
20
Byombi, omuntu n'ensolo, bidda mu kifo kye kimu: mu nfuufu mwe byava. Byava mu nfuufu, era bigenda kudda mu nfuufu.
21
Ani amanyi oba ng'omwoyo gw'omuntu gwambuka waggulu, ate nga ogw'ensolo gwo gukka wansi mu ttaka?
22
N'olwekyo, neetegerezza ne ndaba ng'ekisinga obulungi, omuntu kwe kusanyukira mu ebyo by'akoze, kubanga eyo ye mpeera ye, kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo, ye ng'amaze okuvaawo?
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12