bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 2
Ecclesiastes 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 3 →
1
Nalowooza mu mutima gwange nti: “Kale nno ka ngezeeko ebinyumu, nneesanyuse.” Naye ne ndaba nga n'ekyo temuli makulu.
2
Nagamba nti: “Okudda awo okusekereza, ddalu jjereere, n'amasanyu tegalina kalungi kagavaamu.”
3
Era mu kunoonya amagezi, aganaaluŋŋamya omutima gwange, nalowooza ku ky'okwesanyusa nga nnywa omwenge, mmalirewo ebiseera byange, nga ndowooza nti oboolyawo ekyo abantu kye bagwanira okukola ku nsi ennaku zonna ez'obulamu bwabwe.
4
Neekolera ebintu ebikulu: nazimba amayumba, nasimba ennimiro z'emizabbibu.
5
Nalima ensuku n'ennimiro, ne nsimbamu emiti egy'ebibala ebya buli ngeri.
6
Nasima ebidiba by'amazzi okufukiriranga ekibira mwe gyasimbibwa.
7
Nagula abaddu n'abazaana, era n'abamu baazaalirwa mu maka gange. Nalina amagana mangi ag'ente n'endiga n'embuzi okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemu.
8
Nakuŋŋaanya ffeeza ne zaabu n'ebyobugagga ebirala bingi okuva mu matwale ge nfuga, era neeteekerawo abasajja n'abakazi abaakolanga ogw'okunnyimbira ennyimba, era nalina byonna ebiyinza okusanyusa omuntu.
9
Nali waakitiibwa nnyo okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemu, era nasigala nga ndi mugezi.
10
Buli kintu kye neegombanga, nakyetuusangako. Siriiko ssanyu na limu lye nagaana kwewa. Nasanyukira byonna bye nakola, era ekyo ne kiba omugabo gwange olwa byonna bye nakola.
11
Ebyo nga biwedde, natunuulira ebyo byonna bye nali nkoze, era n'okutegana kwange kwonna, ne ndaba nga byonna kwali kuteganira bwereere. Ddala kwali nga kugoba mpewo ogikwate. Ate ndaba nga ku nsi kuno tewali kintu na kimu kirina mugaso.
12
Bwe nava awo, ne ngeraageranya amagezi n'eddalu n'obusiru, kubanga kabaka talina kipya ky'ayinza kukola ekitaakolebwa dda bakabaka abaamusooka.
13
Awo ne ndaba ng'amagezi malungi okusinga obusiru, ng'ekitangaala bwe kiri ekirungi okusinga ekizikiza.
14
Omuntu omugezi alaba gy'agenda, naye omusiru atambulira mu kizikiza. Wabula era mmanyi ng'enkomerero yaabwe ye emu.
15
Olwo ne ndowooza mu mutima gwange nti: “Ekituuka ku musiru, nange kye kirintuukako. Kale nze nabeerera ki omugezi?” Kyennava ŋŋamba mu mutima gwange nti n'ekyo tekiriimu mugaso.
16
Omugezi tajjukirwa, era ng'omusiru bw'atajjukirwa mirembe gyonna, kubanga byonna ebiriwo kati biryerabirwa mu biseera ebigenda okujja, era buli muntu alifa, k'abe mugezi oba musiru.
17
Ekyo kyankyayisa obulamu, kubanga byonna ebikolebwa ku nsi byantama. Byonna tebiriimu mugaso, era biri nga kugoba mpewo ogikwate.
18
Awo ne nkyawa byonna bye nali nkoze ku nsi, kubanga ndi wa kubirekera oyo alinziririra.
19
Era ani amanyi oba ng'oyo aliba mugezi oba aliba musiru? Kyokka oyo ye alyefuga byonna bye nakola ku nsi, era bye nayolesezaamu amagezi gange. Era n'ekyo tekiriimu mugaso.
20
N'olwekyo natuuka n'okwejjusa nti: “Natawaanira ki bwe ntyo ku nsi!”
21
Kubanga omuntu ayinza okukola emirimu n'amagezi n'obukugu era n'obwegendereza, kyokka byonna by'akoze n'abirekera muntu mulala atabiteganidde. Ekyo nakyo tekiriimu mugaso, era kibi nnyo.
22
Kale omuntu afuna ki mu kufuba kwe n'okutegana kwe kw'ateganamu ku nsi?
23
Kubanga ekiseera kyonna eky'obulamu bwe akimala mu buyinike bwereere, na mu kweraliikirira, n'atawummula emisana n'ekiro. N'ekyo nakyo tekiriimu mugaso.
24
Ekisinga okugasa omuntu kwe kulya n'okunywa n'okwesanyusiza mu ebyo by'akoleredde. Era n'ekyo nalaba ng'okusobola okukikola, guba mukisa Katonda gw'awa omuntu.
25
Kubanga Katonda w'atali, ani ayinza okulya n'okusanyuka?
26
Katonda, abamusanyusa abawa amagezi n'okutegeera era n'essanyu, kyokka aboonoonyi abawa gwa kukuŋŋaanya na kutereka bugagga, babuwe abo abamusanyusa. Era n'ekyo tekiriimu mugaso, kiri nga kugoba mpewo ogikwate.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12