bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 5
Ecclesiastes 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 6 →
1
Weegenderezenga ng'oyingidde mu Ssinzizo. Okusembera okumpi n'owuliriza oyige, kisinga okumala gawaayo bitambiro ng'abatategeera bwe bakola, kubanga tebamanyi nga kye bakola kibi.
2
Ofuganga olulimi lwo, era toyanguyirizanga kubaako ky'oyogera mu maaso ga Katonda, kubanga Katonda ali mu ggulu, ggwe oli ku nsi. Kale ebigambo byo bibeerenga bitono,
3
kubanga omuntu by'atawaanamu, by'aloota. N'omusiru amanyirwa ku bingi by'ayogera.
4
Bw'obangako kye weeyamye eri Katonda, oyanguwanga okukituukiriza, kubanga Katonda tasanyukira basiru. Tuukirizanga kye weeyamye okukola.
5
Waakiri oleme kweyama, okusinga lwe weeyama n'ototuukiriza.
6
Toganyanga kamwa ko kukukozesa kibi, oluvannyuma n'ogamba omubaka wa Katonda nti wayogedde togenderedde. Lwaki oyogera ebinaasunguwaza Katonda n'azikiriza bye wakolerera!
7
Okulowooza ebingi ng'oli ng'aloota, kye kireetera omuntu okwogera ebitaliimu makulu. Naye ggwe otyanga Katonda.
8
Bw'olabanga abaavu nga banyigirizibwa, era nga tebakolerwa bya bwenkanya na mazima mu ggwanga, teweewuunyanga, kubanga omukungu atunuulirwa oyo amusinga, era n'oyo n'atunuulirwa abo abamusinga okuba n'obuyinza.
9
Okutwalira awamu, ettaka ligasa bonna, ne kabaka yennyini aganyulwa ebiva mu nnimiro.
10
Omuntu ayagala ensimbi tayinza kuzikkuta, era n'oyo ayagala obugagga, n'amagoba gaamu, taabikkutenga. Era n'ekyo tekiriimu makulu.
11
Ebintu bwe byeyongera okwala, n'abo ababirya beeyongera okuba abangi. Kale bannyini byo bafunamu magoba ki, okuggyako okubirabako obulabi n'amaaso!
12
Omuntu akola n'emikono gye, yeebaka otulo ne tumuwoomera, ne bw'aba talina byakulya bimumala; kyokka omugagga asula teyeebase, ng'alowooza.
13
Waliwo ekintu ekibi ennyo kye ndabye ekibeerawo mu nsi: bwe bugagga obuterekebwa nnyini bwo mu kwerumya okungi,
14
kyokka obugagga obwo ne buzikirira olw'ebizibu ebitaalengererwawo, n'azaala omwana nga tewakyali ky'alinawo.
15
Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliva ku nsi nga bwe yajja. Talibaako ky'ayinza kutwala ku bye yateganira byonna.
16
Mazima ekyo si kya bwenkanya. Omuntu agenda ngalo nsa nga bwe yajja. Ategana, kyokka ali ng'agoba empewo agikwate! Kale magoba ki g'afuna?
17
Ennaku ze zonna, alya munyiikaavu, yeeraliikirira nnyo, aba mulwadde, era musunguwavu.
18
Ekirungi kye nalaba omuntu ky'asaanidde okukola, kwe kulya n'okunywa era n'okusanyukira mu birungi byonna bye yateganira obulamu bwe bwonna, Katonda bwe yamuwa ku nsi, kubanga ogwo gwe mugabo gwe.
19
Buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, n'amusobozesa okubiryako, n'akkiriza omugabo gwe, n'okusanyukira mu by'ateganidde, ekyo kirabo kya Katonda,
20
kubanga omuntu oyo tajja kulowoozanga ku kiseera kya bulamu bwe, kubanga Katonda amukuuma nga musanyufu mu mutima gwe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12