bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 10
Ecclesiastes 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
1
Ebyakawoowo ebitegekeddwa omutabuzi waabyo, bwe bibaamu ensowera enfu, zibiwunyisa ekivundu. N'eky'obusiru ekitonotono, kimalawo amagezi amangi era n'ekitiibwa.
2
Omugezi akola bituufu, naye omusiru akola bikyamu.
3
Omusiru ne bw'aba atambula mu kkubo, teyeegendereza; era alaga abantu bw'ali omusiru.
4
Oyo akufuga bw'akusunguwaliranga, tolekuliranga kifo kyo, kubanga okumenyeka kusonyiyisa n'ensobi ennene.
5
Waliwo ekibi kye ndaba ku nsi, ye nsobi abafuzi gye bakola:
6
abantu abasiru baweebwa ebifo eby'obuvunaanyizibwa obunene, abagagga ne baweebwa ebifo ebya wansi.
7
Nalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, ng'abakungu be batambuza ebigere ng'abaddu.
8
Asima obunnya ayinza okubugwamu, n'oyo awaguza ekisenge, ayinza okubojjebwa omusota.
9
Asimula amayinja, gayinza okumusala, n'oyo ayasa enku ziyinza okumutuusaako akabi.
10
Ekyuma bwe kiggwaako obwogi n'otokiwagala, kikuwaliriza okwongeramu amaanyi ng'okikozesa, naye amagezi gasobozesa omuntu okuwangula.
11
Omusota bwe gumala okubojja, oyo aloga emisota ne gitabojja, aba takyagasa.
12
Ebigambo omugezi by'ayogera, bimuweesa ekitiibwa, naye omusiru by'ayogera bimuzikiriza.
13
Mu kusooka, ebigambo bye biba bya busiru, ku nkomerero ne biba bya ddalu ery'akabi.
14
Omusiru ayogera nga tasalako. Tewali amanyi bigenda kubaawo, era tewali ayinza kututegeeza biribaawo nga tumaze okufa.
15
Omusiru by'akola bimukooya nnyo, n'atasobola na kumanya kkubo mw'ayinza kuyita okuyingira mu kibuga.
16
Ensi ziba zigisanze, omufuzi waayo bw'aba nga mwana muto, ate n'abakungu baayo nga bakeera bukeezi mu binyumu.
17
Ensi eyo erina omukisa, omufuzi waayo bw'aba omukulembeze omulungi, era ng'abakungu baayo bakola ebinyumu mu kiseera kyabyo ekituufu, era nga babikola lwa kwewummuzaamu bafune amaanyi, sso si lwa ttamiiro.
18
Omugayaavu olw'obutayagala kukola, ennyumba ye etonnya n'ebotokera ddala n'akasolya.
19
Ebijjulo bikolebwa lwa kwesanyusa, n'omwenge gusanyusa obulamu, naye ekifuga byonna ze ssente.
20
Toyogeranga bubi ku mufuzi newaakubadde mu kyama, era toyogeranga bubi ku mugagga, wadde ng'oli mu kisenge ky'osulamu, sikulwa ng'ebinyonyi ebibuuka n'ebiwaawaatiro mu bbanga, bitwala eddoboozi lyo, ne byasanguza ky'oyogedde.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12