bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ecclesiastes 6
Ecclesiastes 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
1
Waliwo ekintu ekibi kye nalaba ku nsi, era ekikaluubirira abantu:
2
kye ky'omuntu Katonda gw'awa obugagga, n'ebintu, n'ekitiibwa, ne watabaawo muntu oyo ky'ajula, kyokka Katonda n'atakkiriza muntu oyo kubyeyagaliramu, wabula omuntu omulala ow'ebweru n'abyeyagaliramu. Ekyo tekiriimu makulu, era kiruma nnyo.
3
Omuntu ayinza okuzaala abaana kikumi, era n'amala emyaka mingi ku nsi. Kyokka ne bw'awangaala atya, bw'aba tafunye ssanyu mu bulamu bwe, era nga taziikiddwa mu ngeri esaanidde, nze ŋŋamba nti omwana azaalibwa ng'afudde, asinga omuntu oyo.
4
Omwana oyo weewaawo talina ky'agasibwa okuzaalibwa. Azaalibwa ng'ali mu kizikiza, n'agenda ng'ali mu kizikiza.
5
Wabula newaakubadde aba talabye kitangaala, era nga takitegedde, aba awummudde okusinga oli,
6
atasanyukidde mu birungi, wadde ng'awangadde emyaka enkumi bbiri. Ye n'ekirala, bombi tebagenda mu kifo kye kimu?
7
Omuntu mu mirimu gye gyonna, ateganira kufuna kyakulya, wabula okwegomba kwe tekumatira.
8
Omuntu ow'amagezi kiki ky'asingamu omusiru? N'omwavu kimugasa ki okuba omwegendereza?
9
Okumatira ne ky'olabako, kusinga okululunkanira bye weegomba obwegombi. Ekyo tekiriimu makulu, kiri nga kugoba mpewo ogikwate.
10
Buli kyali kibaddewo, kyatuumibwa dda erinnya. N'embeera y'abantu emanyiddwa: omuntu tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi.
11
Ebyogerwa gye bikoma obungi, gye bikoma n'obutabaamu makulu, kale omuntu bimugasa ki?
12
Ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe obumpi obutaliimu makulu, era obuyita obuyisi ng'ekisiikirize? Era ani ayinza okubuulira omuntu ebiribaawo ku nsi, omuntu oyo ng'amaze okugivaako?
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12