bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 10
Hebrews 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
1
Amateeka g'Ekiyudaaya, kisiikirize busiikirize eky'ebirungi ebigenda okujja, sso si kifaananyi kyabyo ekituufu. Tegasobola kutukuliza ddala abo abaddiŋŋana ebitambiro bye bimu, buli mwaka.
2
Singa gaali gasobola okubatukuliza ddala, ebitambiro byandibadde tebikyaweebwayo, kubanga ababiwaayo bandibadde batukuliziddwa ddala omulundi gumu, nga tebakyemanyiiko kibi.
3
Naye mu bitambiro ebyo, mulimu kujjukizibwa ebibi buli mwaka,
4
kubanga omusaayi gw'ente ennume n'ogw'embuzi teguyinza kuggyawo bibi.
5
Kristo ng'ajja mu nsi, kyeyava agamba Katonda nti: “Ebitambiro n'ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekerateekera omubiri.
6
Ebyokebwa nga biramba, n'ebyo ebiweebwayo olw'ebibi, tewabisiima.
7
Kyennava ŋŋamba nti: Nzuuno. Nzize okukola by'oyagala, ayi Katonda, ng'ekyawandiikibwa bwe kinjogerako mu kitabo ky'Amateeka.”
8
Asooka kugamba nti: “Ebitambiro n'ebiweebwayo, n'ebyokebwa ebiramba, n'ebyo ebiweebwayo olw'ebibi, tewabyagala era tewabisiima.” Ekyo yakyogera, newaakubadde ng'ebyo byonna byaweebwangayo ng'Amateeka bwe galagira.
9
Ate n'agamba nti: “Nzuuno. Nzize okukola by'oyagala.” N'olwekyo aggyawo ekisooka, alyoke anyweze ekyokubiri.
10
Twatukuzibwa kubanga Yesu yakola ekyo Katonda ky'ayagala, bwe yawaayo omubiri gwe omulundi ogumu.
11
Buli omu ku bakabona bali, ayimirira buli lunaku, n'awaayo emirundi mingi ebitambiro bye bimu, ebitayinza kuggyawo bibi.
12
Naye Kristo yawaayo ekitambiro kimu kyokka ekyamala okuddaabiriza olw'ebibi, n'alyoka atuula emirembe gyonna, ng'aliraanye Katonda, ku ludda olwa ddyo.
13
Eyo gy'alindira, okutuusa abalabe be lwe balifuulibwa ekirinnyibwako ebigere bye.
14
Olw'okuwaayo ekitambiro ekyo ekimu, abo b'atukuza yabafunira obutuukirivu obw'emirembe gyonna.
15
Era ne Mwoyo Mutuukirivu kino akitutegeeza. Asooka n'agamba nti:
16
“Eno ye ndagaano gye ndikola nabo, ennaku ezo bwe zirituuka. Bw'atyo Mukama bw'ayogera. Nditeeka amateeka gange mu mitima gyabwe, era ndigawandiika mu magezi gaabwe.” Ate n'agamba nti:
17
“N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe siribijjukira nate.”
18
Ebyo bwe bimala okusonyiyibwa, waba tewakyaliwo kuwangayo kitambiro olw'ebibi.
19
Kale abooluganda, kaakano tuyinza okuyingira mu Kifo Ekitukuvu nga tetulina kutya, kubanga Kristo yafa ku lwaffe,
20
n'atuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe.
21
Tulina kabona omukulu bw'atyo, afuga ennyumba ya Katonda.
22
Kale tusembere eri Katonda n'omwoyo ogutaliimu bukuusa, ogujjudde okukkiriza, nga tulina emitima egitukuziddwa, ne giggwaamu omwoyo omubi, nga n'emibiri gyaffe ginaaziddwa n'amazzi amatukuvu.
23
Tunyweze essuubi lye tulina tuleme kulivaako, kubanga Katonda eyasuubiza mwesigwa.
24
Tussenga omwoyo ku kukubiriza bannaffe okwagalana n'okukola ebikolwa ebirungi.
25
Tuleme kugayaaliriranga nkuŋŋaana z'abagoberezi ba Kristo, ng'abamu bwe bakola. Naye buli omu agumye munne, naddala nga bwe mulaba nti Olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka.
26
Kuba singa twonoona mu bugenderevu nga tumaze okutegeezebwa amazima, waba tewakyaliwo kitambiro ekiweebwayo olw'ebibi.
27
Ekiba kisigadde, kwe kuba mu kutya, nga tulindirira okusalirwa omusango, era n'obukambwe bw'omuliro ogugenda okwokya abalabe ba Katonda.
28
Omuntu ajeemera amateeka ga Musa, attibwa awatali kusaasirwa, kasita wabaawo abajulirwa babiri oba basatu abamusingisa omusango.
29
Kale omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era omusaayi ogw'endagaano ogwamutukuza, n'agulaba ng'ogutali mutukuvu, era n'anyoomoola Mwoyo ow'ekisa, mulowooza nti talisaanira ekibonerezo ekisingawo obukambwe?
30
Tumanyi oyo eyagamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.” Era nti: “Mukama alisalira abantu omusango.”
31
Kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda Nnannyinibulamu!
32
Mujjukire ebiseera ebyayita, bye mwafuniramu ekitangaala kya Katonda, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw'amaanyi.
33
Emirundi egimu mwavumibwa era ne mubonyaabonyezebwa mu lwatu, emirundi emirala ne mulumirwa wamu n'abo abaakolebwa bwe batyo.
34
Mwalumirwa wamu n'abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu nga munyagiddwako ebyammwe, kubanga mwamanya nti mmwe mulina ebisingawo obulungi, era eby'olubeerera.
35
Kale temusuulanga buvumu bwammwe, kubanga empeera yaabwo nnene.
36
Mwetaaga okugumiikiriza, mulyoke mukole ebyo Katonda by'ayagala, era muweebwe kye yasuubiza.
37
“Wasigadde akaseera katono nnyo, oyo ow'okujja, ajje, era talirwa.
38
Omutuukirivu wange anaabeeranga mulamu, lwa kukkiriza. Kyokka bw'addayo emabega, sirimusaasira.”
39
Naye ffe tetuli mu abo abadda emabega, ne bazikirira, wabula tuli mu abo abakkiriza, ne balokolebwa.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13