bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Hebrews 11
Hebrews 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
1
Okukkiriza kitegeeza okukakasa nti ebyo ebisuubirwa tulibifuna, era bwe butabuusabuusa mu ebyo bye tutalaba.
2
Okukkiriza, kwe kwaleetera abantu ab'edda okusiimibwa Katonda.
3
Okukkiriza, kwe kutusobozesa okutegeera nti ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggyibwa mu bitalabika.
4
Okukkiriza, kwe kwaleetera Abeli okuwaayo eri Katonda ekitambiro ekirungi okusinga ekya Kayini, ne kikakasa nti Abeeli mutuukirivu, kubanga Katonda yasiima ebirabo bye. Era olw'okukkiriza kwe, newaakubadde yafa, akyayogera.
5
Okukkiriza, kwe kwaleetera Enoka okutwalibwa eri Katonda, nga tamaze kufa. Era oluvannyuma tewali yamulabako, kubanga Katonda yamutwala. Ekyo kyaba bwe kityo, kubanga bwe yali nga tannatwalibwa, kyakakasibwa nti yasanyusa Katonda.
6
Tewali ayinza kusanyusa Katonda awatali kukkiriza, kubanga ajja eri Katonda, ateekwa okukkiriza nti Katonda waali, era nti agabira empeera abo abamunoonya.
7
Noowa bwe yalabulwa Katonda ku byali bitannalabika, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwulira Katonda, n'azimba eryato okuwonya amaka ge. Bw'atyo yasalira ensi omusango, n'afuna obutuukirivu obuleetebwa okukkiriza.
8
Okukkiriza, kwe kwaleetera Aburahamu okuwulira Katonda, bwe yamuyita ave ewaabwe alage mu nsi gye yali agenda okuweebwa. Bw'atyo n'agenda nga tamanyi gy'alaga.
9
Era okukkiriza, kwe kwamuleetera okubeera mu nsi eyamusuubizibwa, n'agibeeramu ng'eri ng'etali yiye, ng'asula mu weema awamu ne Yisaaka ne Yakobo, nabo Katonda be yasuubiza ekintu kye kimu ekyo.
10
Aburahamu yalindirira ekibuga Katonda kye yategeka, era kye yazimba, ekirina emisingi emigumu.
11
Okukkiriza, kwe kwasobozesa Saara okuba olubuto, newaakubadde nga yali akaddiye. Yakkiriza nti Katonda eyamusuubiza, mwesigwa.
12
N'olwekyo omuntu oyo omu Aburahamu, newaakubadde yali ng'afudde, yasibukamu abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu, era ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, ogutabalika.
13
Abo bonna baafiira mu kukkiriza, nga tebannafuna ebyo Katonda bye yasuubiza, wabula nga babirengerera wala, ne babyaniriza, nga bakakasa nti bagenyi era bayise ku nsi kuno.
14
Abo aboogera bwe batyo, balaga nti waliwo awalala gye basuubira okusanga obutaka bwabwe.
15
Era singa baajulirira ensi gye baavaamu, bandisobodde okuddayo.
16
Naye kaakano beegomba obutaka obusinga obulungi, bwe bw'omu ggulu. Katonda kyava takwatibwa nsonyi kuyitibwa Katonda waabwe, kubanga yabateekerateekera ekibuga.
17
Aburahamu, Katonda gwe yali asuubizza, bwe yagezebwa, okukkiriza kwe kwamusobozesa okuwaayo Yisaaka, omwana we omu yekka, abe ekitambiro.
18
Katonda yali amugambye nti: “Mu Yisaaka mw'olifunira abazzukulu.”
19
Aburahamu yamanya nti Katonda ayinza okuzuukiza abafu. Ne Katonda kyeyava amuddiza Yisaaka, ng'ali ng'avudde mu bafu.
20
Okukkiriza, kwe kwasobozesa Yisaaka okusabira Yakobo ne Esawu omukisa mu ebyo ebyali bigenda okujja.
21
Yakobo bwe yali ng'anaatera okufa, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okusabira abaana ba Yosefu omukisa kinnoomu, n'akutama ku muggo gwe, n'asinza Katonda.
22
Yosefu bwe yali ng'anaatera okufa, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okwogera nti Abayisirayeli baliva mu Misiri, era n'alagira ebirikolebwa ku magumba ge.
23
Musa bwe yazaalibwa, okukkiriza, kwe kwaleetera bazadde be okumukwekera emyezi esatu. Baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kuwakanya kiragiro kya kabaka.
24
Musa bwe yakula, okukkiriza, kwe kwamusobozesa okugaana okuyitibwa omwana wa muwala wa Faraawo.
25
Yasiima okubonaabonera awamu n'abantu ba Katonda, okusinga okuba mu ssanyu ery'ekibi eriggwaawo amangu.
26
Yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kusingira ddala wala obugagga bw'e Misiri, kubanga yamanya empeera gy'aliweebwa.
27
Okukkiriza, kwe kwasobozesa Musa okuva e Misiri, n'atatya busungu bwa kabaka, kubanga yanywera, ng'ali ng'alaba Katonda atalabika.
28
Okukkiriza, kwe kwamusobozesa okuteekawo Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, n'amansira omusaayi, Omuzikiriza aleme kutta baggulanda ba Bayisirayeli.
29
Okukkiriza, kwe kwasobozesa Abayisirayeli okuyita mu Nnyanja Emmyufu, ng'abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako, amazzi ne gabasaanyaawo.
30
Okukkiriza, kwe kwaleetera ebisenge by'Ekibuga Yeriko okugwa, nga bimaze ennaku musanvu nga byetooloolwa Abayisirayeli.
31
Okukkiriza, kwe kwawonya malaaya Rahabu n'atazikiririra wamu n'abo abatakkiriza, kubanga yayaniriza abakessi.
32
Nnyongereko ki ate? N'obudde bunaanzigwako bwe njogera ku Gidiyoni, Baraki, Samusooni, Yefuta, Dawudi, Samweli, ne ku balanzi. 16:1 Bassek 2:11; 1 Sam 1:1–25:1
33
Olw'okukkiriza, abo baawangula obwakabaka, ne bakola eby'obutuukirivu, era ne bafuna ebyo Katonda bye yasuubiza. Baabuniza obumwa bw'empologoma,
34
ne bazikiza omuliro ogw'amaanyi, ne bawona obwogi bw'ekitala. Baali banafu, ne bafuuka ba maanyi. Baafuuka bazira mu ntalo, ne bagoba eggye ly'ab'amawanga amalala.
35
Abakazi ne baweebwa abantu baabwe abazuukidde. Abantu abalala baabonyaabonyezebwa, ne bagaana okuteebwa, balyoke bazuukire okufuna obulamu obusinga obulungi.
36
N'abalala baasekererwa ne bakubibwa era ne basibibwa, ne bateekebwa mu makomera. 38:6:
37
Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi, nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, ne bayisibwa bubi,
38
ensi nga tebasaanira. Ne batambulatambulanga mu malungu ne mu nsozi, nga basula mu mpuku ne mu binnya.
39
Abo bonna Katonda yabasiima olw'okukkiriza kwabwe. Naye tebaafuna ebyo bye yasuubiza,
40
kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi: bo baleme okutuukirizibwa, ffe nga tetuliiwo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13